TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Kuguka mu bizinensi; Vva ku mulimu ogutafuna

Kuguka mu bizinensi; Vva ku mulimu ogutafuna

By Musasi Wa

Added 4th April 2013

Abantu bangi tutandika emirimu nga tulina ekigendererwa ky’okufuna ssente. wabula ate bwe tutambulako akatono olwo ne twerabira ekigendererwa ekyasooka.

2013 4largeimg204 apr 2013 144303810 703x422

 

 

 

Bya Jamil Ssebalu

Abantu bangi tutandika emirimu nga tulina ekigendererwa ky’okufuna ssente. wabula ate bwe tutambulako akatono olwo ne twerabira ekigendererwa ekyasooka.

Ate abamu bwe tufuna ku ssente eziwera ne tulowooza nti kiwedde. Wano tukola omulimu oba bizinensi nga twagala batulabe.

Wano tuba tetukyafaayo ku magoba wabula okukola obukozi abalala ne balaba nga we tuli. Kino kireese obuzibu bungi kubanga abasinga n’emirimu gibafudde.

Mu kiseera kino abasuubuzi bangi abali mu akeedi naye nga tebakyasobola ‘lenti’ (ensimbi z’obupangisa).

Bangi tebakyasobola kufissaawo magoba wabula okutuusa omukolo nti nabo batuuse mu kibuga.

Abamu bakola kubanga batya mikwano gyabwe okubasekerera nti bavudde ku mirimu. Abalala bakola kubanga omwami, omukyala ampa ssente z’entambula oba ayongera mu bizinensi naye nga tebakyalina magoba ge bakola.

Mulina okukimanya nti embeera y’emirimu egenda yeeyongera okwonooneka era nga kati kigenda kubeera kizibu nnyo omuntu okubeera mu kibuga nga tokola magoba. Kapito agenda kuggwaawo oluvannyuma n’ebyamaguzi babiwambe kubanga olemeddwa okusasula lenti.

Sigaanyi waliwo lw’olemera mu bizinensi ng’okyagumiikirizzaako olabe oba embeera etereera naye ate bwe bigaana bite.

Sikugamba kuva mu bizinensi naye oyinza okukolera ku kyalo gy’osula kubanga eno lenti eba ntono. oyinza okukozesa ebimu ku bizimbe byo oba okudda mu bizinensi oba omulimu omulala.

Munnange wano ojja kuba tokyasobola kusala magezi. Salawo kati tolinda nkya. Embuulire tefa yonna!

 


Kuguka mu bizinensi; Vva ku mulimu ogutafuna

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pulezidenti Museveni ne Kagame...

PULEZIDENTI Museveni ne munne Paul Kagame enkya ku Lwokusatu basuubirwa okuddamu okusisinkana mu Angola mu lukung’aana...

Katolubwamalubaga2 220x290

Honalebo ennuuni eyo tugende nayo...

OMUBAKA wa Lubaga South, Kato Lubwama asimbudde. Ku Lwokutaano yababidde abatuuze b’e Lubaga South ebintu omwabadde...

Sengendo2002web 220x290

Twagala abakazi abateekomomma mu...

Abasajja banoonya abkazi baakuwasa nga tebeekomomma mu kulaga amapenzi, abalungi ate nga baabuulirirwa

Sharonweb 220x290

Banoonya abasajja abateemotyamotya...

Abakazi abanoonya abasajja abateemotyamotya mu laavu.

Prowew 220x290

Proline etutte Matia Lule

Ekifo ekyabadde ekya Shafiq Bisaso ku Proline kitwaliddwa Matia Lule.