TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Bammanerenda; obukodyo 4 bwebakozesa okubba abasuubuzi

Bammanerenda; obukodyo 4 bwebakozesa okubba abasuubuzi

By Musasi Wa

Added 9th April 2013

OLINA ekizibu oba wali ofunye ku kizibu nga kyetaaga ssente ez’amangu? Emirundi mingi buli gw’otuukirira okukuyamba ajja kukuwa magezi ga kwewola.

2013 4largeimg209 apr 2013 200242137 703x422

 

 

 

 

 

Bya OLIVE LWANGA , ALICE NAMUTEBI ne HAFSWA NANKANJA

OLINA ekizibu oba wali ofunye ku kizibu nga kyetaaga ssente ez’amangu? Emirundi mingi buli gw’otuukirira okukuyamba ajja kukuwa magezi ga kwewola.

Mu bbanka otyayo olw’emisingo emingi egisabibwa n’obukwakkulizo obulala bungi obukwetaagisa. Amagezi amangu ga kuddukira wa muntu ow’abulijjo alina obusobozi obukuwola nga tomazebiseera bingi na kwetooloola ng’onoonya ebbaluwa za LC n’ebirala. Ono ye Mmanerenda.

Ono ye katonda wo mu kizibuekyetaagaobwanguwabula kigenge ekisiindiikirizza abasuubuzi bangi n’abantu abalala okuva mu kibuga kyokka nga n’ebyabwe bitwaliddwa.

Obutego bwa bammanerenda
Bakuwola ku magoba agali waggulu. Bakuwa ebbanga ttono okusasuliramu. Bakusaba omusingo naye ng’endagaano gye mukola eraga nti obaguzizza n’ebirala.

Ebirungi byabwe ebisikiriza
Omukugu mu byenfuna, Charles Lindo owa Small Scale Industries e Nakasero agamba nti abantu bano balina obukodyo obuwerako okusikiriza abantu be bawola.


1 Beeranga nga bayita mu mikutu gy’empuliziganya egitali zimu ng’amawulire, leediyo, ttivvi n’okutimba ebipapula ku bipande ekikuyamba okumanya we basangibwa.

2 Basaba emisingo emyangu nga ttivvi, leediyo, kaadi z’emmotoka era bakozesa olulimi olubudaabuda olukukakasa nti ssente ezo nnyangu za kusasula.

3 Bakuyamba mu mbeera enzibu we weetaagira ssente, gamba omusuubuzi gwe batutteko ebyamaguzi bye, abayizi abagenda okukola ebigezo nga fi izi zibaweddeko, n’abagenda okusuubula emmaali n’etuuka nga tolina ssente zimala.

Wabula kino kibaleetera okussaako amateeka amayitirivu kuba oba weetaaga ssente.

4 Bateekawo embeera ey’okusasulira mu bitundutundu, ate mu biseera ebimpi ng’ennaku ssatu oba wiiki. Wabula weegendereze kuba abamu, bw’omaliriza okwewola ne mutegeeregana n’olunaku lwe mugenda okusasula beekweka n’abamu amasimu ne bagaggyako okutuuka olunaku bwe luyitawo nga tokyasobola kununula kye wasingawo.

Bannamateeka bawabudde
Embeera eno ng’ekutuuseko okola otya okununula ebintu byo?

Munnamateeka Ambrose Tebyasa, Commissioner of Oaths agamba nti okwewala obuzibu bwonna, bw’oba weewola ssente ku bammanerenda olina okubaawo n’omuntu ategeera eby’okwewola  akuyambe nga mukola endagaano.

Ekigambo ‘kutunda’ mwandibadde mukyewalira ddala wadde ng’oli mu bwetaavu bwa ssente obw’amaanyi kuba mu mateeka oba ng’akakasa nti ekintu kikyusizza emikono. Endagaano gye mukola erina kubaamu kuwola.

Annyonnyola nti, wadde nga wakola ensobi mu ndagaano, oba okyasobola okwekubira enduulu mu kkooti z’amateeka ne zikuyamba kuba bammanerenda oluusi tebakolera mu mateeka.

Ate Munnamateeka Yunus Kasiriivu agamba nti mmanerenda bw’aba teyafuna kiragiro kya kkooti ekimuwa obuyinza obutwala ebintu byo, bw’abitwala okkirizibwa okumutwala mu kkooti wadde nga waliwo endagaano.

Okwewala ebintu byo okutwalibwa nga ssente zikulemye okusasula, dduka mu kkooti ekuwe ekibaluwa ekimugaana okubowa eby’obuggaga byo. Agamba nti emiwaatwa bammanerenda gye bakozesa oluusi tegiba mu mateeka era osobola okukozesa omukisa guno bw’ogenda mu kkooti.

ETTEEKA KYE LIGAMBA
Okusinziira ku tteeka erifuga bammanerenda erya (Money lenders act), mmanerenda bw’akuwola ssente olina okumuddiza ebitundu bibiri (2) ku kikumi ku ssente z’akuwoze buli mwezi oba ebitundu 12 buli mwaka.

Amaliriza agamba nti, ekivaako eby’obuggaga by’abantu okutwalibwa ge magoba bammanerenda ge basabye agabeera amangi naye mu kkooti omulamuzi akukkiriza okuwa omuwendo omutuufu gw’olina okusasula nga bagendedde ku miwendo gy’amagoba emituufu.

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 


KAMADA Kawooya, Masajja: Abantu abawola ssente bbo balinga abajja okunyagulula abanaku ssente n’ebintu byabwe. Akuwola ssente ntono nnyo kyokka osasula ezisinga wo kw’ezo ze yakuwola ng’ogasseeko n’okubowa ebintu byo bye wawaayo ng’omusingo.

Waliwo gwe mmanyi e Masajja, ye bw’akuwola ku buli mutwalo ayagalako amagoba ga ssente 500/-. Okugeza, bw’oba weewoze 300,000/- kitegeeza nti omuddiza amagoba ga 105,000/- buli wiiki, olwo omwezi omusasula amagoba agatakka wansi wa 400,000/-.

Okukkakkana ng’osasudde amagoba agasinga ne ssente ze weewola obungi kyokka nga nazo olina okuzimusasula.

BYE BASABA
1.Kaadi y’emmotoka.
2 .Ebyapa by’ettaka.
3 .Endagaano z’amayumba oba poloti.
4 .Sitaatimenti ya bbanka.
5 .Densite y’ekyalo gy’ova.
6 .Densite y’omulimu gy’okola.
7 .Akatabo ka bbanka.

OBUKODYO BWE BABBISA
1.Mu ndagaano temuwandiikamu nti akuwoze, wabula ossaamu nti omuguzizza. Okugeza, bwe weewola 500,000/-, osingayo ekintu kyo kyonna ekibalirirwamu ssente ezisinga kw’ezo ze weewoze era mu ndagaano ossaamu nti mmuguzizza enju yange oba emmotoka oba ekibanja ku 500,000/-

 Bw’osussa ebbanga ly’akuwadde nga tonnazizza aba waddembe okutwala omusingo gwo. Ye awola mu ndagaano assaamu nti oli waddembe okununula enju yo oba ekibanja bw’oba okyetaaga.

Ekisingako bw’oba oyagala ebintu byo olina kuteesa naye n’akuguza buto ekintu kyo. Olaba bw’oba otunze enju yo ku 500,000/- zokka! Ate ye bw’aba akuguza ateekawo omuwendo gwonna gw’ayagala, gy’atutte ku 500,000/- asobola okugikuguza ku bukadde obusoba mu 100.

2. Beekweka: Olunaku bwe lutuuka lwe mwalagaana okusasulirako, toddamu kumulaba ko. Alabika wayiseewo ebbanga era ng’akugamba nti enju yo yiye kuba ebbanga lyayitawo nga tomusasudde ssente ze.

Ne bw’ogezaako okumuwawaabira kiba kizibu okumuwangula kuba endagaano wagissaako omukono ng’omuguzizza sso si kwewola.

3.Baggyako essimu: Abeera n’essimu ez’enjawulo era gy’aba akuwadde bw’otuuka okumunoonya tebaako nga bakuwoleza nti yagenda mu kyalo.


4.Ow’omutima omubi akukola ekikyamu
otere olemererwe okumusasula ye awambe omusingo.

Bammanerenda; obukodyo 4 bwebakozesa okubba abasuubuzi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabakafitri1 220x290

Kabaka ayagalizza Abasiraamu Idd...

KABAKA Ronald Muwenda II alagidde Bannayuganda okukuuma emirembe n’okusonyiwagana mu kiseera kino ng’Abasiraamu...

Mknded4 220x290

Famire eziyiridde mu nnyumba nga...

Abasiraamu mu kibuga ky’e Mukono baaguddemu encukwe ku Iddi munnaabwe eyabadde akedde ku maliiri okufumba emmere...

Mknmm3 220x290

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa...

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa Mukono ng’alina Corona virus-atwaliddwa mu kalantiini n’abalala babiri be...

Ssaavasennyonga 220x290

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere...

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere ya bukadde 300 okudduukirira abali ku muggalo

Lockdown309 220x290

Eyali awola ssente azzeeyo mu nnimiro...

ENSWA bw'ekyusa amaaso naawe ng'envubo okyusa ne Charles Tamale envubo agikyusirizza mu nkumbi okubaako ettofaali...