TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Emitendera 10 mw’oyita okukola ssabbuuni ayoza

Emitendera 10 mw’oyita okukola ssabbuuni ayoza

By Musasi Wa

Added 5th June 2013

Karim Karamagi, omukugu mu byenkulaakulana okuva mu kibiina kya RUSBA agamba nti ssabbuuni ky’ekimu ku byamaguzi ebitabulwa katale era nga kikulu nnyo okuyiga okumwekolera.

2013 6largeimg205 jun 2013 161030960 703x422


 

 

 

 

 

 

Bya RUTH NAZZIWA

TEWALI maka oba muntu atakozesa ssabuuni kuba akozesebwa okunaaba n’atta obuwuka obuyinza okutuusa obulabe ku mubiri gwe ate n’okwozesebwa engoye ekimufuula ow’omugaso ennyo eri buli muntu.

Karim Karamagi, omukugu mu byenkulaakulana okuva mu kibiina kya Rural Small Scale Business Association (RUSBA) agamba nti ssabbuuni ky’ekimu ku byamaguzi ebitabulwa katale era nga kikulu nnyo okuyiga okumwekolera. Yeetaaga entandikwa ntono ddala, ate bw’omuyiga toddayo kumusaasaanyizaako ssente.

Omusomesa Ssennyonjo ng’ayiwa olutabu lwa ssabbuuni mu katiba.

"NNAYIGA OKUKOLA SSABBUUNI MU LUNAKU LUMU"
Abdurashid Ntanzi, Nsangi: Nkola ssabbuuni ow’ebika eby’enjawulo. Mu August wa 2012 nnawulira nga balanga omusomo e Nabweru era olunaku bwe lwatuuka ne ng’enda nga n’okuva olwo siddanga mabega.

Nnatandika okumwekolera nga bwe mutwalira eyansomesa okugolola ensobi oba nga bwemba ntabula ne ndaba ebitateredde nga mmukubira essimu n’andagirira okutuusa lwe nnalaba nga ngize.

Okumutunda, nnatandikira ku mikwano, baliraanwa n’okugabira abantu bamukozese ko nga mbalekera n’endagiriro era ng’olubaggwaako nga bampita okubawa omulala.

Mu bbanga ttono nnagenda okulaba ng’abamwetaaga bangi ng’abamu bakola wooda nnene n’abaagulanga omuti ogumu.

Kino kyampaliriza okutunda bodaboda yange gye nnali nkolerako ne ngulamu ekyuma ekikola ssabbuuni kya 2,000,000/- okusobola okwongera ku bungi bwa ssabbuuni gwe nkola era okuva olwo, okukola ssabbuuni ne gufuuka omulimu gwange.

Omwezi nfuna amagoba agatakka wansi wa 600,000/- era akatale nkalina naye sisobola kukamatiza kuba ssente ze nsiga mu mulimu guno okugula ebikozesebwa sinnaziweza.

Ssennyonjo (ku kkono) ng’alagirira omu ku beetaba mu musomo engeri y’okutabula ssabbuuni.

Nkubiriza abantu okuba abayiiya okweggya mu bwavu kuba omutwe gwo gwe gukweyimirira ate bw’obaako ne ky’oyize, ssente z’osiga mu misomo zigoberere zireme kufa.

Ate bw’oba onoonya akatale, abantu abakuliraanye ke kataleko akasooka era b’olina okusooka okuguza ebintu byo.

Laban Sennyonjo, owa Action for prosperity (APO) agamba nti waliwo enkola za ssabbuuni nnyingi omuntu z’ayinza okugoberera. Abamu bamufumba oba okutabula ebirungo ng’okozesa bino wammanga.

ENTABULA Y’EBIRUNGO EBIKOLA EMITI GYA SSABBUUNI 10
TEEKA liita z’amazzi 2.5 mu baketi mw’ogenda okutabulira ebirungo. Gattamu ½ kkiro ya caustic soda otabule n’omulawo okutuusa bw’amulungukira mu mazzi.

Tereka wabbali okumala ebbanga eriri wakati w’essaawa bbiri ne 24 bimale okuwola nga bw’okola ebirala.

Bw’aba awoze, gattamu liita za butto 2.5 otabule okumala eddakiika ssatu oba ttaano aggweeremu.
Bw’omala, pima borax ebigiiko 2.5 nabyo obitabulemu, tabula amale okumulungukira ddala.

Wano bw’oba oyagadde, oyinza okuteekamu langi gy’oyagala n’akawoowo wabula bino obipimisa nnyindo n’amaaso okutuusa lw’ofuna ky’oyagala.

Bino oyinza okubikozesa oba okubireka naye bw’oba obikozeseza ne bitakusanyusa, omulundi oguddako yongera ku bipimo bye wakozeseza oba okubikendeeza. Bitabule bulungi n’omulawo okutuusa lwe bibuna obulungi.

Ntanzi ng’alaga ssabbuuni awedde okukola.

Oluvannyuma biteeke ku mabbali okumala eddakiika 30 bimale okwekwata ng’ekipooli. Eddakiika 30 bwe ziggwaako, yala akaveera wansi oba ku mmeeza otuuzeeko akatiba katereere bulungi olyoke oteekemu ssabbuuni.

Bino olina kubikolera mu kifo ekiyonjo, ekiweweevu ate nga kikalu bulungi ssabbuuni asobole okukwata, okuguma obulungi n’obutafuumuukirako nfuufu.

Oluvannyuma lw’essaawa ssatu, mukebereko, bw’aba amaze okuguma, muggye mu katiba ate ozzeemu omulala.

Emitendera 10 mw’oyita okukola ssabbuuni ayoza

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabakafitri1 220x290

Kabaka ayagalizza Abasiraamu Idd...

KABAKA Ronald Muwenda II alagidde Bannayuganda okukuuma emirembe n’okusonyiwagana mu kiseera kino ng’Abasiraamu...

Mknded4 220x290

Famire eziyiridde mu nnyumba nga...

Abasiraamu mu kibuga ky’e Mukono baaguddemu encukwe ku Iddi munnaabwe eyabadde akedde ku maliiri okufumba emmere...

Mknmm3 220x290

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa...

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa Mukono ng’alina Corona virus-atwaliddwa mu kalantiini n’abalala babiri be...

Ssaavasennyonga 220x290

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere...

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere ya bukadde 300 okudduukirira abali ku muggalo

Lockdown309 220x290

Eyali awola ssente azzeeyo mu nnimiro...

ENSWA bw'ekyusa amaaso naawe ng'envubo okyusa ne Charles Tamale envubo agikyusirizza mu nkumbi okubaako ettofaali...