TOP

Engeri y’okukaza ffene oyoole ssente

By Musasi Wa

Added 12th June 2013

Amagezi nnagafuna ku mukwano gwange ali e Bulaaya eyang’amba nti eyo ffene ng’akaziddwa wa ttunzi singa oba omulongoosezza bulungi, ate osobola okumukuuma ebbanga ggwanvuko.

2013 6largeimg212 jun 2013 092621580 703x422

 

 

 

 

 

FFENE kibala ekiri kumpi mu buli maka naddala mu byalo naye abasinga tebamanyi bugagga kwe batudde. Bangi balowooza nti aliibwa mubisi kyokka.

Buno obuzibu Jane Namatovu omusawo omutendeke yabunogera eddagala, agamba nti yagenda okulaba nga ssente z’afuna mu busawo tezimumala n’asalawo okuyingirira okusuubula ffene gw’akaza n’amutunda mu maduuka amanene (supermarkets) n’e Bulaaya ekimuyambye okwongereza ku nnyingiza ye.

Amagezi nnagafuna ku mukwano gwange ali e Bulaaya eyang’amba nti eyo ffene ng’akaziddwa wa ttunzi singa oba omulongoosezza bulungi, ate osobola okumukuuma
ebbanga ggwanvuko.

Nnasalawo okutandika okusuubula ffene mu byalo kuba abeerayo mungi.

Olw’okuba nnatandika bizinensi eno nga sizoni ya ffene, bampa wa bwereere mu kyalo ate nga ng’enda mmukaliza ku musana.

Nnatandisa kapito wa 3,000/- ezaagula ekiveera kye nnasa mu katandaalo ne nnyanika ffene n’okubikkako kuba akatandaalo ke kaakola nga dulaaya.

Fene ku muti

Mukwano gwange yannyamba ffene gwe nnasooka okukaza n’amuntwalira e Bulaaya ng’addayo n’ampeereza ssente ze nnali sisuubula kufuna mu ffene ekyampa amaanyi n’obuvumu okwongera amaanyi mu mulimu guno.

Olw’okuba e Bulaaya ffene ono ali ku katale, waliwo Abazungu mikwano gye be yanfunira abajja ne bamungulako.

Mu kwongera okugaziya akatale kange, nnatwalako ffene wange mu ‘supamaketi' z’omu Kampala ezitali zimu nabo ne bamwagala ne bampa kontulakiti y’okubaguzanga ffene ono kuba mulungi ate osobola okumukuuma okumala omwaka mulamba. Ng’oggyeko okukaza ffene, Namatovu akaza emiyembe, ennaanansi n’emboga.

EMITENDERA GY’OKUKAZA FFENE
1. Sooka ososole ffene bulungi ng’omuteeka mu kintu ekiyonjo ng’omuggyamu ensigo, naye omuwula olina okugwabuluzaamu ayanguwe okukala.

2. Ffene alina kuba ng’ayengedde bulungi kuba omubisi addugala.

3. Dulaaya erina okuba ennyonjo okukuuma omutindo, olina okussaamu akagoye akaddugavu akayonjo kuba akajama kalumiza ffene.

4. Oluvannyuma teekamu ffene gw’ososodde obikkeko ekiveera ekigumu nga kiyonjo okwewala ensowera n’enfuufu okumugwako.

ENTEREKA
Namatovu agamba nti, omusana bwe guba gwaka bulungi olunaku lumu n’ekitundu ffene abeera akaze bulungi ate n’ossaamu omulala, naye olina okumukeberako olabe nga tatuuyanye kuba bw’atuuyana ayonooneka.

Bw’omuggya mu dulaaya ng’amaze okukala, mutereke mu baketi oba konteyina yonna nga ya pulasitiika kuba byo tebituuyana kwonoona ffene.

Oluvannyuma gisaanikireko kungulu osseeko ebiveera kikusobozese okukuuma ffene ono ng’ali mu bbugumu kuba ffene bw’omukaza aba teyeetaga kuyisa mpewo kuba ayonooneka.

Ffene bw’awera Namatovu amupakira mu buveera obugumu, obutayisa mpewo n’amutunda.

OKUSOOMOOZEBWA
Enkuba bw’eba etonnya eyonoona ebibala ne bitakala bulungi ekibyonoona.

Olw’okuba sikola mulimu guno gwokka, nsasula abantu abannyambako naye oluusi emirimu tebagikola bulungi era nga tebeefi irayo kuba bo baba tebalina kye bafi irwa ate nga nze kinfi iriza.

Fene ng'ali ku lutala kwayanikibwa

OBUBAKA
Nkubiriza Bannayuganda okukomya okunyooma emirimu kuba emirimu gye banyooma gye girimu ssente ate ng’oluusi tegyetaaga kusoma nnyo ate ng’ogikolera n’awaka nga teweetaaga ssente nnyingi okutandika.

EBIMUYAMBYE
a. Obuyonjo kikulu nnyo mu mulimu guno.

b. Enkolagana ennungi n’abantu ky’annyamba okutandika bizinensi nga sitaddeemu ssente nnyingi kuba ffene baamumpa ku bwereere.

c. Okwewaayo, kyetaagisa okutambula ennyo ng’onoonya ffene.

d. Amazima: Enjogera ennungi kikulu kuba y’ekufunira bakasitoma, okumanya bw’oyogera n’abantu ab’enjawulo ng’obannyonnyola bizinensi yo bw’ekola kiyamba okwongera ku muwendo gw’abaguzi bo.

e. Akatale: Ffene akaziddwa obulungi, mu ‘supamaketi’ gye mmutunda wa 2,500/- buli kkiro kyokka nga ffene omunene kigula wakati wa 5,000/- ne 6,000/- nga nsobola okuggyamu kkiro ssatu oba nnya bwe kiba n’emiwuula emirungi.

Be nguliza awaka mbaweera ku 2,000/-, kw’ossa okumutwala e Bulaaya ng’eno bamugula ku ssente nnyingi okusinga eza Uganda.

By’afunye
1. Mpeeredde abaana bange mu masomero amalungi kye nnali sisobola mu kusooka era omukulu ali ku yunivasite e Makerere.

2. Emyaka esatu (3) gye mmaze mu bizinensi eno ndaba ng’omulimu gulimu ssente kuba nnakozesa 3,000/- nga ntandika kyokka kati nnina kapito wa 5000,000/- ate nga zonna nziggye mu ffene.

3. Nguze yiika z’ettaka ssatu e Dewe ku lw’e Ntebe kwe ng’enda okutandika okulimira ffene, emiyembe, emicungwa n’ebintu ebirala.

4. Ntegeka kugula dulaaya y’ebibala ekozesa amasannyalaze okwongera kw’eyo gye nnagula ekozesa amaanyi g’enjuba ennyambeko mu biseera by’enkuba.

Engeri y’okukaza ffene oyoole ssente

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabakafitri1 220x290

Kabaka ayagalizza Abasiraamu Idd...

KABAKA Ronald Muwenda II alagidde Bannayuganda okukuuma emirembe n’okusonyiwagana mu kiseera kino ng’Abasiraamu...

Mknded4 220x290

Famire eziyiridde mu nnyumba nga...

Abasiraamu mu kibuga ky’e Mukono baaguddemu encukwe ku Iddi munnaabwe eyabadde akedde ku maliiri okufumba emmere...

Mknmm3 220x290

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa...

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa Mukono ng’alina Corona virus-atwaliddwa mu kalantiini n’abalala babiri be...

Ssaavasennyonga 220x290

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere...

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere ya bukadde 300 okudduukirira abali ku muggalo

Lockdown309 220x290

Eyali awola ssente azzeeyo mu nnimiro...

ENSWA bw'ekyusa amaaso naawe ng'envubo okyusa ne Charles Tamale envubo agikyusirizza mu nkumbi okubaako ettofaali...