TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Ettooke likolemu obuwunga olinnyise ennyingiza yo

Ettooke likolemu obuwunga olinnyise ennyingiza yo

By Musasi Wa

Added 24th July 2013

Amatooke mmere eyettanirwa mu Uganda n’ebweru waayo olw’obuwoomi bwago. Abasinga obungi bamanyi nti amatooke gavaamu mmere yokka oba menvu, wabula ggwe omulimi waago, omusuubuzi, atalina mulimu n’omulala yenna oyinza kugakolamu ki okwongera ku nnyingizaayo?

2013 7largeimg224 jul 2013 115617707 703x422


Bya RUTH NAZZIWA


Amatooke mmere eyettanirwa mu Uganda n’ebweru waayo olw’obuwoomi bwago. Abasinga obungi bamanyi nti amatooke gavaamu mmere yokka oba menvu, wabula ggwe omulimi waago, omusuubuzi, atalina mulimu n’omulala yenna oyinza kugakolamu ki okwongera ku nnyingizaayo?

Karim Karamagi, omukugu mu byenkulaakulana mu kibiina ekigatta abalimi n’abasuubuzi ekya Rural United Small Business Network Association agamba nti amatooke zaabu mwereere ate galina akatale kanene nnyo wano n’ebweru w’eggwanga era ng’omulimi ssente atandikira mu nnimiro okuzinoga.

By’osobola okukola mu matooke
Ebintu bingi by’osobola okukola mu matooke okusobola okweggya mu bwavu era ng’okuggyako okugatunda n’ofunamu ssente, abamu bagakolamu kabalagala, kulisipusi, okugafumba emmere ey’okutunda, okugakamulamu omubisi n’okugakolamu wayini.

Ebirala kuliko: obugolo, okugakalirira, abamu batunda endagala, ebikuta babikolamu ebigimusa n’amanda agafumba.

Karamagi annyonnyola nti, oluusi amatooke gabeera ku mudibo oba okwengera ekireetera abalimi n’abasuubuzi okufiirwa.

Okukola obuwunga obuva mu matooke y’emu ku ngeri gy’oyinza okugongerako omutindo n’otofiirwa. Ate bw’oba omulimi ofunamu kinene okusinga okutunda enkota.

Okukaza amatooke n’okugakolamu obuwunga, lye limu ku makubo agayinza okukugobako obwavu n’okwerinda ekyeya.

Okukaza amatooke

1 Yunja oba gula ettooke erikuze obulungi kuba libaamu ebiriisa byalyo mu bujjuvu.

2 Liwaate liggweeko ebikuta bulungi obuwunga buleme okuddugala.

3 Oluvannyuma kwata omunwe gw’ettooke busimba ogusaleesalemu emirundi esatu nga bw’ogiteeka mu kintu ekiyonjo muleme kugwaamu bucaafu ebiyinza okuleetera obuwunga okulumira.

4 Bw’omaliriza, obulere bw’osaze buyiwe ku lubaati mu ddulaaya bukale, laba nga bukaze bulungi enjuyi zonna. Oluvannyuma lw’ennaku ssatu, gaba gakaze wabula sooka ofuneko kamu okamenyemu, okukakasa nga gakaze olyoke otwale ku kyuma bakubemu obuwunga.

Obuwunga obuvuddemu obulungi bulina okuba ne langi ya nnamata, wabula bwe buvaamu nga bwa kikuusikuusi, kabonero akalaga nti bwakukula ng’okaza amatooke.Buno tebuba bulungi kulya kubanga obukuku bwa bulabe eri obulamu bwaffe.

Osobola okwongeramu ebiriisa
Oyinza okutabulamu obuwunga bwa soya, enkejje, mukene, obuwunga bwa kasooli atali mufuuweko n’ebirala.

Osobola okubugoyamu akawunga n’olya emmere oba okubufumbamu obuugi oba okubugabirira abaana naddala ng’obutabuddemu ebirungo ebirala.

Karamagi agamba nti, enkota y’ettoke ennene obulungi evaamu kkiro z’obuwunga ttaano oba mukaaga.
Kkiro y’obuwunga bw’amatooke etundibwa 3,500/- naye zikyuka okusinziira ku sizoni.

Lwaki wettanira obuwunga?

1 Amatooke gano gaba mangu okutambuza n’okutunda wabweru w’eggwanga ate mu bungi okusinga enkota.
2 Ofuna kinene okusinga atunze enkota oba agitundidde mu nnimiro.
3 Mangu okufumba.
4 Gatwala ekiseera kitono okufumba.
5 Gakuuma obuyonjo.
6 Gasigaza ebiriisa byago mu bujjuvu.
7 Buwangaala okusinga enkota evunda.

Weetegereze
Butereke mu kifo ekikalu obulungi buleme kunnyukirira kuba kibuleetera okukukula ne bwonooneka.
Bw’oba osala amatooke, weewale okugakekejula ennyo kubanga kigaleetera okumenyekamenyeka ekyonoona omutindo.
Kozesa amatooke agakuze obulungi kuba bw’owaata akanyaala kyonoona obuwunga ate buddugala olw’amasanda amangi agabaamu ekitta akatale.
Ekirala amatooke amato gakutukakutuka ng’oyanika oba okukukula ekyonoona obuwunga.
Totabulamu bika birala naddala embidde, ndiizi, bogoya, kisubi, kivuuvu n’ebirala kuba byonoona omutindo gw’obuwunga ekiyinza okwonoonera akatale.
Toyanika wansi kuba bifuumukiramu enfuufu. Ate enkoko, abaana n’ebisolo biyinza okubizannyiramu ne bicaafuwala ekyonoona omutindo gw’obuwunga n’omulimu gwo.
Totereka wali kkapa oba emmese, bicaafuwaza obuwunga ekiyinza okugoba bakasitoma.
Weewale okukyusiriza ddulaaya oba okugiteeka abaana, enkoko n’ebisolo we bizannyira kuba biyinza okugiwummulamu ebituli n’eyonooneka.

 


Ettooke likolemu obuwunga olinnyise ennyingiza yo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabakafitri1 220x290

Kabaka ayagalizza Abasiraamu Idd...

KABAKA Ronald Muwenda II alagidde Bannayuganda okukuuma emirembe n’okusonyiwagana mu kiseera kino ng’Abasiraamu...

Mknded4 220x290

Famire eziyiridde mu nnyumba nga...

Abasiraamu mu kibuga ky’e Mukono baaguddemu encukwe ku Iddi munnaabwe eyabadde akedde ku maliiri okufumba emmere...

Mknmm3 220x290

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa...

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa Mukono ng’alina Corona virus-atwaliddwa mu kalantiini n’abalala babiri be...

Ssaavasennyonga 220x290

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere...

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere ya bukadde 300 okudduukirira abali ku muggalo

Lockdown309 220x290

Eyali awola ssente azzeeyo mu nnimiro...

ENSWA bw'ekyusa amaaso naawe ng'envubo okyusa ne Charles Tamale envubo agikyusirizza mu nkumbi okubaako ettofaali...