TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Buganda ky’esinga okwetaaga ly’essuubi mu bantu baayo

Buganda ky’esinga okwetaaga ly’essuubi mu bantu baayo

By Musasi Wa

Added 31st July 2013

BUGANDA ne Uganda okutwalira awamu, mu kiseera kino erina okusoomoozebwa kwa maanyi, nga kusinga kusibuka mu byanfuna.

2013 7largeimg231 jul 2013 151938720 703x422

 

 

 

 

 


BUGANDA ne Uganda okutwalira awamu, mu kiseera kino erina okusoomoozebwa kwa maanyi, nga kusinga kusibuka mu byanfuna.

Okusoomoozebwa kuno tekubadde wano era tekuli wano wokka wabula kyenkana mu nsi yonna, okuva ku zaakula edda, okutuuka ku zaffe enjavu.

Kituufu ne ze tuyita ezaakula edda, zizze zisoomoozebwa ebyenfuna, okugeza omugootaano gw’ebyenfuna ogwabaawo mu myaka gy’asatu (1930) nga kigambibwa nti gwalina akakwate okuva ku Ssematalo owoolubereberye, gwasannyalaza nnyo ebyenfuna.

Ensi zino zazzeemu okufuna obuzibu bw’ebyenfuna mu 2008 nga n’okutuusa kati bakyalwanagana nagwo era wiiki nga bbiri emabega ekibuga ky’e Detroit mu Amerika kyasabye kirangirirwe mu baavu balunkupe kisobole okusonyiyibwa amabanja.

Obuzibu we bwavudde, abantu bangi abaakibaddemu bakidduseemu olw’ebyenfuna okutabuka amakampuni mangi ne gaggalawo, olwo omusolo gwe babadde bakung’aanya ne guggwaawo ne beesanga nga tebakyasobola kusasulira bye balina okutuusa ku batuuze.

Kyokka wadde nga Bulaaya ne Amerika bazze bafuna ebizibu ebiringa ebyo, buli mulundi babivvuunuse nga bayita mu makubo agawerako naye ng’erisinga okuba ekkulu kwe kuwa abantu essuubi nti ebintu bisoboka era basobola okwerwanako nga bayita mu kukola ne bavvuunuka ebizibu bye balimu ne bafuna obulamu obweyagaza.

Wano mu Uganda abantu bangi ababaddeko ebweru bwe bajja balaba ng’obugagga obuli wano tebugambika era ne beewuunya lwaki abantu baffe bakaaba obwavu.

Abantu bangi bazze wano abamu nga tebalina na ssente kyokka nga balina ebirowoozo ebirungi era wayita akaseera mpawekaaga ne bagaggawala.

Munansonyiwa okuwa ekyokulabirako kya baganda baffe Abayindi, abajja wano ne atandiikiriza n’obusente obutono, emirundi mingi ze baba beewoze okuva mu bannaabwe ne bazissa mu bintu bannaabwe bye bamaze okunoonyerezaako nti bifuna era na bakola nabo ne bagaggawala.

Nga bwe nnakugambye, abantu baffe tebaagala kuweebwa buyambi bwa mmere, oba ngoye, wabula kye basinga okwetaaga mu kiseera kino kubazzaamu ssuubi.

Singa oba weetegerezza ojja kukizuula nti ebitabo ebisinga obungi ebiwa abantu amagezi
g’okukola ssente okugaggawala, ebiwa abantu amagezi ag’okukola ne bayitimuka mu bintu byonna bye balimu, byatandika okuwandiikibwa mu kiseera amawanga ago we gaabeerera mu buzibu bw’ebyenfuna.

Kino tebaakigwako bugwi, wabula Gavumenti n’abakulembeze abaaliwo mu kiseera ekyo, baakimanya nti abantu abatalina ssuubi tebayinza kuganya ggwanga kugenda mu maaso ne basaba abaali balina obukugu n’obusobozi, bawandiike ebitabo, bategeke emisomo, boogere eri abantu nga bayita mu nkung’aana nga balaga abantu nti ebintu bisoboka era basobola okweggya mu bwavu.

Mu bantu be beeyambisa okukola kino mwalimu abayivu oba bakakensa, abantu abalina ekitone ekiwandiika, ekitone ky’okwogera, bannaddiini, kuno kwe baagatta abagagga abatonotono abaaliwo ne bagenda nga bazzaamu abantu amaanyi ate nga bwe bateekawo n’ebyokulabirako abantu bye balabako.

Mu Uganda kye twetaaga kwe kufunayo bannaffe abalina obusobozi abalina ke beekoledde
nga bayita mu makubo amatuufu balage abantu baffe nti ddala omuntu asobola okukola n’abeera obulungi.

Kino kirina okutandikira mu bakulembeze baffe, okuviira ddala ku bali ku ntikko okutuuka ku mukulembeze ow’oku kyalo.

Ssentebe yandibadde muntu awa ekyokulabirako ng’alina okugeza olusuku, ennimiro za muwogo ne lumonde nga kw’agatta omusiri gw’emmwaanyi.

Buli Ssentebe w’eggombolola yandibadde n’olusuku olutakka wansi wa yiika ttaano, emmwaanyi eziweza yiika 10 n’akakolero okugeza ekyuma kya kasooli, abantu we basobola okutwala ebintu byabwe ne bikolwako.

Buli mubaka wa Palamenti yandibadde n’ebintu ebirabika by’akoze abantu be bye basobola okutunulako nabo ne batandika okubikola ne bafuna ssente.

Tukooye abakulembeze abagaggawala kyokka nga tebasobola kunnyonnyola ngeri gye bafunyeemu ssente.

Abo tebawa ssuubi era be baleetedde abantu baffe okuggwaamu amaanyi ne balowooza nti okugaggawala oteekwa kubba, oba kukutula ddiiru.

Abakulembeze bonna okuva ku bakungu ba Ssaabasajja nga bakulemberwa Katikkiro kibagwanidde okussaawo emirimu egisobola okufuuka ekyokulabirako eri abantu mu bitundu bya Buganda eby’enjawulo.
Eriyo ebitundu abantu gye balowooza nti ensuku tezisobola kulimwayo, eriyo abalowooza nti tebayinza kulima mmwaanyi, kuno kw’ogatta ekirime ky’amajaani ekigaggawazza Abayindi bonna abali mu Uganda kyokka nga ffe twakyesamba ate nga kyenkana kidda wonna mu Buganda.

Abantu kye beetaaga mu kiseera kino kufuna byakulabirako ebikakasa nti ddala omuntu
ayinza okukola n’agaggawala.

ENGERO Z’ABAGAGGA: Ennyonyi enkulu y’eyigiriza ento okubuuka.

ENSI KUYIIYA NE MICHAEL MUKASA SSEBBOWA
Email: mssebowa@newvision.co.ug


Buganda ky’esinga okwetaaga ly’essuubi mu bantu baayo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabakafitri1 220x290

Kabaka ayagalizza Abasiraamu Idd...

KABAKA Ronald Muwenda II alagidde Bannayuganda okukuuma emirembe n’okusonyiwagana mu kiseera kino ng’Abasiraamu...

Mknded4 220x290

Famire eziyiridde mu nnyumba nga...

Abasiraamu mu kibuga ky’e Mukono baaguddemu encukwe ku Iddi munnaabwe eyabadde akedde ku maliiri okufumba emmere...

Mknmm3 220x290

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa...

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa Mukono ng’alina Corona virus-atwaliddwa mu kalantiini n’abalala babiri be...

Ssaavasennyonga 220x290

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere...

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere ya bukadde 300 okudduukirira abali ku muggalo

Lockdown309 220x290

Eyali awola ssente azzeeyo mu nnimiro...

ENSWA bw'ekyusa amaaso naawe ng'envubo okyusa ne Charles Tamale envubo agikyusirizza mu nkumbi okubaako ettofaali...