TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Emboga zikolemu ensaano owone okudondolwa

Emboga zikolemu ensaano owone okudondolwa

By Musasi Wa

Added 27th November 2013

EMBOGA kimu ku birime ebikula amangu era mu bungi naddala nga biri ku ndabirira ey’omulembe.

2013 11largeimg227 nov 2013 114236157 703x422



Bya Hafswa Nankanja
EMBOGA kimu ku birime ebikula amangu era mu bungi naddala nga biri ku ndabirira ey’omulembe.

Emboga bw’otogirabirira bulungi eyinza okukwonoonekako mu kiseera kitono ddala nga waakagiggya mu nnimiro.

Oluusi weesanga nga ne bw’oba ozitutte mu butale kiba kizibu okuzitunda ne ziggwaawo zonna mu lunaku lumu ekikufiiriza.

Wabula, Ssentebe wa bulungi bwa nsi, Omulangira Kanaakulya Ishaak (Mpalembaaya) era nga y’atwala ebyokwerinda mu muluka gwa Kasenge mu Ggombolola y’e Nsangi mu disitulikiti y’e Wakiso bino byonna abinogedde eddagala.

Agamba nti, obuzibu buno yatuula n’ayiiya eky’okubukolera era n’akifuna. Akulaga engeri gy’ayoola ssente mu mboga ne zitakuvundako ate n’ofuna ekiwera.

Ng’oggyeeko okugisalaasala n’ogifumba, osobola okugikolamu ensaano n’ogitunda oba okukola eggobe.

Ebyetaagisa

  1. Emboga n’ebikoola byayo.
  2. Ekinu n’omusekuzo.
  3. Dulaaya oba omusana ogwa bulijjo.
  4. Akakung’unta.

Entabula
Emboga osobola okugikaliza mu musana butereevu oba bw’oba weetaaga akawoowo kennyini gikalize mu dulaaya.

1 Gigagambuleko ebikoola by’oku ngulu ebiddugala obyoze bitukule. Bw’oba ogenda kukozesa musana, bisaleesale obulere oluvannyuma obyanike mu musana. Mu nnaku ssatu zokka biba bikaze.

Akozesa dulaaya byanikemu nga si bisaleesale, era okozese omuliro ogw’ekigero okumala essaawa ssatu obiggyeyo.

2 Yoolako ebisaamu saamu nga bw’oteeka mu kinu otandike okusekula. Bwe bigonda funa akakung’unta obikung’unte bibeere nga pawuda ataliimu wadde empulunguse.

3 Funa obucupa opakire otunde oba ofumbe weeriire.

Emboga eya 1,500/-  ngifunamu 10,500/-
Kanaakulya agamba nti, mu mboga emu egula ssente 1,500/- aggyamu obucupa bw’ensaano obwa gulaamu 250 busatu.

Akacupa k’ensaano akamu akasuubuza ku 3,500/- ate ku maduuka n’okagula wakati wa 5,000/- ne 5,500/-.

Buli wiiki akola obucupa bw’ensaano y’emboga obwa gulaamu 250 lukumi. Kitegeeza nti buli wiiki akola 3,500,000/-. Kuno kwe ntoola ez’abakozi, kapito n’ezange ez’amagoba. Buli mboga emu ngifunako amagoba ga ssente ezitakka wansi wa 5,000/-.

Ensaano ngitunda mu maduuka agatwetoolodde mu ggwanga. Wabula mu kiseera kino naweerezza okusaba kwange mu mawanga ag’ebweru nga nsaba okubatunza ensaano era abasinga banzizeemu nga bambuuza lwe ntandika okubawa emboga zino.

Alina emboga zinguze
Omuntu yenna alina emboga z’atunda oba oyo ayagala okweyongera okuyiga mmwaniriza. Omulimi ali eyo, toyonoona mboga yo ng’ogiggyako ebikoola n’obisuula, ebikoola bimpe nze nja kubifunira omulimu.

Emboga zikolemu ensaano owone okudondolwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lim1 220x290

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako...

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako omujaasi omutwe ne gubula

Wez1 220x290

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza...

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza eri abantu be Buikwe

Fut2 220x290

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga...

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga abaana ebikolwa eby'ekikaba

Fut1 220x290

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana...

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana baganzi be

Sad1 220x290

Engeri abazadde gye bayingiza abaana...

Engeri abazadde gye bayingiza abaana mu nsonga z’obwenzi