TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Abantu abasoba mu 15,000 beetabye mu lukung’aana lwa Yiiya Ssente

Abantu abasoba mu 15,000 beetabye mu lukung’aana lwa Yiiya Ssente

By Musasi Wa

Added 10th March 2014

ABANTU abasukka mu mutwalo gumu n’ekitundu be beetabye mu lukung’aana lwa Yiiya Ssente ne bavaayo nga banyeenyeza Bukedde emitwe olw’okubatuusaako abakugu abaabazibudde amaaso ku makubo g’okunoonya ssente n’okutandikawo emirimu.

2014 3largeimg210 mar 2014 121140323 703x422



Bya BENJAMIN SSEBAGGALA

ABANTU abasukka mu mutwalo gumu n’ekitundu be beetabye mu lukung’aana lwa Yiiya Ssente ne bavaayo nga banyeenyeza Bukedde emitwe olw’okubatuusaako abakugu abaabazibudde amaaso ku makubo g’okunoonya ssente n’okutandikawo emirimu.

Zaagenze okuwera ssaawa 2:00 ku makya g’Olwomukaaga ng’abantu basimbye ennyiriri ezaabadde zifuluma Freedom City e Namasuba awaabadde olukung’aana kyokka oluvannyuma abantu bonna baayingidde olwo abakugu ne batandika okubabangula.

Kebera wano ebifaananyi by'omukolo guno

Olukung’aana lwategekeddwa olupapula lwa BukeddeOnline,Bukedde  Bukedde Ttivvi ne Bukedde Ffa Mma Embuutikizi mu kaweefube Bukedde famire  gw’aliko okuzibula abantu amaaso era Mw. Robert Kabushenga, akulira kkampuni yategeezezza nti guno omulundi kubadde kuyigiriza bantu kuyiiya ssente n’okutandikawo emirimu naye omulundi oguddako Bukedde agenda kuleetera abantu abakugu abayinza okubayamba obutereevu mu byensimbi ezitandika emirimu.

Abeetabye mu lukung’aana nga bawuliriza amagezi g’abakugu.

Abalina kye beetandikiddewo abaabangudde abavubuka n’abantu abalala kwabaddeko nnannyini Ugachick, Aga Ssekalaala Sr; Dayirekita wa Kampala, Jeniffer Musisi; omugagga John Ssebalamu nnannyini Freedom City eyawaddeyo ekifo awaabadde olukung’aana ku bwereere ne Dr. Nnaalongo Emma Naluyima omulimi era omulunzi omukuukuutivu.

Ssebalamu yasabye nti nga bannabyabufuzi bwe bategeka ebimeeza okukubaganya ebirowoozo ne Bukedde akwatagane ne Freedom City okutandikawo ekimeeza abasuubuzi basobolenga okuwa abantu amagezi okukola ssente ye ne yeeyama okuleetanga abasuubuzi basomese abantu.

Abantu naddala abavubuka bajjumbidde olukung’aana luno ne bajjuza ekifo okuva ku mwaliiro ogwa wansi okutuuka ku gwokusatu abamu ne bayimirira kyokka ne bavaawo nga bawera nti okusinziira ku kye baafunye buli lwe banaabayita bagenda kujjumbira.

Olukung’aana lwakubiriziddwa amyuka omukung’aanya wa Bukedde Micheal Mukasa Ssebbowa akuwandiikira omuko Ensi Kuyiiya buli Lwakusatu mu lupapula lwa Bukedde.

Abamu ku bavubuka abajjumbidde olukung’aana lwa Yiiya Ssente.

Bizinensi ekolebwa mazima na bwesigwa - Ssekalala Sr.
1. Amazima n’obwesigwa kye kisumuluzo mu bizinensi.
2. Katonda muteeke ku mwanjo ng’otandika bizinensi.
3. Weewale okuggya ssente mu bizinensi okuzikozesa ebirala ebitazza magoba.
4. Nnannyini bizinensi teweesasula nga tonnaba kusasula bakozi.
5. Omukozi muwe omusaala ogumumala era agufune mu budde.
6. Omulimu gwo gulabirire nga bwe weerabirira.
7. Tokozesa baaluganda kubanga oyagala okuyamba, kozesa bakugu.
8. Nywerera mu bbanka gy’oterekamu oleme kukaluubirirwa nga weewola.
9. Weewale obugayaavu mu bizinensi.
10. Togenda mu bintu by’otafunamu ng’okwanjula, okwabya ennyimbe buli kiseera n’ononooza emikolokolo egitakukwatako.

Amagezi ga Dr. Naluyima ku kuyiiya ssente

  1. Sula mu kifo gy’oteeka ssente zo oleme kulagiriza ng’oli mu kibuga. Okukuba ssimu okumanya emirimu bwe gitambula tekimala.
  2. Ategeka okulunda manya olulyo lw’olina okussa ku ffaamu yo.
  3. Endiisa ennungi kikulu kubanga ne bw’obeera n’olulyo olulungi n’oluliisa bubi tofuna ky’oyagala.
  4. Endabirira y’emirimu gy’okola kikulu kubanga ng’omuntu bw’oyagala okulya n’ekisolo bwe kyagala.
  5. Omwana mukuze ng’omuyigiriza okukola ssente bw’ayiga okuyita maama ekiddako muyigirize kwatula ssente nga tannaba kwatula taata.
  6. Okugabanya obudde kikulu n’omanya buli kintu w’olina okukikolera.

Jennifer Musisi by’agamba ku ngeri y’okukola ssente

  1.   Okukuuma ebiwandiiko ebikukwatako n’ebyogera ku bizinensi kikulu.
  2.   Omuntu olina okubeera n’ekigendererwa era n’okiraga mu buli mulimu gw’okola.
  3. Olina okubeera omwesimbu era ow’amazima mu mutima gwo ggwe ng’omuntu.
  4. Ssente za Gavumenti weeziri okuwola abavubuka ate nga n’ezimu tozisasulira magoba.

Ebinaakuyamba okukola ssente

  1. Kolagana ne bbanka emu bakumanye. Bw’oba mu buzibu ng’olina amazima bakuyamba.
  2. Tokulembeza ggwanga, ddiini ng’onoona b’okolagana nabo. Kulembeza bukugu bwa muntu.
  3. Mukomye okugenda ku mikolo egiteetaagisa kubanga Gitta bizinensi, manya bw’ovaawo n’abakozi bakuyiiya.
  4. Obumalirivu kisumuluzo kikulu ekikutuusa ku buwanguzi.
  5. Nga tonnasaba Gavumenti ekuyambe, sooka weebuuze ggwe weeyambye otya?
  6. Abakazi abasigala awaka, musobola okukozesa akabookisi okutereka ssente ne mutandikawo bizinensi ezisookerwako.

Abantu abasoba mu 15,000 beetabye mu lukung’aana lwa Yiiya Ssente

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ras13 220x290

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe...

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe Bebe Cool n'abakungu ba ministry ya Health gye baamaze olunaku lulamba nga...

Sat13 220x290

Pass PLE addamu mu February

Pass PLE addamu mu February

Soz1 220x290

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba...

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba P7 ebyetaaga okukolako

Dit1 220x290

Obugagga bwange buli mu mbizzi...

Obugagga bwange buli mu mbizzi

Gat1 220x290

Owa LDU akubye omuntu essasi mu...

Owa LDU akubye omuntu essasi mu kumukwata