TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Engeri y’okugabanya yiika emu eneekugaggawaza

Engeri y’okugabanya yiika emu eneekugaggawaza

By Musasi Wa

Added 12th March 2014

OLUKUNG’AANA lwa Yiiya Ssente olwategekeddwa ku Freedom City, na kati bangi bakyalutenda. Abantu abasoba mu mutwalo gumu n’ekitundu be baalwetabyemu abakugu ne babawa obukodyo bw’okukola ssente.

2014 3largeimg212 mar 2014 130039150 703x422




Bya EDWARD SSERINNYA
OLUKUNG’AANA lwa Yiiya Ssente olwategekeddwa ku Freedom City, na kati bangi bakyalutenda.

Abantu abasoba mu mutwalo gumu n’ekitundu be baalwetabyemu abakugu ne babawa obukodyo bw’okukola ssente.

Aboogezi baakulembeddwa omulimi, omulunzi ate munnamakolero Aga Ssekalala Sr., Dayirekita wa Kampala Jeniffer Musisi Ssemakula, Dr. Emma Naluyima ne nnannyini kizimbe kya Freedom City John
Ssebalamu.

Leero tukuleetedde ebyayogeddwa Dayirekita Musisi ne Dr. Naluyima mu bujjuvu.

Kozesa yiika ogaggawale
Dr. Emma Naluyima yatemyetemye yiika emu n’alaga engeri gy’osobola okugikozesaamu n’oyoola ssente.

Desimolo 25 ozimbako ennyumba, n’olundirako ebyennyanja 10,000 ku desimoolo 10. Embizzi 30 ezizaala zisse ku desimolo 18, ente eziri wakati wa 15 ne 20 ez’ekiyumba zisse ku desimoolo10.

Enva endiirwa mu kiyumba kya (Green House) zirimire ku desimoolo 10. Osobola okulundirako enkoko n’olusuku ebikolo nga 60 ate yiika eba ekyaliwo, kale mbuulira ebintu ebyo waggulu bwe biyinza
okugaana okukuwa ensimbi?

Ebintu bisa tu ebi tambuza faa mu 1 Olulyo: Ekisolo kyonna ky’olunda kirina okuba nga kya lulyo lulungi lw’ojja okukifunamu.

Okugeza nze embizzi ze nnunda eza Comborough ak’olunaku lumu kabeera ka kkiro emu n’ekitundu, ku wiiki 4 kaweza kkiro 8, ku nnaku 70 kaba ka kkiro 28, ennaku 150 kkiro 110 kati olwo lulyo lungi.

2 Endiisa : Emmere gy’oliisa ebisolo byo erina okuba ennungi ng’etabuddwa mu birungo ebirungi. Wabula emmere ne bw’eneeba ennungi ng’olulyo lubi era ekisolo tekijja kukula mangu ofunemu.

3 Endabirira: Bw’oba n’olulyo olulungi n’emmere ennungi naye ng’endabirira teriiwo byonna omala biseera, ensolo nga tezirya mu budde, tezigemwa mu budde, zisula wabi n’ebirala ng’ebyo era oba
omala biseera.

Kino kitegeeza nti byonsatule birina kutambulira wamu okusobola okufuna amagoba ku faamu.

By’oba weesibako okukola ssente Beera n’ekiruubirirwa ekinene. Kino kitwale ng’abazannya omupiira, singa wabaawo ggoolo nga nfunda kikaluubiriza abazannyi okuteeba, sso nga ggoolo engazi kyangu nnyo omuntu okugiteebamu.

Kale n’okukola ssente tekwetaaga kuba na kigendererwa kifunda kuba kijja kukaluubiriza okukituukiriza.

ABAFUNYE SSENTE ZINO BOOGEDDE
Abavubuka 20 abeegattira mu kibiina kya Bukasa Youth Enterprise e Bukasa nga kikulemberwa Geofrey Ssemata bamu ku baafuna ku ssente za KCCA okwekulaakulanya, banyumya engeri gye bafunye mu ssente za Gavumenti zino: Ssentebe waabwe, Geofrey Ssemata anyumya bwe baatandika.

“Bwe nnali nnoonya emirimu mu 2012 ne nsanga bannange abalala nga nabo banoonya mirimu, mu kunyumya kwaffe twasalawo twegatte tubeereko kye tukola.

Twatandika abantu mukaaga ne tusonda 3,000/- buli omu, buli wiiki okumala emyezi ena, era twaweza 900,000/-. Omu ku bammemba, Fred Ssande yaleeta ekirowoozo okutandikawo bizinensi y’okukola bulooka za sseminti n’okutunda amayinja era awo we twatandikira.

Twasooka kutunda mayinja ge twagulanga mu birombe ne tugaasa ne tugaguza abazimba.

Mu 2013 olwawulira nti waliwo ssente z’abavubuka ez’okwekulaakulanya mu KCCA twassaamu okusaba kwaffe ne tuweebwa obukadde butaano (5). Zinotwazikozesa okugaziya bizinensi yaffe.

Twatandika okukola bbulooka, era kati tuli wala kuba tukola n’ebirala omuli: Peeva, amayinja ag’enjawulo, omusenyu, era abaali banoonya emirimu ate buli omu alinayo bizinensi endala gy’atandise ebbali era ebya ssente si kizibu kyaffe”, Ssentebe Ssemata bw’amaliriza.

ABALIMI NABO BAYAMBIDDWA
Ng’ovudde ku ssente eziyamba abalina kye batandiseewo Muky. Musisi agamba nti, tebakoma ku kuyamba ba bizinensi bokka wabula n’abalimi nabo bayambibwa.

Agamba nti, baataddewo enkola ey’okulimira mu kibuga awatali kutaataaganya balala eyitiddwa ‘Urban Farming’.

Agamba nti, balina n’ettaka e Kyanja eririmirwako n’okulundirwako lye baataddewo okuyamba okusomesezaako abalimi n’okubayigiriza engeri ennungi ey’okulimamu n’okulunda mu kibuga.

EKIBIINA KY’ABALIMIRA MU KIBUGA
Dayirekita Musisi annyonnyola nti, okufuna mu nkola eno olina okubeera mmemba w’ekibiina kya Urban Farmers Forum mu kitundu kyo nga kino kiri mu buli muluka mu Kampala.

Mu bibiina muno mwe balonda abantu 12 buli mulundi ne bafuna ebintu ebikozesebwa mu kulima era buli afuna ebintu bino bamuweerako ebikozesebwa bya 750,000/- ssaako KCCA okumusindikira abakugu ne bamuyigiriza engeri ennungi ey’okulundamu n’okulima.

Okugeza bwe bakuwa enkoko bakuweerako emmere yaazo ya 750,000/- n’okukuwa omukugu okukutendeka okuzirunda.

TEMUNYOOMA MIRIMU
Muky. Musisi anenya abantu naddala abavubuka abanyooma emirimu ky’agambye nti ky’ekisinze okulemesa abantu okukola ssente sso ng’emirimu eginyoomebwa mwe muli ssente.

Ekirala, obugayaavu obufumbekedde mu Bannayuganda nabwo bukoze kinene ku bbula lya ssente era abakubiriza nti bw’ofuna ssente za Gavumenti zikozese ekyo ky’ozifunidde sso si kudda mu kwejalabya.

Akubiriza abasuubuzi okweyunira akatale ka USAFI kuba nayo bagenda kugabirayo ssente z’okwekulaakulanya, ate waliwo n’enkola za Gavumenti endala nnyingi okuli NAADS nazo eziyamba okwekulaakulanya.

Engeri y’okugabanya yiika emu eneekugaggawaza

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Patu 220x290

'Twagala Mityana eyegombesa'

Patrick Mugisha ng'ono y'avuganyaako ku kifo ky’obubaka bwa Palamenti okukiikirira Mityana North aludde ddaaki...

Pro 220x290

Ddala kiki ekyasse omugagga wa...

OBULWADDE obwasse omutandisi w’essomero lya Kabojja Junior School, bwasooka kucankalanya lubuto, aba famire ne...

Titi 220x290

Omutuuze w’e Kanyanya afiiridde...

Muky. Roninah Nakacwa Kyaterekera Kirumira 69, baamututte mu Amerika okumujjanjaba obulwadde bwa kansa kyokka n’afa...

Busy1 220x290

‘Nze ebya laavu nabivaako nneekubira...

BW’OBA onyumya n’omuyimbi w’ennyimba za laavu David Lutalo emboozi ye ewooma era mubeera mu kuseka n’okukuba obukule....

Gurad 220x290

Amasomero agatannafuna bigezo bya...

AMASOMERO agamu gakyalwana okuggyayo ebigezo by’abayizi baabwe ebya P7 mu UNEB, ekireese obweraliikirivu mu bazadde...