TOP

Obugagga mbukoleredde emyaka 34’

By Musasi Wa

Added 9th April 2014

Mu kiseera kino nnina bizinensi ttaano (5) okuli supamaketi, ekirabo ky’emmere, okufumba ku mikolo ng’embaga, okutimba n’okulunda ente.

2014 4largeimg209 apr 2014 111540780 703x422



Bya DICKSON KULUMBA

TEWALI muntu ayingira mu kibuga kye Kayunga n’atatuukako ku kirabo kya Nnaalongo Kibirige eky’emmere.

Bw’otuukawo nawe omanya ensonga lwaki abantu beeyunirawo olw’omutindo n’obumanyirivu obwolesebwa.

Nnaalongo Kibirige agamba nti, okufumba yakukugukamu ekimuyambye okuwangaalira mu mulimu guno.

Yatandika okukola emirimu omuva ensimbi emyaka 34 egiyise nga yatandika na kusiika bumpwakimpwaki n’agenda ng’alinnyisa omutindo kati alina ekirabo ky’emmere, supamaketi, atimba ku mikolo n’emirimu emirala, omuli n’okuwa abavubuka b’e Kayunga emirimu.

Mu maka ge asimbamu ebika by’ebimuli eby’enjawulo by’akozesa okutimba ku mikolo.

Entandikwa nagifuna mu kulima binyeebwa
“Nnatandika okwekozesa mu 1982. Entandikwa nagifuna mu binyeebwa, ebijanjaalo ne muwogo bye nnalima. Awo we nnava ne ng’enda e Masaka mu tawuni ne ntandika okusiika sumbuusa, capati, kabalagala n’okutunda amenvu, ebikajjo n’ennaanansi.

Mu 1983 nnabivaamu, ku ssente ze nafunamu ne nkola edduuka e Nakayiba mu Masaka okutuuka mu 1985, ne ntandika okusuubula e Bukoba - Tanzania.

Nnatwalanga engoye, empande z’amasuuti, n’obugoye bw’abakyala obwa sifoni, ne nkomawo n’amabaati, amajaani n’amaseffuliya ge natundanga e Masaka.

Mu 1987 twasenguka ne tujja e Kayunga nga baze bamukyusizza mu UEB (kati UMEME).
Wakati wa 1986 ne 1988, ensimbi ezikola emirimu zaali ziweze ne nneeyongerayo okusuubula e Mwanza.

Eno nnatwalangayo obuteeteeyi bw’abaana nga nze mbwetungira, olwo ne nzira n’obujoola obwa neeti abakyala ze beesiba ku mutwe.

Bwe nnabanga sigenze Mwanza nga mbeera ntunga ngoye ku Channel Street e Masaka.

Nnaalongo Kibirige ng’alaga amayumba g’abapangisa w’azimba era w’ayagala
okugaziyiriza bizinensi y’okufumba.

Nnalina abakozi bangi kuba twalina be tusuubuza bangi. Ssente bwe zaawera ne ntandika okuleeta ‘cotton cake’ (ava mu ppamba, mu Tanzania bamuyita masudu) nga ntikka ekiyumba ky’eggaali y’omukka okuva e Mwanza. Nnali mbisuubuza kkampuni eyitibwa Green Milling e Jinja, Ugachick ne Bulemeezi Millers.

Nnaleetanga n’ebigimusa ne nguza aba Masaka Union. Ebyo nabivaamu kuba nalina okulabirira amaka gange ng’abaana nneetaaga okubeera nabo awaka. Mu 1994 twayambagana ne baze ne tukola edduuka. Mu 2000 nnatandika ekirabo ky’emmere ekya Joze Maria ate mu 2002 ne ntandika okufumba ku mikolo.

NNINA BIZINENSI TTAANO
Mu kiseera kino nnina bizinensi ttaano (5) okuli supamaketi, ekirabo ky’emmere, okufumba ku mikolo ng’embaga, okutimba n’okulunda ente.

Tufumbira mu bitundu by’eggwanga ebiwerako okuli Kamuli, Masaka, Kampala n’ebirala. Buli bizinensi erina obukulembeze bwayo kyokka zonna nsigala nzirondoola nga zino ze nnina, zawandiisibwa mu kkampuni emu eyitibwa Jose Maria Association Ltd.

Ekirabo kya Nnaalongo Kibirige w’atundira emmere e Kayunga.

By’ayiseemu mu kuyiiya ssente
1 Okukola kizibu ng’ate olina okulabirira omwami, abaana n’amaka.
2 Okukwasaganya abakozi b’ofunye okuwangaalira ku mulimu nakyo kizibu kuba abamu si beesigwa.
3 Ekirala omuntu akuwa omulimu nga gwakuliisa abantu 1000 naye okugenda okutuukayo nga bali 1500 n’ozibuwalirwa.
4 Emirimu gye nkola, ginsuza ntunula ate ng’olina okugituukiriza.

Obukodyo obumuyambye
a.Okwagala omulimu gwange. Bw’okola ekintu ng’okyagala kivaamu bulungi.
b. Abaana nnabasomesa okukola ne kinnyamba abakozi we batali. Obwesigwa kikulu, akuwadde omulimu bw’alaba ng’oli mwesigwa, naye ayongera okukuwa emirimu.
c. Obuteenyooma kikulu. Ndi mukyala munyiikivu mu byenkola.
d. Ngoberera ebintu bye nsuubula okulaba nti omutindo gwabyo guli waggulu kuba ne mu mirimu gyonna gye nkola, omutindo gwe nkulembeza.
e. Okubeera omukulembeze omulungi eri abakozi n’okubasasula obulungi ate mu budde kiwangaaza bizinensi.
f. Okubala ebitabo nakyo kikulu. Kikuyamba okumanya nti okola amagoba oba ofiirwa. Kino kiwa embalirira ennung’amu n’otofulumya ssente nnyingi okusinga z’oyingiza.

BY’AFUNYE
Nzimba amayumba g’abapangisa, amaka mwe tusula, okufuna ettaka e Masaka n’e Kayunga, okuweerera abaana n’okugaziya bizinensi zaffe.

Amagezi ge mpa abakyala n’abantu abalala, ga kuyiiya n’okunyweza ssente. Mwekwase Katonda, ate temunyooma mirimu.

Obugagga mbukoleredde emyaka 34’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Netherlands1 220x290

Budaaki ewadde Uganda obuwumbi...

EGGWANGA lya Budaaki likubye Uganda enkata ya buwumbi bwa ssente bubiri, ziyambe mu kutumbuka eby’obulambuzi mu...

Mus12 220x290

Aba NRM bawonye okupangisa

Aba NRM bawonye okupangisa

Masasi1 220x290

Bakutte omujaasi ku kutta aba Mobile...

BULIJJO abantu bamulaba n’ekidomola ky’amazzi ekya kyenvu, nga balowooza nti aguliramu mmere ya bisolo.

Top31 220x290

Aba NRM bawonye okupangisa

Aba NRM bawonye okupangisa

Det1 220x290

Bakkaanyizza ku by’okutwala abantu...

Bakkaanyizza ku by’okutwala abantu ku kyeyo