TOP
  • Home
  • Emboozi
  • ‘Nnatandikira ku kusiiga njala kati nkoze saluuni’

‘Nnatandikira ku kusiiga njala kati nkoze saluuni’

By Musasi Wa

Added 16th April 2014

“Nnasooka kwegomba muganda wange eyali akola mu saluuni mu Kampala. Buli lwe yakomangawo awaka ng’aliko ky’ayagala ng’atoola ku ssente ze yabanga afunye ng’antuma nkimugulire. Kyokka bwe nakomangawo n’ezifisse ng’azimpa nkolemu bye njagala”, bwatyo Julius Lukwago ayooyoota enviiri ku luguudo lwa Du

2014 4largeimg216 apr 2014 104732540 703x422



Bya LILLIAN NALUBEGA 

“Nnasooka kwegomba muganda wange eyali akola mu saluuni mu Kampala. Buli lwe yakomangawo awaka ng’aliko ky’ayagala ng’atoola ku ssente ze yabanga afunye ng’antuma nkimugulire. Kyokka bwe nakomangawo n’ezifisse ng’azimpa nkolemu bye njagala”, bwatyo Julius Lukwago ayooyoota enviiri ku luguudo lwa Duster Street bw’atandika okunyumya gye nvudde we.

Lukwago agamba nti, olw’okwagala obulamu obulungi ng’obwa mukulu we yatandika okwegomba okukola nga bukyali era n’okulowooza ky’asobola okukola ng’akyasoma. Anyumya bw’atambuza emirimu gye:

Bwe nammaliriza siniya eyomukaaga mu 2009 mu Rhiness S.S - Namungona, nalowooza nti nsobola okukola ku ssente ne nneeweerera ku yunivasite kuba taata obusobozi bwali bumukendeddeko. Nnalina muganda wange Umar Lukwago eyali akola mu saluuni ya Batte e Wandegeya. Yalina obulamu obweyagaza ng’abeera muyonjo, ayambala engoye zonna z’ayagala ate nga bw’ayagala ekintu akyetuusaako. 

Nneegomba nnyo okubeerako mu bulamu obwo ne musaba antwale nkole naye kyokka n’agaana ng’agamba nti nkyali muto atalina bumanyirivu oba obuyigirize kwe nyinza okusinziira okufuna omulimu.

Nnatandika okukimira balirwana amazzi ne bansasula era bwe nawezaawo ku ssente, nagula cutekisi, ne nfuna akasero ka baaba akakadde ne ntandika okutambula mu bawala b’oku kyalo nga mbasiiga cutekisi. 

Nnali simanyi kya maanyi naye nnakozesanga obwongo ne mbasala enjala omusono gwa bokisi gye nnali nsinga okumanya ate n’oluusi abalala nga bakugamba nti baagala kuzisongola. Oluusi nnakozesanga n’ejjirita okusobola okusongola enjala zaabwe nga bwe baazaagala oluvannyuma ne nzirongoosa ne fayiro awo ne nsiigako cutekisi gwe baagala ne bampa ssente.

ABAKAZI ABANKWANANGA BANNEMESA OKUTEMBEEYA

Kino nnakikolera ebbanga era nnagenda okulaba ng’okutambula ku byalo kikooya. Olw’okuba nnali mulenzi amanyi ku luzungu ate nga mbeera muyonjo, akuba ebikalu ng’abakyala abamu baagala mbaganze. Abamu ng’ogenda kumulongoosa enjala n’ayagala oyingire mu nnyumba awatali bantu. Bano nabeekengeranga, era bino bye bimu ku byannemesa ‘okutembeeya’ okusiiga cutekisi ne mpalirizibwa okunoonya saluuni we mba nkolera naye nga buli we ng’enda baagala anaakola enviiri. 

Olw’okuba nnali simanyi kukola nviiri ate nga ne ssente nnina ntono, nasalawo nnyingirire ogw’okupoota ku nnyumba ya mulirwana waffe, Mw. Robert Tugume. 

Ono namukolerako akabanga nga buli lunaku ampa 4,000/-. Kuno kwe nafunanga oluusi ekyokulya endala ne nzitereka. Ku zino nagattako 50,000/- ze natunda mu mufaliso gwange kwe nnali nsula mu kisulo olwo nne nkomawo ku Sir. Apollo okunoonya saluuni. 

Nnali simanyi kukola nviiri naye nga nazo nnali njagala nziyige. Ku luguudo lwa Sir. Apollo, waaliwo saluuni eyali emanyiddwa nga Saloon Expression Beauty Spot. Eno waaliwo omukyala nannyini yo eyansaba 50,000/- omwezi okusobola okunjigiriza okunaaza mu nviiri n’okuzikola.

NNATUNDA MUFALISO OKUSOMA ENVIIRI

ssente ze natunda mu mufaliso ze nnasasula ne ntandika okuyiga okukola enviiri. Olw’okuba nnali nkola kye njagala nnayiga mangu. Wabula wadde nnali muyiga abayizi b’e Makerere bayagalanga nnyo mbakoleko kuba nze nnali omulenzi nzekka kumpi ku luguudo lwonna eyakolanga enviiri ate nga balowooza nti abalenzi babeera bamanyi.

Kino kyannyamba okwekakasa kye nkola wadde kyanteekanga ku bunkenke, anti abawala bansimbiranga lunyiriri okubakolako.

Lukwago ng’asiba omukyala enviiri. 

Kino kyantunda mu banene era nnali ndi awo nannyini Delight Supplies, Ahmed Musisi n’ankansa mukolere mu saluuni ye e Nakulabye. Nnamugamba bwe sirina kye mmanyi nnyo wabula n’alemerako era n’ansuubiza ssente eziwera, ng’ataddeko 5,000/- ez’okuntambuza n’okulyako buli lunaku, ng’agamba nti okusinziira ku ky’alaba nkola nja kusobola okumukola. Ku Sir. Apollo nnali mazeeyo omwezi gumu nga ne 50,000/- ze nnasasula ziweddeyo. 

Mukama wange yagoba abakozi lwa kunsekerera

Mw. Musisi yantwala e Nakulabye ne ntandika okukola, ekyewuunyisa abawala be nnasanga bakola mu saluuni eno baalowooza nti mukama waabwe aleese kafulu, kyokka baagenda okulaba nga bye nkola tebabitegeera.

bakasitoma bwe bajjanga, nga bonna bavaawo nga bandekawo nga nvuya ate bwe baakomangawo nga bansekerera ekyannemesa okukola ne nziruka mu Delight oluvannyuma lw’ennaku bbiri ne nzira ku Sir. Apollo nnyongere okuyiga.

Musisi yagenda okujja enkeera mu Delight ng’abuuza gye nnalaze nga bamugamba tebamanyi n’ekyaddirira kunkubira ssimu kumbuuza gyendi. Bwe yambuuza ekyantutte ne munnyonnyola nti abakozi mu saluuni ye baali bansekerera ekisusse olw’obutamanya bey nkola.

Musisi yannona n’andagira mulage abaali bansekerera kye nakola era yabagoberawo ekyankakasa nti yali mumalirivu mukolere era nga nnina okuyiga. Nnateekamu amaanyi era nayiga okukola Tongs, okusala Bob mu nviiri za straight, okukola tinti, ne njiga n’okusiba wiivu.

Mu Delight namalayo emyaka esatu era bwe nnavaayo ne ng’enda mu Phillipat Saloon e Mmengo eno gye nnasanga omuvubuka eyali amanyiddwa nga Jeff eyanjigiriza okusiba abagole, okusiba dreadlocks, okwongera okukuguka mu kusiba wiivu n’okukola ku feesi z’abagole. 

Eno nnamalayo omwaka gumu gwokka ne ndaba nga nange nsobola okwekozesa. 

NKOZE SALUUNI

We nkolera kati ku Jewels Unisex Saloon wange nga nsasulirawo 150,000/- buli wiiki kw’ossa 150,000/- ez’amasannyalaze n’amazzi buli mwezi. Nkozesa abakozi munaana, kwe ngatta ababeera bazze okuyiga abansasulayo ku ssente.

Sejjusa olw’okutambula n’okusekererwa kuba kati nnina bwendi, sikyatembeeya era kati nkwata ne kontulakiti mu saluuni ennene. Nnyinza okukwata kontulakiti ey’ennaku embale mu wiiki oba emyezi ate abamu tukkaanya ku kitundu ky’okugabana.

Emu ku saluuni gye nkoleddeko kuliko: Delight Supplies Saloon e Nakulabye, Kings and Queens Saloon ku Jesco plaza, Phillipat e Mmengo, Essence Saloon ku Muganzirwazza Kibuye, Lords and Ladies ku Ham Towers n’endala nnyingi.

Mu mulimu gwange guno nkoze ku bantu ng’abayimbi,  ba Miss Uganda nnakola ku Phiona Bizzu, Solea Nabakooza eyali owookubiri, Stella Nantumbwe nga kati ye Miss Uganda, n’abalala bangi abazze beesimba ku bifo bino nga mbakolako nga bagenda mu mpaka.

Obugumiikiriza bumpanguzza

Kati nneetunda ne nkola erinnya, obugumiikiriza bwe nnakozesa n’okufaayo okunoonya okuyiga nnafunamu kubanga kati abantu bwe baba banneetaaga okunzigya mu saluuni yange mbakolere okumala ekiseera kye bansabaye ntandikira ku 2,000,000/-.

Bizinesi yange kati eweza kapito wa 14,000,000/- ate nga nneegulidde ne poloti e Masanafu ku nkingizzi za Kampala, wadde nkyapangisa e Ntinda gye mbeera n’abomu maka gange. 

Be nsomesa mbasasuza 150,000/- buli mwezi

Nsomesa abantu okukola n’okusiba enviiri nga buli mwezi omuntu ansasula 150,000/-. Bw’asussa emyezi ebiri ng’aliko ky’ayize ntandika okumusasulayo akatono nga bw’akakata.

Okusala enviiri sikussaako nnyo mutima naye nkola ku bantu abanene omuli ababaka ba Palamenti, ne baminisita.

Ebinkuumira bakasitoma 

Buli kasitoma mutwala nga wa bbeeyi gyendi.

2 Nneewala okumanyiira kasitoma kuba kinyiiza ne batakuleetera balala ekisuula bizinensi. 

3 Nkuuma obwesimbu, empisa, obuyonjo, n’obwangu kuba abantu tebakyalina budde. 

Okusoomoozebwa

Abampa kontulakiti abamu oluusi tebaagala kusasula ate nga nkaluubirizibwa okubanja, ate abamu bakuggulako mpalana. 

Bakasitoma abamu bakwekwata kyokka ne bataggya ng’oluusi otaddemu ssente zo mu by’oba ogenda okubakozesaako n’ofiirwa.

Nnawaliriza mukyala wange okuyiga okukola ku mibiri gy’abantu masaagi kyokka buli lwe ng’enda mu saluuni gy’akolera ne musanga ng’anyigaanyiga abasajja ate mpulira ebbuba n’okunyiiga oluusi ne nejjusa lwaki namukkiriza, kyokka ye yakigumira.

‘Nnatandikira ku kusiiga njala kati nkoze saluuni’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Agende 220x290

Kkooti egobye egimu ku misango...

KKOOTI y’e Nakawa egobye omusango gw’obuyeekera ogwali gwaggulwa ku basajja 14 abagam- bibwa nti beenyigira mu...

Kola 220x290

Boofiisa ba poliisi Muhangi ne...

EYALI akulira ekitongole kya Flying Squad, Herbert Muhangi abadde amaze emyaka ebiri mu kkomera ng’avunaanibwa...

Na 220x290

‘Mukebere nnamba z’essimu okuzuula...

AKAKIIKO akavunaanyizibwa ku by’empuliziganya mu ggwanga aka Uganda Communication Commission (UCC) kalagidde abakozesa...

A1 220x290

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral...

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral & Cocktail Party’ e Munyonyo ebyana gye byalagidde emisono n’emibiri nga bwe balya...

Afrigo 220x290

Lutalo ekintu akyekwatiddemu

OMUYIMBI w’ennyimba za laavu, David Lutalo (ku ddyo) kirabika akooye bapulomoota okumulyako ssente.