TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Ebizigo mbiggya mu muzigo n’ebinazi ne nfuna ssente’

Ebizigo mbiggya mu muzigo n’ebinazi ne nfuna ssente’

By Musasi Wa

Added 23rd April 2014

EBBANGA lyonna abagole n’abakyala abamanyi okukola ku nsusu babadde beeyunira omuzigo omuganda olw’okuweweeza n’okunyiriza olususu.

2014 4largeimg223 apr 2014 094413713 703x422



Bya RUTH NAZZIWA
EBBANGA lyonna abagole n’abakyala abamanyi okukola ku nsusu babadde beeyunira omuzigo omuganda olw’okuweweeza n’okunyiriza olususu.

Wabula bangi babadde bakoma kw’ekyo ne batamanya nti bw’oyiiya osobola okuyoola ssente mu muzigo. Dr. Sydney Ssenteza ajjanjaba endwadde z’ensusu ku Dama Medicinal Herbs agamba nti, yabuuzanga abalwadde be kye baakozesanga nga bye bamugamba bibaamu ekirungo kya ‘mercury’ ne ‘hydroquinone’ ebyobulabe eri olususu.

Yanoonyereza n’azuula ekyama mu mmere ya bika bisatu ebisinga okuzigula olususu omwali ekinzaali ekiganda, ekinazi ekizungu n’omuzigo omuganda era n’atandika okukola ebizigo ng’akozesa ebintu ebyo.

Annyonnyola gy’akolamu ebizigo bino:

“Ebiseera ebisinga bwe nannyukanga ku mulimu, nga nzira mu kutabula bizigo bino oluvannyuma nga mbiwako abantu abamu okubigezesa.

Bye nasooka okukola nabigezesa ku baana n’abakyala nga mbigabira bwereere ku kanisa ya Christian Heritage, Kinnawataka - Mbuya nga bambuulira bwe bikola.

Ssenteza ng’atabula omuzigo Omuganda mu kinzaali.

Bye weetaaga okukola ebizigo bino
1 Ebinzaali ebiganda: Bino bikola ku nkovu z’embalabe, namusuna n’okuzigula olususu.
Bino obikaza n’obisekula okusobola okubikolamu ensaano gy’otabula mu muzigo n’ebirungo ebirala.

2 Omuzigo omuganda: Guno gugonza, okuyooyoota, okuliikiriza n’okuddaabiriza olususu ne lulema kwesalaasala na kukola mugaba naddala ku bakyala abazadde.

3 Ekinazi ekizungu: Amazzi n’omuzigo ebiva mu kinazi biyamba okukuuma olususu nga luweweevu.

4 Amazzi g’ebimuli ebirina akaloosa nga gano gayamba okulongoosa olususu n’okuteekamu akawoowo.

Bino byonna bitabule wamu ng’okozesa akuuma (mixer) obikube okutuusa nga biyiikayiika n’oluvannyuma obiteeke mu bucupa oba omukebe mw’obitundira.

Bw’oba tolina kuuma osobola okukozesa magezi g’Abaganda n’osekula ekinzaali mu kinu n’okikamulamu omubisi nga weeyambisa akagoye akeeru akatukula.

Bw’omaliriza gattamu omuzigo omuganda n’omubisi gw’ekinazi otabule okutuusa nga byetabudde bulungi.

Obikola budde ki?
Ebizigo bino mbitabula kiro nga nzizeeyo eka ne ku wiikendi ne mbiteeka mu bucupa. Bwemba ng’enda okukola, mbiteeka mu mmotoka ne ng’enda nabyo ku mulimu era bwe nfunawo akalembereza nga mbissaako laama nga bwe nninda abalwadde.

Tekikwetaagisa kupangisa nnyumba oba kifo kigazi okukola ebizigo okuva mu mmere eno, kyokka nga birimu ssente ate nga tebirina bulabe bwonna ku mubiri.

Ekirala teweetaaga lunaku lulamba okubitabula n’okupakira mu mikebe mw’obitundira.

N’olwekyo abavubuka n’abantu abalala abanoonya eby’okukola n’abaakeera okukaaba obwavu basobola okukola ebizigo bino ne batunda okufunamu ssente ng’ate tekibeetaagisa ssente nnyingi ku ntandikwa.

Lwaki wandyesiize ebizigo ebikolebwa mu muzigo

  1. Tebisosola myaka nga famire yonna esobola okubyesiiga.
  2. Tebiraba ku ndwadde za lususu nga embalabe, enkovu, mugaba, n’ebirwadde by’ensusu ebirala.
  3. Biriikiriza, okugonza, okuweweeza n’okuyooyoota olususu olw’ebirungo ebibirimu.
  4. Lotion eno ekolebwa mu bintu bya butonde ebituntu 100 ku 100 era teriimu birungo byonna bya bulabe eri obulamu bw’omuntu.

AKATALE
Akatale tekasobola kubula kuba otandikira ku baliraanwa bo n’abantu b’omu kitundu kyo, bano be bategeeza abalala.

Ekirala mbiguza abalwadde abajja okubakola ku nsusu. Ab’amaduuka amanene babigula.

Akacupa aka gulaamu 225 nkatunda wakati wa 5,000/- ne 6,000/-, ate daziini ya 72,000/- ate. Aka gulaamu 60 nkatunda ku 2,000/-, nga daziini ya 24,000/-.

Okusoomoozebwa
Bannayuganda tebajjumbira bintu bikolebwa bannansi ate nga biri ku mutindo ekituzza emabega.
Abavubuka beekwasa obwavu kyokka nga ne bye basobola okukola ne bafunamu ssente babinyooma.

Nkubiriza abantu okwettanira emirimu gy’omu mutwe naddala ng’osobola okugukola mu budde bwo obw’eddembe oba okwetandikirawo obukolero awaka okwongereza ku nfuna yammwe.

Ekirala obudde bwo obw’eddembe osobola okubukoleramu ssente awatali kukakaalukana nnyo.
Ekirala tomenyeka nnyo kuba ab’awaka bakuyambako, ate ne bayiga ne basobola okweyimirizaawo ne bw’oba toliiwo.

Ebizigo mbiggya mu muzigo n’ebinazi ne nfuna ssente’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pata 220x290

Abasajja bannemye okulondako

NNINA abasajja babiri era bombi bamalirivu okusinzira ku njogera n’ebikolwa. Naye omusajja omu alina abakyala babiri....

Send 220x290

Eyanfunira omulimu mufiirako

NZE Innocent Katusiime 29, mbeera Nakawa. Buli lwe ndowooza ku ngeri gye nnasisinkanamu maama w’omwana wange essuubi...

Bere 220x290

Ono si katono ‘abasibe’ bamwewagguleko...

MWANAMUWALA ono y’omu ku baabadde balya obulamu ku kivvulu ekyatuumiddwa Floral & Cocktail Party ekyabadde ku Jahazi...

Siri 220x290

Ababadde basekerera Julie ku bya...

“ABABADDE banjogera ebigambo bibakalidde ku mimwa kati mundeke nfumbire omwami wange Ssekajugo omu bwati.”

Wanted1 220x290

Mujje mu Harvest Money muyige okugoba...

AKAWUKA akakaza ebitooke kye kimu ku kivuddeko ensuku nyingi naddala mu Buganda okukutuka ng’ebitooke bikala ne...