TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Abagagga abatadde abaana baabwe mu bizinensi

Abagagga abatadde abaana baabwe mu bizinensi

By Musasi Wa

Added 28th April 2014

BANGI bakola bizinensi ate ne batayigiriza baana baabwe nga bwe bavaawo bizinensi ezo ne zifa naye waliwo abakikoze bwe batadde abaana mu bizinensi ezo era balaze engeri gye bakikoze.

2014 4largeimg228 apr 2014 192822447 703x422



Bya JOB NANTAKIIKA ne MEDDIE MUSISI
BANGI bakola bizinensi ate ne batayigiriza baana baabwe nga bwe bavaawo bizinensi ezo ne zifa naye waliwo abakikoze bwe batadde abaana mu bizinensi ezo era balaze engeri gye bakikoze.

Omugagga, Gerald Batte eyakazibwako erya Njovu ow’e Nansana mu Wakiso nga ye nnannyini kkampuni ya Njovu Real Estate ne bizinensi endala nnyingi ku by’okusoma kwe abyogeddeko bwati;

Nze saasoma nnyo kugenda wala olw’obuzibu obwaliwo nti abazadde bange tebaalina ssente era natandika okwesasulira fiizi kuva mu P.5 okutuuka mu S.4 we nakoma. Embeera yali nzibu nnyo mu kiseera ekyo ne sisobola kweyongerayo.

Okusinziira ku bye nayitamu nfubye okusomesa abaana bange kuba ndowooza nti singa nasoma okusingako ekibiina kye nakomako nandibadde muntu wamugaso nnyo mu ggwanga okusingako bwe ndi kati.

Nandibadde nsobole okwenyigira mu bintu eby’enjawulo bye sisobola kwennyigiramu kati olwokubula ebitabo tebimala era abaana bange saagala babeere mu mbeera eno.

Katonda yannyamba nti ndi musajja mukakaalukanyi noolwekyo saagala baana bange kwekwasa kintu kyonna kyokka nga nina ssente.

Mbatwala mu masomero amalungi nga nduubirira bakole bulungi era ndi mwetegefu okubasomesa okutuuka buli omu w’anaawulira nti mumativu.

Mutabani wange omukulu, Andrew Ntambi ali ku yunivasite e Makerere, asoma bya busuubuzi era kati ali mu mwaka gwakubiri.

Wadde tannamaliriza misomo naye annyamba nnyo mu bizinensi zange.

Ekizimbe kya Batte ekisangibwa e Nansana.

Kati mu kiseera kino yaddukanya Njovu Hotel n’emirimu egitali gimu ng’okugenda mu ofiisi ez’enjawulo naddala ku nsonga z’ebyapa ssaako okusolooza ssente okuva mu mayumba gange.

Mmwenyumirizaamu kuba emirimu agikola bulungi era anaagenda okumaliriza emisomo gye nga buli kimu akimanyi.

‘Muwala wange y’addukanya essomero lyaffe’

DR. Sarah Nkonge agamba nti kyandibadde kirungi omuntu okutandika okuteekateeka omwana ng'akyali mu bibiina ebya wansi n'asobola okumumanyisa amakubo gonna mw'ayita okunoonya ensimbi.

Okusinziira ku Nkonge, ye ne bba omugenzi Muwonge baatandika okutegeka abaana baabwe nga bakyali bato, nga batambula nabo kumpi buli wamu okusobola okubalaga buli ntambula ya bizinensi zaabwe.

Kino kibayamba nti singa Mukama aba abaggye mu nsi basobola bulungi okugenda mu maaso n'okutambuza bizinensi zaabwe.

Nkonge agamba nti obuzibu obusinga okuvaako bizinensi z'abaddugavu okuggwa amangu nga bavuddewo, lwa kuba balemererwa okutendeka abaana baabwe noolwekyo bagenda okubaddira mu bigere nga bye bakola byonna tebabitegeera n'ekiddirira bizinensi kufa.

Abaana ba Bankonge bonna babaweredde mu masomero ag'ebbeeyi kyokka kino kibadde tekibalobera kubafisizaawo kadde okubalaga emirimu gyabwe gyonna nga bwe gitambula era kino ne bba nga tannafa nga ky'akolera ddala.

Mu baana be balina nga mu kiseera kino Dr. Nkonge b'atambuza nabo bizinensi zaabwe mulimu; Mildred Male Muwonge, Hamfrey Muwonge ng'ono ye musika ne Daphine Namuwonge nga be baana abakulu era bonna addukannya nabo bizinensi zaabwe.

Gwo omulimu gw'okuweerera, Bamuwonge wadde nabo bayigirize naye bagukoze kubanga Mildred Male alina diguli bbiri, ate ye Daphine yasoma bwa yinginiya ne Hamfrey alina diguli mu busomesa.

Mildred ng'ono mu kiseera kino y'addukannya essomero lya Kampala S.S era agamba nti bazadde baabwe baakola kinene nnyo okubateekateeka okusobola okubeera nabo mu byenzirukannya y'emirimu gyabwe.

Ate ye Daphine Namuwonge yategeezeza nti obukugu bwonna bw'alina, bulimu omukono gwa maama ne taata kubanga bava dda nga babategeka.

Abagagga abatadde abaana baabwe mu bizinensi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kuba 220x290

Munnayuganda atuuziddwa nga omusumba...

MUNNAYUGANDA eyalondebwa okufuuka Omusumba w’essaza ly’Eklezia erya Aliwal e South Afrika atuuziddwa mu kitiibwa,...

Br1 220x290

Leero mazaalibwa ga Jose Roberto...

Leero mazaalibwa ga Jose Roberto Gama De Olivieira amanyiddwa nga Bebeto eyali emmunyenye ya Brazil

Carol 220x290

Omwawule akoze siteetimenti ekontana...

REV. Isaac Mwesigwa bwe yaggyiddwa e Soroti yatwaliddwa butereevu ku kitebe kya poliisi e Naggulu mu Kampala n’akola...

Jit1 220x290

Poliisi etandise omuyiggo gw'abavubuka...

Poliisi etandise omuyiggo gw'abavubuka abagambibwa okukuliramu okwekalakaasa e Kawempe

Kola 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu, tukulaze...

OKUFAANANAKO Vanilla, abantu bangi baalima Moringa naye oluvannyuma ne bamutema yenna bwe baabulwa akatale era...