TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Teri ssente za bwereere, olina kukola - Sudhir

Teri ssente za bwereere, olina kukola - Sudhir

By Musasi Wa

Added 14th May 2014

KU Lwomukaaga oluwedde kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde ng’ewagiddwa MTN Uganda ne Go tv yategese omusomo oguyitibwa ‘Pakasa Forum’ ku ssomero lya Kampala Parents e Naggulu. Abakugu mu kukola bizinensi baasomesezza ku ngeri gye bayinza okuyitimusaamu bizinensi, bye balina okutunuulira n

2014 5largeimg214 may 2014 103459360 703x422



Bya EDWARD SSERINNYA 

KU Lwomukaaga oluwedde kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde ng’ewagiddwa MTN Uganda ne Go tv yategese omusomo oguyitibwa ‘Pakasa Forum’ ku ssomero lya Kampala Parents e Naggulu. Abakugu mu kukola bizinensi baasomesezza ku ngeri gye bayinza okuyitimusaamu bizinensi, bye balina okutunuulira nga bazitandika, enkwata ya ssente ssaako obukodyo bwe basobola okukozesa ne baziwangaaza. Mwayogereddemu abasomesa ab’enjawulo okwabadde: Dr. Sudhir Ruparelia, Dunstan Kisuule, Francis Kitaka, Charles Mbire ne Patricia Ojangole.

Okuva ne leero ku miko gyaffe egya Yiiya Ssente, tugenda kukuleetera aboogezi bye baalambise mu musomo guno ofune ky’obayigirako mu kuddukanya bizinensi. Tutandise ne Dr. Sudhir Ruparelia.

Dr. Sudhir Ruparelia ye nnannyini Crane Bank, wooteeri ya Speke Resort e Munyonyo, kkampuni erima ebimuli eya Rosebud e Namulanda ku ludda e Ntebe ne bizinensi endala nnyingi okuli amasomero n’ebizimbe.

Okutereka n’okwongera mu bizinensi 

Dr. Sudhir agamba nti,  ku ssente z’oyingiza, okugeza, omuntu afuna omusaala, ebitundu 50 ku 100 wandibadde ofuba nnyo okulaba ng’ozitereka. 

Naye wano mu Uganda abantu abafuna omusaala oyinza okwekanga ng’ensimbi ze batereka z’ezo zokka ezigenda mu NSSF, ng’endala zonna bazikuba ku mumwa. Kino kikyamu kuba tolina mulimu mulala gwonna gw’ojja kutandikawo nga totereka.

Ate ku balina bizinensi nabo bakusobera, ssente ze bakola ez’amagoba nabo bazirya buli, sso nga mu nkola entuufu amagoba 100 g’ofuna, 90 zandizze mu bizinensi n’olyako 10 zokka. 

Kino kirabika ng’ekizibu naye kyangu ate kijja kukuyamba okutumbula bizinensi yo.

Okwewola 

Omuntu teyandyewoze ng’atandika bizinensi oba ku bizinensi ye esooka. Kola bizinensi esooka n’eyookubiri, waakiri weewolere ku bizinensi eyookusatu. 

Leka kufuuka muddu wa bbanja, wabula beerawo ne bizinensi esobola okwetengerera yokka. 

Ate leka kugenda kwewola nga muzibe, weewole nga ssente ozitwala mu pulojekiti naawe gy’olabira ddala nti ejja kukola amagoba.

Beetingi ne ssente ez’amangu 

Abantu bandibadde omulaka baguteeka ku kukola nnyo, ne balema okugenda mu beetingi ne basiba ku mipiira kubanga beetingi omanya ebintu bibiri  okufuna n’obutafuna n’olwekyo wano tosobola kwesibawo nti oyinza okufunawo ensimbi. 

Ate era olina okukimanya nti tewali ssente za bwereere, buli muntu alina okukola ennyo okulaba ng’atuuka ku bugagga bwe yeetaaga. 

Kola bizinensi gy’osobola

Olumu ekitta abantu abamu kwe kwagala okukola bizinensi ze batasobola kukola, tukola  bizinensi lwakuba ne gundi akoze, kola bizinensi gy’owulira nti ojja kusobola okugiddukanya obulungi, ne bw’eba ntono etya ejja kukuwa emirembe ate egejje.

Bizinensi yo giwe obudde

Abantu abamu kino bakitwala nga eky’okusaaga, nneebaka ku ssaawa 6:00 ogw’ekiro ne nzuukuka ssaawa 12:00 ez’oku makya. 

Okuva ku ssaawa 1:00 ey’oku makya mbeera mu kubala bizinensi zange, mmanya ebivudde mu wooteeri, ebimuli ne bizinensi endala. 

Mmanya ssente eziyingidde mu doola, pawundi ne siringi, era buli bizinensi yange mmanyi bw’etambula wadde nnyingi, naye zonna mbeera mmanyi ekifaayo buli lunaku. 

Oli muntu ng’abalala? era naawe olina ebizibu?

Nange ndi muntu ng’abalala era nnina ebizibu. Omanyi ebizibu ebimu biba bya famire, bwe bitaba bya famire oba bya nsimbi oba okukyuka mu mateeka nabyo bitunyiga kuba oba olina ky’oyagala okutandika okukola ate ne bakyusa amateeka n’okivaako. 

Naye ng’ekituufu kiri nti buli omu aba n’ebizibu, nange mbirina lwakuba olumu ebizibu bye byawukana. 

Naye ekikulu, ekirungi ekiri mu kufuna ebizibu mu bizinensi ate kiba kyakuyiga gy’oli, era singa oba oyigira mu bizibu byo ofunamu nnyo n’okutambuza obulungi bizinensi yo. 

Dr. Sudhir y’ani?

  • Omuntu bw’ayita Dr. Sudhir Munnayuganda Omuyindi ayinza obutaba mukyamu, anti bamuzaalira wano mu ddwaaliro e Mengo.
  • Bajjajjaabe baatuuka e Mombasa mu 1897 ate oluvannyuma mu 1903 ne batuuka mu Uganda. Kitaawe baamuzaalira kuno mu 1932, yasomera ku Bat Valley P/S okuva P.I - P.6, Jinja Main Street P/S n’atuulirayo P.7, siniya n’agenda ku Jinja SS, mu 1971 yakomawo e Kampala n’asomera Kololo SS. 
  • Mu 1972 Amin bwe yagoba Abayindi yali wa myaka 16 n’agenda ne bazadde e Bungereza, kuno yakomawo mu 1985. 
  • Bwe yadda kuno yatandiikiriza mpola okusuubula bbiya okuva e Kenya, wabula mu 1989 bbiya ava ebweru bwe yawerebwa olwo ate n’atandika ekibanda ekivungisa ensimbi ekya Crane Forex currency, nga muno mwe mwava ne bbanka ya Crane mu 1995. 
  • Akola bizinensi ez’enjawulo ezeegattira mu Ruparelia Group. Dr. Sudhir agamba nti, ye Bannayuganda baganda be kuba baamuzaalira kuno, kale awulira nga musanyufu nnyo okulaba ng’emirimu gye agikolera mu Uganda.
 

Teri ssente za bwereere, olina kukola - Sudhir

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kuba 220x290

Munnayuganda atuuziddwa nga omusumba...

MUNNAYUGANDA eyalondebwa okufuuka Omusumba w’essaza ly’Eklezia erya Aliwal e South Afrika atuuziddwa mu kitiibwa,...

Br1 220x290

Leero mazaalibwa ga Jose Roberto...

Leero mazaalibwa ga Jose Roberto Gama De Olivieira amanyiddwa nga Bebeto eyali emmunyenye ya Brazil

Carol 220x290

Omwawule akoze siteetimenti ekontana...

REV. Isaac Mwesigwa bwe yaggyiddwa e Soroti yatwaliddwa butereevu ku kitebe kya poliisi e Naggulu mu Kampala n’akola...

Jit1 220x290

Poliisi etandise omuyiggo gw'abavubuka...

Poliisi etandise omuyiggo gw'abavubuka abagambibwa okukuliramu okwekalakaasa e Kawempe

Kola 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu, tukulaze...

OKUFAANANAKO Vanilla, abantu bangi baalima Moringa naye oluvannyuma ne bamutema yenna bwe baabulwa akatale era...