TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Anaagaggawala ateekwa okwettanira okuyigira ku balala

Anaagaggawala ateekwa okwettanira okuyigira ku balala

By Musasi Wa

Added 14th May 2014

OLUYITAAYITA lukira oluliira ku nkoligo n’atannayitaayita y’atenda nnyina okufumba. Zino engero za Luganda era bw’ozeetegereza zitegeeza nti omuntu bw’atambula abaako by’ayiga oba by’afuna okusinga asigadde awaka.

2014 5largeimg214 may 2014 105614413 703x422



OLUYITAAYITA lukira oluliira ku nkoligo n’atannayitaayita y’atenda nnyina okufumba. Zino engero za Luganda  era bw’ozeetegereza zitegeeza nti omuntu bw’atambula abaako by’ayiga oba by’afuna okusinga asigadde awaka.

Olwomukaaga oluyise nneetabye mu musomo gwa PAKASA ogw’ebyenfuna ogutegekebwa kkampuni ya New Vision ogwabadde ku Kampala Parents School nga gwayogereddwaamu abasajja enjasabiggu mu byensimbi n’abamanyi mu nsonga z’okuyitimuka n’okugaggawala.

Mu boogezi kwabaddeko, Dr. Sudhir Ruparelia, ng’ono mu Luganda ayitibwa binnyonkondo, kuba gye buvuddeko yayogerwako ng’omu ku basinga obugagga mu Afrika ate nga y’asinga obugagga mu Buvanjuba bwa Afrika. 

Omulala yabadde Mw. Charles Mbiire, ng’ono ye ssentebe era omu ku baatandikawo  kkampuni y’ebyempuli-ziganya eyitibwa MTN, gy’oyinza okwogerako ng’eyakyusiza ddala ebyempuliziganya bya Uganda, ssimu ey’omu ngalo n’efuuka ekintu ekya buli omu awatali kwawula mwavu n’omugagga.

Mu ngeri y’emu kwabaddeko Mw. Francis Xavier Kitaka, ng’ono y’omu ku Bannayuganda abaasooka okussaawo kkampuni z’obwannanyini ne zivuganya n’ez’Abazungu. Eyiye yatundanga eddagala ly’ebisolo n’ebirime era nga mu kiseera kino ye Ssentebe wa kkampuni ekola eddagala eyitibwa Quality Chemicals ng’eno ye yasooka okukola eddagala lya ARVs eriweweeza ku bulwadde bwa siriimu era nga balina n’amakolero amalala omuli n’erikola amazzi ga Vero.

Mwabaddemu  n’aboogezi abalala okwabadde, Ying. Danstan Kisuule, addukanya SACCO ya Y-save eyatandikibwawo abavubuka abeegattira mu kkanisa y’Abalokole eyitibwa Watoto nga kati balinawo obuwumbi bwa ssente obubatiisa n’okwogera mu bantu.

Kuno kwe kwegattiddwa ne Muky. Patricia Ojangole, addukanya Banka ya Uganda Development Bank  Limited (UDBL) eyalaze ensonga lwaki abantu beewoola ate ne balemwa okusasula ssente za Banka.

Mu byonna ebyayogeddwa, omuntu omu ayinza okugamba nti tebyabadde bipya ate omulala n’aba nga yawulidde ebipya bingi. Kyokka ekituufu kiri nti buli eyabaddeyo yavuddeyo akyuseeko.

Eyawulidde ng’ebyogerwa si bipya ateekwa okuba nga yeeyongedde okubikkiririzaamu kubanga byayogeddwa abantu b’azze awulira oba baalaba bulijjo era ng’abakkiririzaamu nti ddala balina ke beekoledde. 

Kino kitegeeza nti by’abadde amanyi kyokka nga tabissa mu nkola, ku luno yavuddeyo afunye amaanyi agabissa mu  nkola era singa anaaba akoze ekyo kyennyini omwaka we gunaggweerako ateekwa okuba ng’akyuseeko.

Ng’oggyeko okukulaga nti ebintu bisoboka abantu bano baawadde amagezi mangi agayinza okukuyamba okwekulaakulanya ng’omuntu ate n’okukulaakulana nga muyita mu kwegatta.

Baayogedde ku bintu bingi ebyetooloolerwako okukulaakulana omuli okuzimbira erinnya ku mazima, nti ekyo kyokka kiyinza okukugaggawaza. Okufuuka omukulembeze omulungi era avaamu abakulembeze abalala, okumanya ekkubo ssente ze likutte mu kiseera ekyo era n’ofuba okuzigoberera, okwemaanyiiza enkola y’okutereka n’okwewala ssente mu bbanka nga tolinaawo bizinensi esobola kwetengerera eyinza okukuyamba ku bbanja lya bbanka, ate n’obutakyusa ssente ze weewoze mu bbanka okukola ekintu ekimu ate n’ozizza mu kirala.

Baatuuse ne ku ngeri y’okukuzaamu abaana baffe nga tubayigiriza empisa y’okutereka ate n’okukozesa obulungi ekyo kye baba batereseewo.

Kuno kwe baagasse n’ekyemirimu gyaffe okugissaamu Katonda kuba kino kye kyongera okukuwa okukkiriza nti by’okola bijja kutuukirira kubanga birimu omukisa gwa mukama.

Nze nno ng’enze nojjolayo bimu ate nga mbisuulawo nga sibiweereddeeko byakulabirako wadde okubinnyonnyola nga bbo bwe baabadde babiwa kuba ng’oggyeko okubeera n’omwagaanya omutono, sirina bukugu bubyogera nga bbo kubanga baabadde banyumya lugendo lwabwe olw’okutuuka ku bugagga lwe wandisaanye okwewulirako. 

Ebimu ku bibuuzo ebyabuuziddwa Dr. Sudhir mu musomo ogwo biri mu miko gya Yiiya Ssente mu Katabo kano k’okutte ate nga ne wiiki eziddako tugenda kukuwa okwogera kw’abalala bano ate okutuusa lwe tunaakuleetera omusomo gwa “Yiiya Ssente” ogunaatandika nga June 12 okutuuka June 14 mu Kisaawe e Nakivubo.

ENGERO Z’ABAGAGGA: Bwe bambuulira saatuula, nga lwa mugagga.

Anaagaggawala ateekwa okwettanira okuyigira ku balala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab12 220x290

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e...

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e Mityna kuzzeemu kigoye wezinge

Gwe1 220x290

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo...

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo omwana we ew'omusamize bamusadaake

Nkumba2jpgweb 220x290

Abadde ayingira mu ofiisi z'ebizimba...

Allan Nkumba omutuuze w'e Kabowa mu Sserwadda zooni ye yakwatiddwa poliisi ya CPS ku Lwokusatu oluvannyuma lw’okugenda...

Sjpgweb 220x290

Eyanfunira omulimu mufiirako

Nze Innocent Katusiime 29, mbeera Nakawa. Buli lwe ndowooza ku ngeri gye nnasisinkanamu maama w’omwana wange essuubi...

Nsamba22pulaaniusewebuse 220x290

Mukuume obumu musobole okwekulaakulanya...

Ab'ekika ky'Engabi beetaaga obukadde 13o okuzimba ekiggwa kyabwe