TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Okuggulawo edduuka n’okusasula layisinsi nsooka ki nga ntandika?

Okuggulawo edduuka n’okusasula layisinsi nsooka ki nga ntandika?

By Musasi Wa

Added 14th May 2014

MU musomo gwa YIIYA SSENTE ogwategekebwa ku Freedom City nga 8 March, abaaliyo baabuuza omugagga John Ssebalamu, nnannyini kifo olukung’aana we lwali era tukuleetedde ebimu ku ebyo bye yazzeemu.

2014 5largeimg214 may 2014 110832630 703x422



MU musomo gwa YIIYA SSENTE ogwategekebwa ku Freedom City nga 8 March, abaaliyo baabuuza omugagga John Ssebalamu, nnannyini kifo olukung’aana  we lwali era tukuleetedde ebimu ku ebyo bye yazzeemu. 

BWE mbeera n’emitwalo 10 (100,000/-), nnyinza kutandika mulimu ki, oguyinza okuvaamu obukadde oluvannyuma? Isma Ssebuuma, Najjanankumbi ne Ronald Kalyango.

Emitwalo 10 ssente zisobola okutandika bizinensi naye kisinziira ky’ogenda okukola. 

Wabula kyonna ky’oba otandise manya nti kyetaagisa okuba ng’oteekamu amaanyi go sso si kufuuka bboosi okukifunamu gamba ng’okusiika capati, ebinyeebwa oba okukuba amatoffaali ssente n’ozigulamu enku naye ng’okozesezza maanyi okugakuba. 

Wabula mu mbeera ey’okuteekamu amaanyi olina kubeera ng’okyali muto okusobola okumalako.

Bwe mba ntandise edduuka eritunda lejjalejja, nnina kusooka kuteekawo dduuka oba kusasula layisinsi? Steven Mukisa e Kasubi.

Sooka otandikewo edduuka, layisinsi kintu kitono nnyo era ojja kuba oli awo ng’aba layisinsi bazze okugibuuza ng’osasula. Naye tewandibalinze, buuliriza ku basuubuzi abalala bakubuulire w’oyinza okugenda okumanya ku bikwata ku layisinsi weeyanjule era osasule. 

Ndi musuubuzi, nnina kapito mutono naye ndi mwesigwa. Osobola okunsika ku mukono? Noah Bakooza (0752952937).

Kituufu ffenna mu bizinensi tutambulira mu kutusika ku mukono, naye kinkaluubirira okukugamba nti nja kusobola okukukwatako.

Wabula amagezi ge nkuwa weerwaneko okutumbula bizinensi, abakusika ku mukono tebasobola kubula singa eba etambula bulungi.

EKIMEEZA KYE KI MU BIZINENSI?

Mw. Ssebalamu, wayogera ku kimeeza. Ekimeeza kye ki? Godfrey Ssemambo.

Bwe nayogera ku kimeeza, nnali ntegeeza nti, singa Bukedde bateekawo ebiseera okugeza nga ku ttivvi ne wabaawo okukubaganya ebirowoozo okugeza ku byobusuubuzi n’obulimi olunaku lumu buli wiiki, nga baleeta abantu ab’enjawulo, mu birowoozo bye bakubaganya abantu baabulijjo bafunamu nnyo ne basobola okutandika emirimu eginaababeezaawo.

Nkoze ntya okusuubula e Dubai? Ndi musuubuzi wa sipeeya wa pikipiki, naye njagala kutandika kumusuubula Dubai. Ssente nzirina, naye nkoze ntya? Ismail Kyeswa (0702520200).

Ky’osobola okukola kyangu nnyo, buuza ku bantu gy’omusuubula olabe gye bamugula. Bwe babeera nga nabo bamusuubula mu Uganda weeyongereyo ojja kutuuka ku bamuggya e Dubai. 

Naye byonna olina kubikwata mpola, ojja kusobola okugenda e Dubai kuba ekyandibadde ekizibu ekinene ssente ate ozirina. 

Mw. Ssebalamu, nyinyonnyola bwe watandika? Watandika ne kapito wa mmeka? Buzibu ki bw’osanze ng’okola emirimu gyo? Abubaker Musaazi.

Nze bwe nkubuulira gye natandikira ne bye nakola sirowooza nti biyinza okukuyamba mu kiseera kino kubanga tokyasobola kutunda mafuta ga ttaala ng’ogatambuza ku bugaali kuba  mu kiseera kino mangi nnyo buli wamu ekitaaliwo ku luli ku mulembe gwa Amin.

Kapito gwe batandika naye si ky’ekikulu kuba buli muntu kapito azaalibwa naye nga gwe mutwe gwe. Era nze okutuuka wano nnatandikira wansi ne ng’enda nga nzimba obuzimbe obutono kati nzimba Freedom City ekizimbe ekinene. 

Omanyi abantu abamu balowooza okutandika olina kuba na ssente nnyingi ekitali kituufu, era ebiseera bingi abantu abatandikira ku ‘zero’ be bafuna ssente ate abatandika ne ssente ennyingi ne bibalema. Ebizibu bya bizinensi biba bya njawulo okusinziira ku kiki ky’okola. 

Wafuna otya obukugu?

Wafuna otya obukugu obutandikawo n’okuddukanya bizinensi ez’amaanyi nga Freedom city? Omuntu ali mu bizinensi omuwa magezi ki? Hamza Kalyesubula. 

Mu bizinensi bwe weewaayo n’omanya ne ky’oyagala ogenda oyigira ku balala be weegomba  olwo kuno bw’ogattako obugumiikiriza n’amazima kuba ly’eddagala ly’okukola bizinensi, obeera omaze. 

Era ekirala bizinensi olina okugikola ng’olina empisa abantu bakufuule ekyokulabirako gye bali nga bagenda bakwogerako. Kasita okola ebyo tosobola kulemwa kufuna bukugu.

Ku mbeera gy’olaba mu Uganda ekalubye mu byenfuna, magezi ki g’owa Munnayuganda? Saidi Kirumira. 

Embeera tebeerangako nnyangu era ffe ku mulembe gwa Amin ssabbuuni bwe wamubuzanga gamba ekitole ente n’ekirya ng’oyinza okukubwa embooko kuba ssente ezimugula zaabanga nzibu za kufuna, era kye kiriwo kati. 

Naye ekikulu mu byonna muntu kukola nnyo ate n’okola guno na guli, amazima, obwesigwa n’obugumiikiriza bisobola okukuyamba okuyita mu nsi nga tonyigirizibwa nnyo. 

Mw. Ssebalamu, singa omuntu ayagala okukusisinkana maaso ku maaso okumuwa ku magezi akola atya? Frederick Twagora.

Oba oli awo nandyagadde okusisinkana abantu ne twogera ku bya bizinensi, naye ekizibu ekibaawo by’ebiseera. Era siyinza kukusuubiza nti kibeera kyangu okunsisinkana. 

Wabula ate era saagala okulembeze nnyo kya kusisinkana Ssebalamu kuba n’eyo gy’obeera waliyo abantu bangi abasobola okukuwa amagezi mu bya bizinensi n’okusinga nze. 

Wabula emirimu gyange ngikolera mu lwatu era naawe ogiraba, kati kikulu mu bye nkola okubaako ky’onjigirako ne bw’oba tondabye kijja kukuyamba okukutwala mu maaso singa oba onneegomba. 

Bwe mbeera n’obukadde bubiri nnyinza kutandikawo bizinensi ki? Ye ddi lwe manya nti bizinensi gye nkola egaanyi ne ngikyusa? Farouk Ssemwogerere.

Nsaba okozese maanyi kuba ssente zino ziba zeetaaga ebintu ng’okusiika capati, okusiika ebinyeebwa, emberenge n’ebirala. Nga bino obipakira bulungi n’obitwala mu maduuka ag’enjawulo. 

Ekirala omuvubuka ayagala okugaggawala weewale ebibinja by’abavubuka ebitakuzimba kuba y’ensibuko y’obwavu.

Bizinesi okugaana kyangu kya kumanya, kasita olaba nga tekyakola magoba wiiki ku wiiki, mwezi ku mwezi omanya egaanyi ng’odda ku kirala.  

Bw’ototegeera bizinensi yo ng’ekulemye

Mw. Ssebalamu, gwe obuwanguzi bwo obwesigamya ku ki oba kw’ani? Geofrey Mugisha.

Obuwanguzi bwange mbwesigamya ku bukozi, obuyiiya n’okutegeera omulimu gwe mbeera nkola. Kati nzimba Freedom City, naye tolaba nga nnene nnyo, naye ngimanyi buli kasonda, abamu kye batakola. Era bw’ogaana okutegeera bizinensi gy’okola nga bikulemye.

Ebibuuzo nga bwe biddiddwaamu Mw. John Ssebalamu. Bikung’aanyiziddwa Edward Sserinnya.

Okuggulawo edduuka n’okusasula layisinsi nsooka ki nga ntandika?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ras13 220x290

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe...

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe Bebe Cool n'abakungu ba ministry ya Health gye baamaze olunaku lulamba nga...

Sat13 220x290

Pass PLE addamu mu February

Pass PLE addamu mu February

Soz1 220x290

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba...

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba P7 ebyetaaga okukolako

Dit1 220x290

Obugagga bwange buli mu mbizzi...

Obugagga bwange buli mu mbizzi

Gat1 220x290

Owa LDU akubye omuntu essasi mu...

Owa LDU akubye omuntu essasi mu kumukwata