TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Omusomo gwa Yiiya ssente gwa bwereere leero

Omusomo gwa Yiiya ssente gwa bwereere leero

By Musasi Wa

Added 13th September 2014

OLWALEERO gwe musomo gwa Yiiya Ssente ogwokubiri ogutegekeddwa Bukedde ku Freedom City e Namasuba.Emiryango giggulwawo ku ssaawa 1:00 ey’oku makya, okuyingira kwa bwereere olwo abakugu batandike okusomesa ku ngeri gy’oyinza okukozesaamu ssente entono okufuna amagoba agasinga ng’okola bizinensi n’e

2014 9largeimg213 sep 2014 071454807 703x422

 Bya LAWRENCEKITATTA 

OLWALEERO gwe musomo gwa Yiiya Ssente ogwokubiri ogutegekeddwa Bukedde ku Freedom City e Namasuba.

Emiryango giggulwawo  ku ssaawa 1:00 ey’oku makya, okuyingira kwa bwereere olwo abakugu batandike okusomesa ku ngeri gy’oyinza okukozesaamu ssente entono okufuna amagoba agasinga ng’okola bizinensi n’emirimu emirala. Ekirungi nti abataasobole kujja mu musomo, byonna ebinaabaayo byakulagibwa butereevu ku Bukedde Ttivvi n’okuweerezebwa ku Bukedde Fa Mma Embuutikizi olwo ebifaananyi n’ebyogeddwa bifulumire mu lupapula lwa Bukedde okuva enkya ku Ssande.

Yusufu Sebayigga ow’e Namugongo agamba: Nze bulijjo emisomo egizze gitegekebwa  mbadde ngirabira waka ku ttivvi nga bwe nkola emirimu gyange naye ku luno sisobola kusigala nga sigwetabyemu kuba ku luno baleese omusajja  Karim Hirji gwe mbadde nkyasinze okwegomba.

Omusomo ogwasooka  Muky. Jennifer Musisi  yatulaga engeri gye tusobola okwekulaakulanyaamu nga tuli awaka waffe kuba yalaga engeri gye tusobola okulimira mu luggya nga tukozesa emikebe, yatulaga ennyaanya, entula n’ebirala era emisomo gino gikoze kinene okutukulaakulanya.

Brenda Nannyonga ow’e Mutundwe akolera mu Kampala ng’atunda ngoye agamba: Nneesunga okufuna amagezi ku ngeri gye nsobola  okuyimusa bizinensi yange ne nva ku kutunda engoye entono etuuke ku mutindo ogusuubuza abalala oba oli awo nsobole n’okufuuka nnaggagga kuba nkyali muto era emisomo gino gituyigiriza.

 

Hajj Sulaiman Kalema owa New Best Furniture e Najjanankumbi: Abantu bonna basaanye okukimanya nti okuyiga tekukoma era embeera y’okuyiiya ssente enkyuka buli kadde n’olwekyo omuntu olina okubeera nga weetegekera embeera yonna egwawo. N’olwekyo kisaanye ffenna okweyiwa ku Freedom City mu musomo gwa Yiiya Ssente okukyusa ku mbeera zaffe. Benedict Mukasa ow’e Nakawa: Emisomo gino nzize ngibeeramu okuviira ddala ku gwasooka naye tusaba emisomo gireetebweko mu bifo naffe gye tukolera  kuba abantu bangi abagisubwa.

Omusomo gwa Yiiya ssente gwa bwereere leero

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ret2 220x290

Proline esuze bulindaala

Proline esuze bulindaala

Yes3 220x290

Uganda esubiddwa eza Afrika

Uganda esubiddwa eza Afrika

Bok1 220x290

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa...

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa bukadde 60

Mis1 220x290

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo...

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo

Kip2 220x290

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa...

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa y’okusiibulukuka Allah agyanukulirawo