TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Yiga okukola ssabbuuni mu ngeri esinga obwangu

Yiga okukola ssabbuuni mu ngeri esinga obwangu

By Musasi Wa

Added 17th June 2015

ABAYIZI bangi balemeddwa emisomo lwa butaba na bisale bya ssomero ebibeetaagisa naddala mu matendekero aga waggulu, naye ne balemwa n’okuyiiya okutandikawo emirimu egisobola okuvaamu ssente basobole okweyongerayo n’emisomo gyabwe.

2015 6largeimg217 jun 2015 115546753 703x422

Bya MAHAD WAMALA


ABAYIZI bangi balemeddwa emisomo lwa butaba na bisale bya ssomero ebibeetaagisa naddala mu matendekero aga waggulu, naye ne balemwa n’okuyiiya okutandikawo emirimu egisobola okuvaamu ssente basobole okweyongerayo n’emisomo gyabwe.

Wabula bano abayizi ba Muteesa 1 Royal Univesity okuli; Ismael Ssebulime ne Shafik Zinda ab’e Najjanankumbi mu Zooni ya Masannyalaze baasalawo okukolera awamu batandikewo okwekolera ssabbuuni bafune ebisale bya yunivasite.
Bassaawo ekibiina kye baatuuma ‘Champion Fabricated and Soap Productive of Live Nature’, era bannyonnyola engeri gye basobodde okusoma nga bayita mu kukola ssabbuuni.

ENGERI GY’OKOLA SSABBUUNI

Ismael Ssebulime agamba nti, okukola ssabbuuni kwa bika bibiri. Waliwo gwe bafumba ne gwe batabula.
Ffe tukola ssabbuuni w’okutabula era tweyambisa ebirungo ebiwerako okusobola okukola ssabbuuni atuukana n’omutindo.

Mubeeramu: caustic soda, amazzi agookya, bolax, sodium silicate, butto, ebbaafu, ekirungo ekigumya, akatiba akakoleddwa mu bbaati eggumu.

TWAGALA KUTUULAKO  NE BANNAMAKOLERO

Newankubadde ssabbuuni ono atuyambye okuyimirizaawo emisomo gyaffe, naye ekiruubirirwa kyaffe oluvannyuma lw’okumaliriza emisomo kwe kweggya mu bwavu nga tutandikawo ekkolero naffe tufuuka abamu ku bannamakolero n’okuwa omukisa eri abantu abalala nga tubawa emirimu, era naffe tutuuleko n’abasajja bannamakolero be tuwulira obuwulizi.

BYE TUFUNYE MU  KUKOLA SSABBUUNI

1 Ssabbuuni ono tumukoledde ebbanga lya myaka ebiri naye era tufunyeemu bye tubadde tetusuubira okusinziira ku ntandikwa eya 100,000/- naye kati tetukyajula kuba tetukyagula ssabbuuni.
2 Tweweerera.
3 Kituyambye okugaziya ku birowoozo n’okuyiiya.
4 Tufunye emikwano egituzimba n’okumanyika.
5 Kati twagala kutandika kukola ssabbuuni ow’amazzi n’ebirala.

OKUSOOMOOZEBWA

Mu ntandikwa tebyali byangu kuba buli kimu kyali kipya naye kati tubiyize n’engeri y’okubiyitamu.
Twakoleranga mu katiba k’amabaati ne bitokota era tetwafunamu kuba obutiba bwali bwa mabaati nga manafu era ssabbuuni gwe twakola okusooka twagaba mugabe.

Naye kino kyatuyamba n’okumanyisa abantu era twafuna akatale.
Ekizibu ekirala, gwe twawa okutukolera sitampu y’okukoona ku ssabbuuni waffe yatukolera birala n’atubba.
Ebintu ebyetaagisa okukola ssabbuuni ono bya bbeeyi nnene ate nga byetaagisa bingi nnyo.
EBIPIMO bisinziira ku bungi bw’oyagala okukola ng’osinziira ku katale ko. Weewale okudiibuuda ebikozesebwa kuba olwo obeera ofiirwa agandibadde amagoba.
Funa Caustic soda omutabule omuleke okumala essaawa bbiri.

Gattamu butto otabule okumala eddakiika ttaano.

Teekamu Bolax omale eddakiika ttaano.
Ssaamu Sodium silicate otabule okumala eddakiika ttaano.
Teekamu langi oba obuwoowo bw’oba oyagala, olwo oyiwemu katiba ko bulungi.
 Mulinde akwate olyoke omuggyemu.
Muwummuze mu kifo ekiweweevu asobole okukala obulungi n’okuguma.
Oluvannyuma mupakire mu bookisi otwale okutunda.

 

Yiga okukola ssabbuuni mu ngeri esinga obwangu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sud1 220x290

Abaliko obulemu babagabudde ebya...

Abaliko obulemu babagabudde ebya ssava bya Ssekukkulu

Sub1 220x290

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi...

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

Tysonfury 220x290

Tyson Fury si waakuzannya Anthony...

Fury agenda kudding'ana ne Deontay Wilder mu February w'omwaka ogujja.

Parma 220x290

ManU etunuulidde musaayimuto wa...

ManU ekyayigga bazannyi banaagizza ku maapu sizoni ejja. Mu kiseera kino eri mu kyamukaaga ku bubonero 24.

2018wolvesceleb32 220x290

Arsenal esabye Wolves olukusa eyogere...

Nuno Espirito yatendekako Valencia eya Spain, FC Porto ne Rio Ave ez'e Portugal nga tanneegatta ku Wolves.