TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Engeri gy’oyiiyiza bizinensi ereme kugwa olw’emisolo

Engeri gy’oyiiyiza bizinensi ereme kugwa olw’emisolo

By Musasi Wa

Added 1st July 2015

OKUTANDIKA leero (July 01) ekitongole ky’omusolo kigenda kutandika okusolooza emisolo ku bizinensi entono eziteetaagisa bukugu obw’okubala ebitabo byazo ebikwata ku nnyingiza n’enfulumya.

2015 7largeimg201 jul 2015 145407483 703x422

Bya HERBERT MUSOKE    

OKUTANDIKA leero (July 01) ekitongole ky’omusolo kigenda kutandika okusolooza emisolo ku bizinensi entono eziteetaagisa bukugu obw’okubala ebitabo byazo ebikwata ku nnyingiza n’enfulumya.

Bwe yali ayanjula omusolo guno eri abasuubuzi mu Kampala ku Imperial Hotel, akulira ekitongole ky’ebyemisolo mu ggwanga ekya Uganda Revenue Authority (URA), Doris Akol agamba nti abasuubuzi bano baayawuddwaamu emitendera esatu okusinziira ku magoba ge bafuna mu bizinensi zaabwe.

Wano abafuna wakati w’obukadde 10 ne 20 baakusasula 250,000/-, obukadde 20 ne 35 baakusasula 400,000/- ate abafuna obukadde obuli wakati wa 35 ne 50 baakusasula 500,000/- buli mwaka.

Bizinensi eziri mu nteekateeka eno mulimu, amaduuka ga bulijjo, ababazzi, galagi, saluuni, ebirabo by’emmere, obulwaliro, amaduuka g’eddagala, abaliko bye bakola ng’ebyemikono, abalina obukolero obutono n’abalala.

ABALINA BIZINENSI  BEERALIIKIRIVU

Ng’omusolo guno gutandika okukola, abalina bizinensi zino balina obweraliikirivu nga bagamba nti kino kyandivaako bizinensi zaabwe okuzing’ama n’ezimu okuggalawo.

Muky. Alice Nalwanga owa Nalwanga Alice and Family Enterprises Co. Kirinnya - Kito -  Bweyogerere, mu Wakiso agamba nti, omusolo guno gujjidde mu kiseera kizibu kuba bizinensi ennaku zino mbi ng’ebikozesebwa bya buseere ate ng’akatale tekalabika.

“Amazima omusolo guno gwandimaliriza nga gutusaanyizzaawo naddala nga ffe ababadde batandika obutandisi. Oyinza okuba ng’obadde otandise okufuna kyokka ne bakussaako omusolo ekitegeeza nti ogenda kukendeeza ku magoba ne ssente z’okuzza mu bizinensi zaffe”, Nalwanga bw’agamba.

Ate Muky. Caroline Nabikolo nga muwala wa Nalwanga ate dayirekita mu kkampuni eno agamba nti, Gavumenti yandisoose kwongera kugaziya katale ka byamaguzi by’abantu bye bafulumya ne balyoka bongeza ku nnyingi olwo ne balyoka bassaawo omusolo.  

Singa baasoose ne batugaziyiriza akatale naddala okutuuka mu mawanga ag’ebweru kuba okugeza ebyemikono ennaku zino bitandise okutunda kyokka n’abantu ababiyingidde bangi.

Ekitegeeza nti, mu bbanga ttono singa tewabaawo kikolebwa kugaziya katale bizinensi nnyingi ezijja okugwa n’okulemererwa okusasula omusolo.

Omuntu bw’aba alina ennyingiza ennungi era eya buli kiseera, okusasula omusolo tekyandikalazza kyokka mu kiseera ng’amagoba ge tufuna gakyali ga kuteebereza kibeera kizibu.

KKAMPUNI YA NALWANGA
Kkampuni ya Nalwanga Alice and Family Enterprises Co, ekola ebyemikono omuli ebyokwewunda by’abakyala eby’omu bulago, eby’oku matu, eby’oku mmeeza, ensawo z’abakyala n’ebirala.

Balunda enkoko ekika kya Kuroiler n’obunyonyi obugubi.Muky. Nabikolo agamba nti, okutandika kkampuni eno yatandika asuubula bya kwewunda okuva mu Kampala ng’abitunda oluvannyuma n’afuna ekirowoozo ky’okutandika okubyekolera okusobola okwongera ku nnyingiza era n’atandika okugula ebikozesebwa mu 2013.

OKUSOBOLA OMUSOLO OLINA KUYIIYA NNYO
Muky. Nabikolo agamba nti, okusobola okusasula omusolo ogusabibwa ne gutakumenya, obeera olina:
1 okwongeza ku by’okola okwongera ku magoba.

Kituufu omusolo bagubalira ku magoba wabula bw’oba oyingiza ekiwera obuzibu tobufuna nnyo kuba osigala olinawo ekiwera okusinga okusasula kye kimu ng’ate ofissa kitono.
2 Okukekkereza ebikozesebwa obutayonooneka nnyo okusobola okusala ku ssente z’okozesa ate ng’ennyingiza yo yeeyongera.
3 Okweyunira okukozesa ebintu ebya wano buli we kisoboka kuba bbeeyi yaabyo ebeera ya wansi okusinga ebisuubuddwa okuva ebweru w’eggwanga.
4 Okwongera okugaziya abantu b’okolagana nabo kikuyamba kuba bakuyamba okwongera ku by’okola ate n’akatale kuba buli omu asobola okubeera akatale ka munne akasookerwako.
5 Okutumbula omutindo gw’ebintu by’okola kuba ekintu ky’okozesezza ebintu ebitono nga kya mutindo kigula ssente nnyingi okusinga ky’okola mu bikozesebwa ebingi ng’omutindo guli wansi.
6 Okwewala okufiirwa mu buli ky’okola kuba kino kizza bizinensi emabega.

Muky. Nalwanga  ng’alaga emu ku nkoko ze balunda. Ku ddyo ng’asomesa abamu ku bakyala baayigiriza.

Omusolo gwabadde gwetaaga okutunuulirwa - USSIA

akulira ekibiina kya Uganda Small Scale Industries Association (USSIA), John K. Walugembe agamba nti wadde nga Gavumenti yeetaaga okukung’aanya omusolo okusobola okufuna ssente okutuusa empeereza eri abantu omusolo guno gulina ebibulamu.

Omusolo guno gwabuzeemu okulambika abantu ku mirimu egy'enjawulo okugeza: okusasuza saluuni omusolo gwe gumu ne galagi tebuba bwenkanya, kuba bizinensi zino zombi zirina ennyingiza za njawulo nga n'ebyetaago byazo bya njawulo ekitegeeza nti zandibadde zisasula omusolo gwa njawulo", Walugembe bw'agamba.

Omusolo guno ogwassiddwaawo gwa kwongera ku kkampuni n'ebitongole ebivaamu ssente, tulina okukimanya nti omusolo gusaanidde okukozesebwa okufunza enjawulo wakati w'abagagga n'abaavu kyokka guno gulabika nga gwakwongera ku gigaziya anti abasinga ku bagenda okuggyibwako omusolo be baavu abeerwanako okufuna ku ssente.

Mu ngeri y'emu okussa omusolo ebitundu 10 ku 100 ku bifumbibwa nga emigaati, keeki n'ebirala ate nga giri ku babifumba bokka kigenda kulemesa bangi okukola kuba mu kiseera kino bigenda kulinnya ebbeeyi ekigenda okugoba bakasitoma ate nga nabyo bangi babadde babiyingidde.

N'olwekyo omusolo guno gwabadde gwetaaga okwongera okutunuulira n'okulowooleza nga tegunnaba kussibwa mu nkola kuba gwandizing'amya enkulaakulana mu ggwanga.

TULUKA N’OKULUNDA
Nabikolo agamba nti, lumu nnyina yakyalira abaana n’agulayo akasawo akatereka ssente, wabula ye bwe yakalaba n’afuna ekirowoozo eky’okuluka ensawo.

Yakayiwa nga bw’alabirako bwe bakaluka era ne batandika. Kati tuluka ensawo mu sayizi ez’enjawulo nga bazitunda wakati wa 30,000/- ne 80,000/-. Ate ‘buwaleti’ bwa 15,000/-, eby’oku matu 5,000/-, eby’omu bulago 10,000/-, eby’oku mmeeza 150,000/-, emisipi 5,000/- n’ebirala.

“Tusinga kubitunda mu myoleso, amasomero n’amatendekero ne kkampuni ez’amaanyi.
Tutendeka abakyala n’abavubuka okukola ebyemikono ku fiizi ezitandikira ku 50,000/- oluvannyuma lw’okufuna abantu ab’enjawulo nga batusaba okubatendeka.”

ENKOKO
Okusobola okwongera ku nnyingiza twasalawo okutandika okulunda enkoko ekika kya Kuroiler era twatandika n’enkoko 300 ze twatunda ku myezi 9 nga zimaze okubiikira emyezi ena ne njaluza obukoko obulala.
Wano twayaluzanga obukoko 200 buli wiiki nga tubutunda 2,500/-. Twafunanga 500,000/- buli lwaluza, olwo omwezi nga buba 2,000,000/- okuva mu bukoko.

Twatandika okubufuna ng’enkoko za myezi etaano. Oluvannyuma enkoko twazitunda ku 25,000/- enkazi ate empanga 35,000/-.

OBUGUBI
Nnina obulwadde bwa asima era lumu nga tuli mu mwoleso, nnasisinkana abalunda obugubi nga bagamba nti amagi gaabwo gawonya asima kwe kutandika okugagula kyokka nga doozi y’amagi ya 2,000/-.

Baze bwe yalaba kimuyingira nnyo yasalawo tutandike okubulunda. Mu kiseera kino tulina obunyonyi 165 nga ku buno 50 bubiika amagi 20 olunaku nga buli ggi lya 1,000/-.
Ba Nalwanga bali ku 0704195756.

 

Engeri gy’oyiiyiza bizinensi ereme kugwa olw’emisolo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mag1 220x290

Omubaka wa Igara West Rafael Magyezi...

Omubaka wa Igara West Rafael Magyezi eyaleeta ekiteeso ky'okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti aweereddwa obwa...

Bra1 220x290

Biibino bye wasubiddwa mu mpaka...

Biibino bye wasubiddwa mu mpaka z'emisono

Ritahpenny1 220x290

Akabaga k’amazaalibwa ga Ritah...

Ritah Penny bamukoledde akabaga k'amazaalibwa akamucamudde.

Lytobosswife4 220x290

Mukyala wa Lyto Boss asulirira...

Omuyimbi Lyto Boss yeesunga 'ssukaali' mukyala we asulirira kuzaala

Hazard333 220x290

Hazard asuubizza aba Chelsea

Hazard agamba nti bw'aliba avudde mu Real Madrid, ayinza okuddayo mu Chelsea.