TOP

‘Ssente nzifuna mu bikongoliro’

By Musasi Wa

Added 8th July 2015

Joan Nakigudde yasalawo okuteeka kaabuvubuka ku mabbali n''asalawo okugenda mu kasasiro ow''enjawulo ng''anoonyereza ku ngeri gy''ayinza okumuggyamu ekintu eky''omugaso afune ssente nga bw''ataasa n''obutonde bw''ensi. Anyumya bw’akola emirimu gye.

2015 7largeimg208 jul 2015 094315597 703x422

Bya HAFSWA NANKANJA


Joan Nakigudde yasalawo okuteeka kaabuvubuka ku mabbali n'asalawo okugenda mu kasasiro ow'enjawulo ng'anoonyereza ku ngeri gy'ayinza okumuggyamu ekintu eky'omugaso afune ssente nga bw'ataasa n'obutonde bw'ensi. Anyumya bw’akola emirimu gye.

Nnamaliriza emisomo gyange omwaka oguwedde nga nnafuna diguli mu Industrial Art and Design mu yunivasite e Kyambogo. Mu diguli eno naggyamu essomo limu erikusindika okunoonya kasasiro n'omukolamu ekintu eky'omugaso.

Nnasoomoozebwanga nnyo mukusoma nga ndowooza bye nsobola okukola mu kasasiro. Lumu twasindikibwa okubaakokye tukola okuva mu kasasiro ku byalo.

Mukama yannyamba ne nsanga nga sizoni ya kasooli ate nga maama yamulimanga n’amusuubuza mu mpeke.
Nnasanga ebikongoliro bya kasooli bingi era ne ntegeeza maama ku kirowoozo ky’okubaako kye mmukolamu.

NKOLA KKATENI

Ekirowoozo nnakifunira ku ddirisa ly’abasomesa eritaalina kkateni, ne ndowooza ku kugikola mu bikongoliro.
Nnafuna ebikongoliro ne ntandika okubikubamu ebituli n'okubyabuluzaamu.

Twali twasoma ku by'okugatta n'okufumba langi ez'enjawulo era buli kikongoliro kye nnamalanga okussaamu ekituli nga nkiwawulako n'oluwawu oluzungu oluvannyuma ne nkifumba mu langi gye njagala.

Kino nakyegezangamu enfunda nnyingi.
Bwe twatuuka mu bibuuzo ebyakamalirizo mu ssomo lino era kkateni yange gye nnakola y'emu ku pulojekiti ezaasinga era nakati yunivasite yagisigaza okusomesezaako abalala.

NNINNYISA OMUTINDO

Nga tetunnaba kutikkirwa, nnalabanga bayizi bannange abakoze ebyokwewunda mu mbira n'ebipapula nange kwe kusalawo embira ezo nzikolemu ebikongoliro. Kyatuukirira era nakati mbikola.

Joan Nakigudde nga alaga ebimu ku bintu byakola mu bikongoliro

Bye nkola mulimu

Eby'omu bulago, ebikomo, eby’oku magulu, ku matu, ebitimbibwa mu nju n'ebirala. Kkateni eno n'eby'omu bulago ebisinga nabyo osobola okubitimba mu ddiiro n'oliyooyoota kuba bikola ng'ekimuli.
Kati nkola n’ensawo z’abakyala ez’omu ngalo.

Akatale

Ekigendererwa kyange kya kufuna katale k'ebweru kyokka sinnakituukako.
Wabula, byo bye nkolawo kati mbitunda mu myoleso egy'enjawulo, ku National theatre, wabweru wa Kampala ng'e Mbale, Soroti, Iganga, Rakai n'awalala.

Ebikozesebwa gye mbiggya

Kasasiro asinga mmuggya waka nga kuno kwe ngatta okunoonya obucupa n'obusaanikira bwa sooda obwa pulasitiika n'ebipapula bye nzinga ng'embira ne mbisiiga langi ze njagala.

Omuwendo

Kkateni eyinza okuggweera mu 50,000/- ne ngitunda ku 100,000/- n'okusingawo.
Ebyokwewunda biva ku 10,000/- n’okusingawo. Obukwata ebisumuluzo butandikira ku 3,000/-.
Ebirala ebitimbwa mu nju ebiri mu ndabirwamu bitandikira ku 50,000/-.

Ebimu ku bintu byakola mu bikongoliro

Ebirungi

Abantu ababirabako beewuunya engeri gye mbikola. Kino kyongera okunkakasa nti ndi wa njawulo.
Nfunyeemu ssente ezimbeezaawo kuba sikyatawaanya bazadde.

Abantu bangi bantaddemu obwesigwa, okugeza omukyala Dr. Rose Kirumira ow’e Makerere eyasiima pulojekiti yange n’ampa aw'okusula ku nju ze e Kiteezi ku bwereere nsobole okugenda mu maaso n'ekirooto kyange.
Nsomesezza abantu nga ntuukirirwa ebitongole eby’enjawulo ne nsasulwa.

Mu kiseera kino nsonda ssente kuddayo kusoma diguli eyookubiri.
Nnagulayo masiini eyange ne mpona okweyazika.

Obuzibu

1 Waliwo abantu abansaba okubakolera ebintu nga bagenda mu kuvuganya okw'enjawulo kyokka bwe bayitamu tebadda.
2 Obutaba na byuma bikozesebwa eby’omulembe nsobole okwanguya emirimu.
Abantu tebannabitegeera era bakoma ku akwewuunya tebagula.
Nkyalina kapito mutono era omuzirakisa asobola okunkwata ku mukono mmwaniriza.

 

‘Ssente nzifuna mu bikongoliro’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mknwc1 220x290

Yaaya gwe baagobye ku mulimu atambuzza...

Yaaya gwe baagobye ku mulimu atambuzza bigere okuva e Ntebe okudda e Kamuli ne bbebi we: Yakomye Mukono n'alaajanira...

Kt1 220x290

Poliisi ekoze ekikwekweto ku zi...

Poliisi ekoze ekikwekweto ku zi loogi n'egwa ku basinda omukwano

Cap1 220x290

AbaKulembeze mu kalungu batuuzizza...

AbaKulembeze mu kalungu batuuzizza olukiiko okutema empenda z'okulwanyisa COVID-19

Pop13 220x290

Poliisi etandise okunoonyereza...

Poliisi etandise okunoonyereza ku musirikale waayo eyakubye abaana be amasasi

Kafeera 220x290

Leero luno!

NG’ENSI eri ku bunkenke bw’ekirwadde kya Coronavirus, abamu ku Bannayuganda batandise okubiteekamu omuzannyo bo...