TOP

Jokas : Okikola otya!

By Musasi Wa

Added 15th October 2015

JOSEPH Kasumba 60 (JOKAS) mutuuze w’e Bweyogerere era nnannyini wooteeri ya JOKAS. Ye yasooka okuteeka siteegi ya takisi mu ppaaka ey’e Mubende.

 JOSEPH Kasumba 60 (JOKAS) mutuuze w’e Bweyogerere era nnannyini wooteeri ya JOKAS. Ye yasooka okuteeka siteegi ya takisi mu ppaaka ey’e Mubende.

Engeri gye yeerandizza n’atuuka waali agyogerako bwati:

 Erinnya JOKASlye nkozesa mu bizinensi zange kwe basinga okummanyira nnaliggya mu mannya gange gombi. Ku lya Joseph n’aggyako JO ate ku Kasumba ne nzigyako KA nga S nagiteekako ku lw’abaana. Kiggwaayo nti, Joseph Kasumba and Sons.

 Nzaalibwa abagenzi Leopald Mutabaazi n’ómukyala Tereza Nakintu e Mubende ku kyalo Lwanjiire. Nnakulira mu maka maavu era olw’embeera eno, saasobola na kumalako pulayimale nga taata takyasobola kunnyongerayo.

 Bwe nnalaba guli gutyo, natandika okweyiiyiza ku myaka 14 nga nnunda ente z’abatuuze ne nsasulwa.

 Bwe nawezaawo ssente, nnatandika okusuubula enkoko n’amatooke mu byalo ne mbitundira ku luguudo lwa KampalaFort portal.

 Wano nnakolera ddala ssente ku batambuze mu mmotoka ezaabanga ziyitawo.Nga mmaze ebbanga nga ntunda ebintu ku kkubo, nnafuna ekirowoozo ebintu mbitwalenga mu kibuga e Kampala.

 Nnatandika okutwala enkoko n’amatooke mu katale ka Owino. Byantambulira bulungi kuba enkoko gye nnasuubulanga wakati wa 200/- ne 300/- mu kyalo, bwe nnagituusanga mu kibuga nga nzitunda wakati wa 700/ ne 800/- so nga ku kkubo nnali nzitunda 500/-.

 Mu 1986, nnakung’anya emitwalo 30 ne ntandika akaduuka e Mubende mu tawuni. Bwe nnatundanga enkoko mu kibuga, ssente nga nzigulamu cakalacakala gwe nnateekanga mu kaduuka. Ava atya mu kaduuka?

Jokas : Okikola otya!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

No Matching Document

Emboozi endala

Uganda4 220x290

Onyango n'abawagizi basiimye ebitone...

Bayo, yazannye eddakiika 90 so nga Okello yazannyeko 25 oluvannyuma lw’okuyingira mu kifo kya Kizito Luwagga.

Villapolice04 220x290

Villa ekaabirizza Onduparaka omwayo...

Ggoolo ya Emma Kalyowa mu ddakiika eyookutaano, Faizol Muwawu (14) ne Fahad Bardiro (91), ze ziyambye Villa okuwangula...

Capture 220x290

KCCA eggadde woteeri: Babadde bafumbira...

KCCA eggadde woteeri: Babadde bafumbira emmere mu kaabuyonjo

Capture 220x290

Abatuuze beekoledde oluguudo: Bakukkulumidde...

Abatuuze beekoledde oluguudo: Bakukkulumidde abakulembeze obutabayamba

Capture 220x290

Ssaabavvulu Balaamu akubuulira...

Ssaabavvulu Balaamu akubuulira gyenvudde we: 'Maama wange yatundanga waragi okunsomesa'