TOP

Ebintu 10 by’oba otandikirako mu mwaka guno

By Musasi wa Bukedde

Added 6th January 2016

Kituufu okukkiriza nti omwaka guno omuggya tegwandibadde kye kimu ng’oguwedde. Ne bw’oba ogufunyeemu ssente guno ogutandika gwandibadde gwa maanyi nnyo okusinga omukadde.

Sirako 703x422

Mu mwaka guno omuggya. Oteekwa okubaawo n’ebintu gwe ne bano bye musazeewo nti bye mwagala okutuukako nga muluubirira okulongoosa kkampuni oba bizinensi yammwe.

Kituufu okukkiriza nti omwaka guno omuggya tegwandibadde kye kimu ng’oguwedde. Ne bw’oba ogufunyeemu ssente guno ogutandika gwandibadde gwa maanyi nnyo okusinga omukadde.

Ebintu kwe wanditandikidde mu mwaka guno

a. Okuwandiika abakozi abapya.

Bizinensi bw’eba eggalawo omwaka, yeetegereza abakozi b’ebadde nabo era omupya bwe gutandika ewandiika abakozi abalala okusinziira ku babeera bagenze.

b. Togobanga abakozi nga mutandika omwaka. Nedda. Abakozi babayimiriza muggalawo mwaka nabo ne bafuna omukisa okunoonya gye batandikira.

Bw’oba otandika, kakasa nti ttiimu yo ey’abakozi weeri era nneetegefu okutwala bizinensi mu maaso. Weggyeeko abakozi abatayagala kukola. Bano bagyemesa n’okumalamu bannaabwe amaanyi.

c. Enkiiko. Abantu bangi tebalowooza nti weetaaga olukiiko ng’otandika omwaka olw’okulowooza nti bamanyi era bagenda mu maaso n’okukola bye balowoooza nti bye binaakolebwa mu mwaka.

Kino kibosoka naye obuzibu obukirimu kwe kuba nti bw’otokola nkiiko b’okola nabo, tebategeera bikkaanyiziddwaako okuwangula omwaka ogutandise. Buli omu akola bibye ekivaako obuzibu obusuula bizinensi.

d. Okukuba tooki mu mwaka oguwedde. Buli lwe tumalako omwaka, wabaawo ebintu ebisigalira nga tebiwedde olw’ensonga ez’enjawulo omuli: obudde, ebikozesebwa nga ssente oba obumanyi.
Bwe mutuula mwenna, mutunuulira ensonga zino ne musala amagezi agaziwangula mu mwaka guno. Weegendereze endagaano ze wakola mu mwaka oguwedde ozituukirize.

e. Okwejjukanya. Kirungi okwejjukanya ate n’okukuba tooki gye mugenda. Wabaawo amawulire ge mufuna mu mwaka kyokka nga galina kussibwa mu nkola mu mwaka oguddako.
Wano kirungi okutuula ne mwetegereza ebinaabayamba mu mwaka omupya. Kkampuni erina okuba n’ekitabo kye bayita ‘Events book’. Kino kibaamu ebikujjuko bye mwagala okukola mu mwaka. Kino kikuyamba obutamala gasalawo ku bikujjuko by’oyagala okukola mu mwaka. kuba byonna byetaagisa ssente ate bw’oziteeka awakyamu tezidda.

f. Emisomo. Abakozi beetaaga emisomo.Gino gibayamba okwejjukanya ebigendererwa bya kkampuni n’okuzuula oba bakyali ku mulamwa. Ebivaamu biyamba okulongoosa emirimu.
Funa omukugu mu byenfuna abayambeko okumanya bye mwetaaga okulongoosa omulimu.

g. Amabanja. Kirungi okwogera ku nsonga y’amabanja. Ennaku zino ffenna abasinga okubeera mu bizinensi tulina amabanja kwe tutambulira. Tokyalina bw’ogeewala.
Kkampuni oba bizinensi yonna ebeera n’amabanja ga mirundi ebiri. Agabanjibwa wabweru n’agatubanjibwa. Muno mw’otwalira n’abakozi bonna.
Ebiseera ebimu weesanga ssente z’obanja nnyingi nga bizinensi tesobola kutambula nga tozifunye.
Oluusi weesanga ssente ezikubangibwa nnyingi nga ne bw’otunda byonna by’olina mu bizinensi tosobola kuzisasula ne ziggwaayo.
Okumanya bino, kikuyamba okusalawo obulungi ku ngeri gy’ogenda mu maaso.

h. Okwongera ssente mu mulimu. Mu nkiiko ze tukola mubaamu okutunuulira bajeti y’omwaka. Eno y’ensaasaanya n’ennyingiza gye tusuubira. 

i. Okwekkaanya by’olina mu bizinensi. Wadde wabala ebintu bye wasigaza mu bizinensi nga muggalawo omwaka, ate nga muggulawo era ddamu obale ebintu by’olina.
Ababi batera nnyo okukozesa akakisa kano okubba. Oyinza okukuuma olubugo nga lubaale mubbe.

j. Okusuubula. Kano ke kaseera akatuufu okusuubula, wabula osaanye okwegendereza naddala emiwendo. Jjukira mu bbinu ly’okumalako omwaka, ebintu bingi bigulibwa era ne biggwa mu maduuka ate eri gye tusuubula waba waggale nga tosobola kuzzaawo.

Bwe baggulawo, abaguzi baba bangi nga bayaayaana okufuna ebintu ekireetera abatunda okwongeza emiwendo. Wabula genderera kuba wayitawo akaseera katono emiwendo ne gikka ng’abaguzi beesaze. Wano eyagulira ku buseere, w’ofunira obuzibu.
Tosuubula kujjuza dduuka, gula ebyo byokka ebitambula.
Nkwagaliza omwaka omulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Soma 220x290

‘Abaami mmwe mutabangula amaka’...

ABAKULEMBEZE n’abatuuze mu tawuni kanso y’e Luuka boolese obwennyamivu olw’omuwendo gw’amaka agasasika okweyongera...

Leo 220x290

Omusibe atolose ku baserikale abatuuze...

ABATUUZE ku kyalo Kimuli mu ggombolola y’e Maanyi mu disitulikiti y’e Mityana bavudde mu mbeera ne basuulira poliisi...

Sevo1 220x290

Aba NRM mu Buganda batongozza Museveni...

ABAKULEMBEZE ba disitulikiti za Buganda eziwera 10 bakwasizza Pulezidenti Museveni ekkanzu eya kyenvu, ekyanzi,...

Tta 220x290

Eyatta owa bodaboda akkirizza okutuga...

Poliisi: Okimanyi nti obadde onoonyezebwa? Omusibe: Nkimanyi, kubanga akatambi akaatuleetera obuzibu nange nakalabako...

Pastorbugingo2703422350250 220x290

Bugingo asekeredde abaamututte...

Bugingo yasinzidde mu kusaba kw’omu ttuntu n’ategeeza nti tewali agenda kumugaana kwogera. Era ye talina muntu...