TOP

Mweyambise ebyuma ebisunsula emmwaanyi embisi obutafiirwa

By Musasi wa Bukedde

Added 6th January 2016

Abakugu mu by'emmwanyi bagamba nti omutindo gw'emmwaanyi ezisunsulwa nga mbisi ne zikazibwa gubeera waggulu kw’ezo eziggyibwako akakuta nga zikaziddwa.

Kari 703x422

Omukyala ng’ayanika emmwaanyi ku ttundubaali.

WADDE ng'omulimi w'emmwaanyi aweebwa amagezi okutunda ezo ezimaze okwongerwako omutindo nga zimaze okukazibwa n'okuggyibwako akakuta okusobola okufissa ekiwera, oyo atasobola kutuukiriza kino yandibadde azeggyako nga mbisi.

Kino kiddiridde ebyuma ebisunsula emmwaanyi embisi okweyongera obungi mu bitundu by'eggwanga ebitali bimu.

Abakugu mu by'emmwanyi bagamba nti omutindo gw'emmwaanyi ezisunsulwa nga mbisi ne zikazibwa gubeera waggulu kw’ezo eziggyibwako akakuta nga zikaziddwa.

Enkuba ebadde etonnya obutasalako evuddeko omutindo gw'emmwaanyi okukka mu balimi ababadde tebatana busobozi bwa kuzaanika n'okuzaanula mu budde ne zivunda.

Joseph Nkandu, ssentebe w'ekibiina ekigatta abalimi b'emmwaanyi mu ggwanga, ekya National Union of Coffee Agri - Business Enterpriseses (NUCAFE) agamba nti emmwaanyi okuzisunsula nga mbisi tekyeyibaaza mulimi kuba ekisinga obukulu mu byonna kwe kukuuma omutindo.

‘Emmwaanyi ezisunsulwa nga mbisi oba nga nkalu omutindo gwazo gusinziira ku nkwata yaazo. Obutale bw'emmwaanyi bwa kuvuganya nga waliwo obwo obwetaaga ezaanikiddwa nga ziggyiddwaako akakuta," Nkandu bwe yagambye.

Ayongerako nti, tekinologiya mu byuma ebisunsula emmwaanyi embisi agenze yeeyongera mu ggwanga nga kati waliwo n'ebyo ebikozesebwa n'emikono nga biva ku 80,000/- ate eby'amasannyalaze bbeeyi esingako okusinziira ku bunene byabyo.

Bbeeyi y'emmwaanyi embisi okufaananako n'enkalu egenda ekyukakyuka okusinziira ku katale bwe kayimiridde.

Sizoni y'emmwaanyi mu Buganda ne Busoga yeeyongedde naye bbeeyi yayongedde okusereba nga yavudde ku 5,200/- buli kkiro ya kase okutuuka ku 4,500/- oba 5,000/- okusinziira ku mutindo gwazo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bi 220x290

Bebe Cool agenze mu Amerika kusakira...

Bebe Cool agenze mu lukung’ana lw’ekibiina ky’amawanga amagatte (UN) kusakira balwadde bakafuba ssente za bujjanjabi....

Abasuubuzingabalimukatalekakirekamainmarketwebusebig 220x290

Mutuzimbire akatale akali ku mutindo...

Akatale ka myaka 90 wabula tekalina mifulejje wadde bakasitoma we bayita.

Kyotera1 220x290

Abazadde balumbye essomero lw'abaana...

POLIISI e Kyotera eggalidde dayirekita w’essomero lya Kyotera Infant Pri.Sch, ne Heedimasita w’essomero lino ng...

Mulironnyumba2 220x290

Omuliro gw'okyezza enju y'omusawo...

NABBAMBULA w’omuliro asaanyizzaawo amaka g’omusawo ebintu bya bukadde ne bitokomoka okubadde n’emmotokka.

Preg1webuse 220x290

Nkole ntya okwewala omwenge kuba...

Olubuto lunjoyesa omwenge naye mmanyi gwa bulabe eriomwana ali munda. Nkole ntya okugwewala?