TOP

‘Twatandisa 50,000/- kati tuweza 700,000/-

By Benadino Kate

Added 6th January 2016

Twatandika omulimu guno mu 2013 nga tuli babiri n’omukyala omulala Samali Mazzi, 34. Twamala ebbanga lya mwaka mulamba nga tukola, twagenda okulaba ng’emirimu gisusse ne tusalawo okwongerako abalala basatu okuli; Sarah Namutebi 18, Aminah Kajumba ne Ruth Namutebi, 25 ne tuwera bataano era bwe tukyali.

Yiiya1 703x422

Bammemba ba ‘Tukole Womens’ Group nga basiba obubaasa.

SSENTE okuzifuna tekyetaaga kutandika na mirimu gya maanyi wabula obugumiikiriza bw’ogiwa ky’ekisinga obukulu n’okuyaayaanira okumanya okuva ku bantu ab’enjawulo ku biki bye bakola ebisobola okuvaamu ssente. 

..............................................................................................

Abavubuka abeegattira mu kibiina kya Tukole Women’s Group e Namungoona Zooni 1 mu ggombolola y’e Lubaga bakola obubaasa obuteekebwamu ebintu eby’enjawulo nga Mary Nassolo, 30 akulira ekibiina kino bw’annyonnyola:

Twatandika omulimu guno mu 2013 nga tuli babiri n’omukyala omulala Samali Mazzi, 34. Twamala ebbanga lya mwaka mulamba nga tukola, twagenda okulaba ng’emirimu gisusse ne tusalawo okwongerako abalala basatu okuli; Sarah Namutebi 18, Aminah Kajumba ne Ruth Namutebi, 25 ne tuwera bataano era bwe tukyali.

Twasalawo okutandika okukola omulimu guno oluvannyuma lw’okubulwa emirimu egivaamu ssente ate ng’obuvunaanyizibwa tulina bungi.

Bwe nasinkana abakyala abaali babukola e Mengo ne mbeebuuzaako ne bambuulira buli kimu ekyetaagisa okubukola era ne banjigiriza. Bwe naddayo eka ne mbuulirako Mazzi nange ne mmusomesa engeri gye babukolamu ne tutandikira awo.

Twatandisa 50,000/-

Twatandika ne 50,000/- egyatuyamba okugula ebikozesebwa naye nga zaali tezisobola kukola bubaasa bungi kuba ku zino kwe kwali n’ez’entambula okugenda mu Owino okugula empapula n’ebirala ate ne tufissaako ez’otambuza obuntu buno mu bitundu nga Kawempe, Makerere n’awalala.

Kati tuli mu kapito wa 700,000/- naye nga tulwanye okuziweza.
Bwe twawera abantu 5 ne tusalawo okugaziya ekibiina nga tutereka 4,000/- buli wiiki zituyambe okwongera ku nnyingiza yaffe nga tuzeewola n’okuzeeyambisa singa tufuna obuzibu mu kibiina ng’abavubuka.

TWAGALA KUMALAWO BBULA LYA MIRIMU

Tulina ekigendererwa eky’okuyigiriza abavubuka bonna abatalina mirimu kiyambe okukendeeza ku bumenyi bw’amateeka obuli mu kitundu nga bukolebwa bavubuka n’okubayamba okumanya omugaso oguli mu kukola emirimu abantu gye basinga okunyooma.

ENKOLA Y’OBUBAASA

Tukola emirundi esatu buli wiiki kuba tulina abantu bangi ababutubuuza nga tetwagala butuggweeko.

Tukozesa empapula nga tuzisuubula mu Owino mu kkiro ng’eziriko ebigambo ya 1,800/- ate ezitaliiko kkiro ya 2,000/- .

Bwe tuba tugenda kukola obubaasa obutono olupapula olunene tulusalamu ne tukola obuntu nga bulabika bulungi.

Tukozesa obuwunga bwa muwogo okusiba obubaasa nga buno tubutabula nga bukwafu bulungi ne tubufumbako.

Olumala okutokota ne tubuggyako ne buwola bulungi okusobola okubukwatamu nga tebwokya ate n’obutasaasaanira ku mpapula.

Oluusi bwe tuba tetukozesezza buwunga bwa muwogo tukozesa gaamu nga naye atuyamba naye tusinga kukozesa buwunga kubanga bwo bwa bbeeyi ntono.

Tukola ebbaasa ennene nga zino zisobola okukozesebwa abatunzi ba cipusi, n’ebintu ebisobola okuweza kkiro nga bbiri.

Tukola entonotono wamu n’obutono nga buno bukozesebwa abaamalwaliro okuteeramu abalwadde eddagala.

 azzi uth amutebi  mina ajumba arah amutebi ne assolo nga bategeka ebbaasa eziwedde okukola Mazzi, Ruth Namutebi, Amina Kajumba, Sarah Namutebi ne Nassolo nga bategeka ebbaasa eziwedde okukola.

 

AKATALE K’OBUBAASA

Ebbaasa zino tuzitunda mu bifo eby’enjawulo naddala eri abantu abakola emirimu emitonotono ng’abatunda ebyokulya ebisiike.

Mu bano mulimu abasiika cipusi, capati, enkoko, n’abalala.

Tubutunda ne mu maduuka nga bateekeramu bakasitoma ebintu.

Tukolagana n’amalwaliro naddala ag’obwannannyini nga bano basinga kugula bubaasa obusembayo obutono kuba bubayamba okuteekamu amakerenda.

EMIWENDO

Obubaasa obugendamu empeke tusiba 80 ne tubutunda ku 1,500/-.

Eziddirira obunene tusiba 20 ku 500/-.

Ezisinga obunene tusiba 20 ne tuzitunda ku 1,000/-.

OBUKWAKKULIZO OBULI MU KIBIINA

1 Omuntu yenna ayagala okutwegattako alina okuba omumalirivu ate ng’ayagala okukola buli we tubeera tumwetaagidde.

2 Osasula 15,000/- okutwegattako nga kino twakakitandika kuba tulaba ng’emirimu gitususseeko ate n’akatale keeyongedde okugaziwa.

3 Mmemba alina okuba nga mutuuze wa mu kitundu ky’e Namungoona kuba emirimu gye tukola gyetaagisa okuba ng’omuntu abeera kumpi n’abalala. Kino kituyamba n’okukwatagana kuba tubeera twemanyi bulungi tewaba kweraliikirira.

4 Tuyingiza n’abaana baffe bye tukola kibayambe okukula nga bamanyi eby’okukola. Ne mu luwummula bayiga kuba ne ku masomero babibasomesa ate baagala.

ENGABANA YA SSENTE

Ssente zino tuzigabana okusinziira ku magoba ge tubeera tukoze. Bwe gabeera mangi buli omu afuna ekiwera.

Ssente ze tukuhhaanya buli wiiki tutuula ne tuzibalirira buli luvannyuma lwa mwaka ne tuzigabana buli omu n’amaliriza ebizibu bye, naye nga tulekamu ssente ezikuuma ensawo.

EBIRUNGI BYE TUFUNYE

1 Ebisale by’amasomero g’abaana tebikyatutawaanya era ffenna tusasula mu budde n’okuwa abaana ebyetaago ebirala.

2 Tufunye emikwano mu bitundu eby’enjawulo n’addala eri abo be tuguza obubaasa bwaffe.

3 Tuyambako abaami baffe okusonda ez’obupangisa.

4 Abantu baffe tebasobola kusula njala kuba omulimu gutufunira ssente buli kiseera nga tetulinda kusasulwa mwezi.

5 Tuyigirizza abantu bangi ng’abasinga nabo batandise okukola omulimu guno. Kino kituyambye okukendeeza ku bbula ly’emirimu mu kitundu kyaffe.

OKUSOOMOOZEBWA

Obubaasa buli ku ssente ntono ate nga tubawa bungi ne tufunamu kitono nga bw’otogumiikiriza tosobola kukola mulimu guno.

Abantu abasinga batujerega nti bye tukola by’abantu ba wansi oluusi ekitumalamu amaanyi.

Ebikozesebwa ng’empapula, gaamu, obuwunga n’ebirala biri ku buseere nga bitulemesa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kasibante2 220x290

Omubaka Kasibante atereezezza obufumbo...

MOSES Kasibante omubaka wa Lubaga North atereezezza amaka, bw’ayanjuddwa mu kitiibwa ku mukolo ogwetabiddwaako...

Jmcweb 220x290

Kyetume ekutudde JMC Hippos

Kyetume evudde emabega n'ewangula JMC Hippos mu Big League mu ddakiika ezisembayo

Joshuaweb 220x290

Cheptegei ataddewo likodi ng'awangula...

Joshua Cheptegei ataddewo likodi y'ensi yonna empya, ng'awangula kiromita 15 mu misinde gya 2018 NN Seven Hills...

2016manujoseshout1 220x290

Veron ayogedde lwaki ManU evumbeera...

Veron akubye ebituli mu kisanja kya Mourinho mu ManU.

Afcon16 220x290

Olugendo lwa Uganda Cranes okugenda...

Olugendo lwa Uganda Cranes okugenda mu AFCON2018 e Cameroon.