TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Biibino by’oba omanya nga tonnaba kwewola omwaka guno

Biibino by’oba omanya nga tonnaba kwewola omwaka guno

By Musasi wa Bukedde

Added 21st January 2016

Biibino by’oba omanya nga tonnaba kwewola omwaka guno

Seb2 703x422

Hajji Jamil Ssebalu, mukugu mu byenfuna

Mu kaseera kano ffenna tunoonya ngeri gye tusobola okwongera ssente mu mirimu gyaffe. Kino kikolebwa buli ntandikwa ya mwaka kuba emirimu giba gitandise. Amagezi amangu kati kuddukira mu bbanka. Edda, twafunanga ssente mu mikwano oba abooluganda naye kati kigenze kizibuwala.

Obwesige bukendedde ku njuyi zombi era tokyasobola kumanya kiddirira nga weewoze oba okuwola. Kituufu abantu bangi abeewoze bafiiriddwa ebintu bingi nga bitwalibwa bbanka olw’okulemererwa okusasula.

Naye ate, abagagga bangi be njogedde nabo, bafunye ssente nga bakozesa enkola ey’okwewola mu bbanka ne bakola ate ssente ne beekubiriza okuzizzaayo. Bano nno, bagamba nti omuntu bwe yeekubiriza okusasula, asobola okufuna omugaso mu ssente z’aba yeewoze.

Abagagga bano abamu beekozeemu ebibiina nga mu bino, beewola ssente eziri mu buwumbi. Enjawulo wakati wa bbanka n’ebibiina bino kwekuba nti bakozesa obuntubulamu era tebakaluubiriza bannaabwe.

Wabula ate waliwo n’abalala abawola nga bano bayitibwa ‘manerenda’ nga baakazibwako lya ‘bw’ompa akamyu nkuwa ente’. Abamu ku bano balungi era bayamba, wabula ate abalala bazibu. Bwe bakuwola tosobola kubasasula ate bw’oba otuusizza ennaku ezisasula beekweka tosobola kubalaba nga kye baluubirira, ennaku ziggweeko omusingo bagutwale. ebbanja lya bbanka Ebbanja lya bbanka ze ssente ze weewola mu bbanka nga za kuzzaayo mu kiseera ekigere ky’oba okkiriziganyizzaako ne bbanka.

Ebiseera ebisinga zibaako amagoba n’ebintu ebirala nga ssente bbanka z’ekozesa okukutuusaako ssente ezo (processing fees), ssente za yinsuwa, ‘stamp duty’ n’ebirala. 1 Ebbanja liteekwa okubaako yinsuwa. Akuwola alina okukakasa nti ssente z’akuwoze tazifiirwa naddala nga tosobodde kusasula bbanja.

N’olw’ensonga eyo ayinza okukusaba okumuwa omusingo nga gusukka oba gwenkanankana ne ssente zaakuwola (Collateral YIIYA SSENTE Lwakusatu January 20, 2016 Bukedde 17 Security).

Kino kibeera kintu kikalu ky’olina ng’okirinako obwannannyini, okugeza ettaka oba ekizimbe. Abamu basaba n’emmotoka nga bino bijja kufuuka by’akuwoze singa olemerewa okumusasula. Abawola abamu, bakukkiriza omuntu okukweyimirira (Guarantor) era bw’otosasula ono y’asasula. Akuwola ayinza okukusaba omukakase nti onoomusasula.

Bizinensi eteekwa okulaga engeri gy’ebadde etambulamu nga tennafuna ssente zino (Cash flow). Kino kimuyamba okusalawo oba akuwa ssente oba nedda. Abawola abamu tebeetaaga musingo. Kye bakola, amagoba bagawanika okusobola okuzzaawo ssente ezitasasulwa. 2 Buli ssente ezikuwolebwa zibaako omuwendo.

Bwe weewola ebbanja, oteekwa okumanya nti olina okuzzaayo ssente ezikuwoleddwa n’ez’enfissi (interest) kw’ogatta n’emisoso emirala. Nga tonneewola buuza akuwa ssente omuwendo gw’olina okukomyawo (Total Cost of Credit).

Muno mulimu: Ssente ze weewola, amagoba ga bbanka ne ssente endala eziba zikozeseddwa okukutuusaako looni eno. 3 ‘Interest’ kye ki? Interest ze ssente z’osasula eri oyo akuwoze. Ssente zino bazibala mu bigero bya 100% (percentage) okusinziira ku ssente ze weewoze. Ssente zino batera kuzibala buli mwezi okusinziira ku bbanja bwe libeera libaliriddwa. Basobola okukusasuza buli mwaka, omwezi oba wiiki.

Waliwo enjawulo ya maanyi mu ssente ezikusabibwa wakati w’omwaka, omwezi oba wiiki. 4 Endagaano ekolebwa wakati w’oyo awola n’eyeewola. Wabaawo endagaano ekolebwa mu bbanka ng’erambika bulungi ebikwata ku bbanja ly’otwala.

Eno eteekebwako emikono gy’enjuyi zombi: awola n’eyeewola ekiteegeza nti mukkiriziganyiza n’ebintu byonna ebigirimu. Naye olina okwegendereza nga tonnateekako mukono nti ebintu ebigirimu obisomye era obitegedde bulungi okwewala ebizibu ebiyinza okujja mu maaso. Faayo okubuuza ky’oba totegedde oba okusaba oyo agenda okukuwa ssente akunnyonnyole bulungi ebyo ebiri mu ndagaano

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190722173519 220x290

Banjoman muto wa Bobi Wine alina...

Banjoman muto wa Bobi Wine alina ke yeekoleddewo

Annotation20190722170617 220x290

Omwana eyattibwa aziikuddwa: Eyamutta...

Omwana eyattibwa aziikuddwa: Eyamutta abadde yamuziika mu nju

Annotation20190722170129 220x290

Ssentebe asobezza ku bazukulu be...

Ssentebe asobezza ku bazukulu be 2: Poliisi eyazizza amakaage ng'adduse

Dem2 220x290

Omukazi atuludde abasajja entuuyo...

Omukazi atuludde abasajja entuuyo

Hit2 220x290

Champion bagenze bakolima

Champion bagenze bakolima