TOP

‘Kasasiro gw’osuula ye bizinensi yange’

By Musasi wa Bukedde

Added 10th February 2016

‘Kasasiro gw’osuula ye bizinensi yange’

Nsa2 703x422

Allen Nabukenya (ku ddyo), Lutaaya (wakati) ne Ssimwogerere abamu ku bakozi be nga balaga ensawo n’engatto bye bakola.

KIRUNGI omuntu okulonda essomo ly’asobola okukola ate n’okufunamu ssente ssinga alikugukamu. Allen Nabukenya, 25, omutuuze w’e Nammere, Kawempe11 mu ggombolola y’e Kawempe alina diguli mu kukuba n’okusiiga ebifaananyi.

Bwe yamaliriza okusoma yasalawo okukola kkampuni ya Njola Impression Company Limited ekola ensawo n’engatto mu mipiira gy’emmotoka. Annyonnyola engeri gy’akolamu; “Natandika okukola ebintu bino nga nkyali ku yunivasite mu 2012. Olw’okuba nali nsoma bya bifaananyi kyannyanguyira okubitandika, twali tulina essomo lye tusoma nga lya kunoonyereza ne nsalawo okugezesa ku mipiira emikadde egisuulibwa.

Olw’okuba giba gifuuse kasasiro, nalaba nga nsobola okufuna kye ngikolamu ne ntandikira ku kukola engatto era nagitunda 50,000/-, eno ye yali entandikwa. Wabula kati ndi mu kapito wa 6,000,000/-. Njigiriza abavubuka okukola ebintu bino kuba birimu ssente ate nga tebyetaaga ssente nnyingi kubitandika, wabula amagezi gokka n’okukola okunoonyereza okw’enjawulo okufulumya ekintu nga kirabika bulungi.

Y’ENSAWO ZINO

Ensawo zino nga sinnazikola nsooka kuzikolera pulaani ne mmanya nsawo kika ki eneenyumira abantu naye nga bino byonna mbikola mbiwandiika ku lupapula ne mmalirizza nga ntegedde byonna bye ηηenda okukozesa okugiwunda.

Ensawo zino nzikola mu kitundu ky’omupiira eky’omunda. Olugufuna nga nguyubulamu ekitundu ekyo kuba kibeera kigonda bulungi, ate eby’oku ngulu binnyamba okukola soole z’engatto.

Olumala okukiggyamu nkyoza bulungi ne ntandika okusala ebitundu bye mbeera nategese obulungi ku lupapula. Ngatta ebitundu byonna eby’ensawo oluvannyuma ne nteekako obutuli okugyetoolooza waggulu nga muno mwe mpisa obuveera obukola dizayini. Buno tubuluka na ngalo nga ne ku ngatto tubussaako.

Ensawo nzigatta na masanda, ppini n’obuveera era sirina we nkozesa kyalaani. Nakizuula ng’okukozesa engalo naddala mu kukola dizayini kirabisa bulungi ensawo okusinga ng’okozesezza ekyalaani.

Ekirala ebyuma ebikozesebwa okutunga emipiira gino bya ssente nnyingi ze sinnazifuna ate nga ggwo omulimu gulina okugenda mu maaso nsobole okufuna ssente ezibigula. Mu nsawo munda ntungiramu akafaliso okukendeeza ku bbugumu eryandibadde mu nsawo n’okuba ng’egonda.

Bwe mba sikozesezza buguwa okutunga nneeyambisa ppini kuba nazo zikola bulungi ensawo n’enyirira. Nkola ensawo mu buli bunene kuba waliwo ez’abakyala ezikwatibwa mu ngalo, ez’abalambuzi, abaana ze batwala ku ssomero n’eziterekebwamu ebintu awaka ennene ddala

EBIKOZESEBWA

1 Nkozesa akafaliso.

2 Obuveera bunnyamba okuwunda ensawo.

3 Obuuma obuyitibwa ppini mbukozesa okugatta ensawo n’okuwunda.

4 Emipiira gy’emmotoka.

5 Gaamu akozesebwa mu ofi isi annyamba oluusi okugatta we sisobola kutunga.

6 Embira nazo nzikozesa okuwunda ensawo.

7 Zipu nazo zikozesebwa okusiba ensawo. Abaana b’oku nguudo be bankuηηaanyiza emipiira n’obuveera bwe nkozesa okuwunda ensawo era mbasasula okusinziira ku bungi bw’ebintu bye bakuηηaanyizza.

Oluusi emipiira ngigula ku Kaleerwe ku 3,000/- emitono n’eminene ku 8,000/-. Obuguwa bwe nkozesa okutunga mbugula mu maduuka mu Kampala. Zipu nzigula mu owino naye nsinga kugula bigoye bikadde kuba by’ebibaako zipu eηηumu.

EBIRALA BYE NKOLA

1 Engatto z’abaana nga zino nzitunga mu mipiira gy’emmotoka n’obuveera bwe nnonda ku kasasiro.

2 Emisipi gy’abassajja.

3 Ebisapatu ebisuuliddwa.

4 Manvuuli okuva mu buveera.

5 Ebyokwewunda by’abakyala naddala abagole omuli eby’omu bulago n’obukomo.

6 Entebe okuva mu cokolo.

7 Ebyuma ebituuzibwako ebintu ng’emizindaalo, engatto n’ebirala.

AKATALE 

Akatale kange katandikira we nkolera kuba abantu b’omu kitundu bagula ebintu bino naddala ensawo n’engatto.

 Amatendekero aga waggulu nga yunivasite, abayizi bangulako ensawo, ebyokwewunda n’ebirala mu bungi.

 ηηenda mu myoleso nayo ne nfunayo abantu bangi abangulako. 

Nnina omudaala ku National Theatre mu Kampala abadigize we basinga okubisanga.

 Abalambuzi banyumirwa ebintu bye nkola era babingulako okusinga ensawo n’engatto.  Abayimbi bagula ebintu byange naddala nga bagenda kukola vidiyo z’ennyimba zaabwe kuba bigya mu bye baagala okukola.

 Ebitongole eby’enjawulo nga Uganda Plastic Manufacturers Association bagula ebyokwewunda ate ne babiteka ne ku mutimbagano kwe nfunidde abaguzi ab’enjawulo.

EMIWENDO GYABYO

Ensawo ziri wakati wa 10,000/- ne 300,000/- buli emu. Engatto za bulijjo nzitunda wakati wa 20,000/- ne 100,000/-. Sapatu wakati wa 20,000/- ne 70,000/-. Obukomo buva ku 3,000/-, obw’essaawa bwa15,000/-. Eby’omu bulago bitandikira ku 150,000/. Manvuuli ezikoleddwa mu buveera ziri ku 600,000/-.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheeber 220x290

Sheebah Karungi akutudde ddiiru...

OMUYIMBI Sheebah Karungi oluvudde mu ggwanga lya Amerika gy’abadde akubira abaayo omuziki atuukidde mu kukutula...

Kubaka9 220x290

Obuwanguzi bwa ttiimu ya Uganda...

Obuwanguzi bwa ttiimu ya Uganda ey'okubaka mu bifanaanyi

Illegalgears10 220x290

UPDF ekutte abavubi 17 ku nnyanja...

UPDF ekutte abavubi 17 ku nnyanja Nalubaale e Jinja Mayuge lwa nvuba mbi

Kasubibwafanana1 220x290

Katikkiro Mayiga alambudde Amasiro...

Katikkiro Mayiga alambudde Amasiro g'e Kasubi n'agumya Abaganda

Minisitaruhankanarugundangakwasaugandaekikopo 220x290

Uganda ekoze likodi ng'ewangula...

TTIIMU ya Uganda ey’okubaka esitukidde mu kikopo kya 2018 World University Netball Championship ezibadde ziyindira...