TOP
  • Home
  • Yiiya Ssente
  • ‘Ebitoogo mbikolamu entebe n’emmeeza mwe nzigya ssente’

‘Ebitoogo mbikolamu entebe n’emmeeza mwe nzigya ssente’

By Benadino Kate

Added 25th May 2016

Natandika sirina ssente wabula nayiiya ne ngenda ku nsiko ne ntema emiti omuli enzo, enga n’ebitoogo ne ntandikira awo.

Bitoogo1 703x422

Segawa ng’alaga ebimu ku bintu bye bakola mu bitoogo.

Bya BENADINO KATE

OBUTASOMA tekitegeeza kufa bwavu kuba osobola okukola emirimu egivaamu ssente ne weekulaakulanya. Simon Segawa, 28, omutuuze w’e Kasubi mu ggombolola y’e Lubaga omu ku bavubuka abavuddeyo okulwanyisa obwavu. Akozesa ebitoogo okubaako by’akolamu omuli: entebe n’obusero obusitulirwamu ebintu.

Anyumya bwe yatandika: Natandika okukola ebintu bino mu 2012 oluvannyuma lw’okulemwa okusoma olwa fiizi. Nasisinkana abaami e Nsambya abanjigiriza okuluka entebe, emmeeza, obusero n’ebirala mu bitoogo. Bwe nayiga nneetongola ne nzira e Kasubi ne ntandika mpola.

Mu myezi mitono nali mmaze okulaba gye ndaga ne nfuna n’erinnya lya bizinensi erya Simon Craft. Nalina ekigendererwa eky’okufunira abavubuka emirimu era kati nkozesa mukaaga.

Natandika sirina ssente wabula nayiiya ne ngenda ku nsiko ne ntema emiti omuli enzo, enga n’ebitoogo ne ntandikira awo.

Abantu beegomba ebintu bye nasooka okukola era ne babigula ne nfuna ssente ze natandika nazo okugula ebintu ebirala ebyetaagisa. Kati bizinensi yange ekuze eri mu bukadde nga buna.

EBIKOLEBWA Tukola entebe ez’omu nyumba, emmeeza, obutebe obukozesebwa mu bifo ebisanyukirwamu nga ku biiki, obusero obukozesebwa ku mikolo, ebibaya by’abaana kwe tugatta okukola engatto mu maliba g’ente.

EBIKOZESEBWA Ebitoogo, emiti gy’oluga n’enzo. Ekiddo ky’oku nnyanja tukikozesa mu kuluka, emmuli, amabanda. Vanisi anyiriza entebe ng’ewedde n’okugiwangaaza. Langi ez’enjawulo, emisumaali n’ebirala.

BYE NFUNYE l Emikwano eginnyambye mu kwongera omutindo ku bye nkola.

l Nneerabirira n’abomu maka gange.

l Sikozesebwa.

l Okumanyika mu bantu ab’enjawulo.

l Nyongedde okuvumbula ebintu bingi ebisobola okukozesebwa bye nali simanyi.

l Ntambude ebitundu bingi nga noonya ebikozesebwa omuli n’okugenda e Kenya.

l Mpadde abavubuka emirimu.

OKUSOOMOOZEBWA

1 Abantu abasinga balowooza nti bye tukola tebiri ku mutindo. 2 Obutasoma kutuuka wala nsubwa emirimu egitali gimu nga bansaba ebiwandiiko. 3 Ebikozesebwa tebirabika. 4 Ssente ezikozesebwa okutambuza ebikozesebwa nnyingi kuba ebimu tubiggya Kenya. 5 Akatale kakyali katono 6 We nkolera wafunda.

AKATALE Abazungu be basinga okugula ebintu bye tukola. N’abantu ab’omu kitundu abamu bagulako, abalala ne bakola wooda y’ebyo bye baagala. Abalina ebifo ebisanyukirwamu ng’ebbaala bagula entebe zaffe.

Twetaba mu myoleso gye tufuna abaguzi. Sseeti y’entebe ennene etandikira ku kakadde kamu. Entebe ezikolebwa mu miti gy’oluga n’enzo seeti etandikira ku 500,000/-. Obumeeza obutono butandikira ku 10,000/-.

ENSASU LA Y’ABAKOZI Olw’okuba abavubuka be nkozesa mbasuza n’okubaliisa, ensasula esinziira ku muntu ky’akoze. Ate bw’afuna abaguzi aweebwako omutemwa ku kitundiddwa. Bali ku 0702874448.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.

Fdc21a700517 220x290

Kkooti egobye omusango gwa Besigye...

KKOOTI etaputa Ssemateeka ewadde Dr. Kiiza Besigye amagezi okugenda mu kkooti ezize oba eri omulamuzi eyamulayiza...

Gavana w’e Nairobi ayiwaayiwa ssente...

GAVANA w’ekibuga Nairobi e Kenya, Mike Sonko 44, ayiwaayiwa ssente n’okukozesa ebintu ebiriko zaabu gamumyukidde...

Jangu 220x290

Maama alaajanira omwana we gwe...

ABATUUZE abaakedde ku muyiggo gw’okunoonya omwana wa mutuuze munnaabwe abadde yabula wiiki bbiri, baakubiddwa encukwe...

Kolayo 220x290

Ebizuuse ku babbi be battidde e...

OMU ku babbi abana abattiddwa e Mutundwe abadde muvuzi wa sipensulo era bangi baasoose kumugaanira olw’enneeyisa...