TOP
  • Home
  • Yiiya Ssente
  • Natandika na 20,000/- omwaka oguwedde kati ndi mu kakadde’

Natandika na 20,000/- omwaka oguwedde kati ndi mu kakadde’

By Musasi wa Bukedde

Added 25th May 2016

Omwaka guno nga gutandika, twatandika okukola essigiri 1,000 nga buli emu ya 1,300/- ne tuggyamu 1,300,000/-. Kati nduubirira kubumba ssigiri 5,000 nga muno mbeera nfunamu 6,500,000/-.

Sigiri1 703x422

Nize ng’abumba ssigiri mu kirombe w’akolera.

Bya SAMSON SSEMAKADDE

ABANTU bangi balemererwa okwekolera nga beekwasa obutaba na ntandikwa, wabula Gasto Nize ow’e Ssenge mu disitulikiti y’e Wakiso agamba nti mu August w’omwaka oguwedde, yatandika bizinensi ey’okubumba essigiri ne 20,000/- ze baasonda ne mukazi we.

Anyumya entandikwa ne we batuuse: “Omwaka oguwedde, twatandika bizinensi y’okubumba gye twasooka okulaba e Zzana ne tutandika okunoonya ekifo we tuyinza okuggya ebbumba eddungi kuba si buli bbumba nti likola essigiri.

Mu kutandika twali tetulina bakozi naye ekirungi munnange gwe natandika naye wadde kati yabivaamu, yali amanyi okuzibumba.

Twasima ebbumba nga bwe tulisomba kuba twasooka ne tukola essigiri 100 ze twayokya era ne tuggyamu 130,000/-.

Okutandika bizinensi eno, tetwalina ssente naye twasobola okwesonda 20,000/- ze twawa landiroodi eyatupangisa ekifo we tukolera n’okutuusa kati, wadde kati ekifo tukipangisa 30,000/-.

Oluvannyuma twafuna omukozi ne tutandika okubumba essigiri 250 ng’ono buli ssigiri yali alina kufunako 200/- nga ze 50,000/- okusobola okusikiriza abakozi abalala. Tanuulu mwe tuzookera evaamu 290,000/-.

Olw’okuba nali simanyi bulungi kukola ssigiri, omukozi wange ye yanjigiriza.

Bwe twayiga twasalawo omukozi eyali atuyigiriza okumukendeeza ku ssente tumusasulenga 150/- ku buli ssigiri, kye yagaana n’atweyawulako.

Omwaka guno nga gutandika, twatandika okukola essigiri 1,000 nga buli emu ya 1,300/- ne tuggyamu 1,300,000/-. Kati nduubirira kubumba ssigiri 5,000 nga muno mbeera nfunamu 6,500,000/-.

 bert ugaineyo omu ku bakozi ba ize ngalaga ssigiri eziwedde okwokebwa nokusiba waya bert Tugaineyo, omu ku bakozi ba Nize ng’alaga ssigiri eziwedde okwokebwa n’okusiba waya.

 

ENGERI GY’ADDUKANYA BIZINENSI YE

Nga bw’okimanyi, buli kimu kyetaaga okuba nga kiddukanyizibwa bulungi okusobola okugenda mu maaso, kati nkola embalirira bw’eti:

Asima ebbumba 10/-, alitabula 40/-, okubumba 150/-, waya ze tusiba essigiri 50/-, omusibi 50/-, essigiri ng’ewedde 150/- ssaako n’ebigwa tebiraze 150/-, nga bwe ngatta ze ssente ze mmalira ku sigiri.

Olwo ne mmanya bbeeyi y’okugitunda nfuneko amagoba.

EBB EEYI Y’ESSIGIRI

Bw’oba waakutunda essigiri nga tekuli waya, ebeera ku 700/-, wabula bwe zibaako ebeera ya 900/-. Naye bwe kubaako emmotoka ezitwala mu katale, ebbeeyi esembayo ku ssigiri entono ebeera 1,300/-. Essigiri ennene okugisiba etandikira ku 500/-, okugimaliriza 250/-, eyasima ebbumba n’okubumba 250/-, okwokya 500/- era ebbeeyi kw’etandikira eri 1,500/- wabula bwe zitwalibwa ku katale zitundibwa 4,500/-.

AKATALE

Akatale kasinga kubeera Katwe era abazigula bazitwalira ku 900/- n’entambula ya 100/-. W’azitundira abeera azifunako 200/- buli emu.

Nkozesa abantu bana.

Nnina abakozi bana, ababumba bali babiri era balina okubumba essigiri entono 200 n’okusingawo oba ennene 80 olunaku ne bafuna 30,000/-.

Ababiri abalala bakola gwa kusima bbumba era ensasula esinziira ku bungi bw’asimye.

Erivaamu essigiri 1000, alifunamu 10,000/- olunaku. Mukyala wange, Taciana Namanda naye annyambako mu kukola emirimu gino.

BYE NFUNYE l Natandika n’okukola essigiri 100 mu August w’omwaka oguwedde ku ssente ze twesonda, wabula kati tukola 1,000 ne tuggyamu 1,300,000/-. l Nsobola okulabirira famire yange n’okugibeezaawo. l Nsomesa abaagala okuyiga okubumba essigiri nga basasula 50,000/-.

ESSIGIRI TEZEETAAGA BU KUUMI Ekirungi ekiri ku mulimu guno, tegwetaaga bukuumi, kuba tewali lunaku lwe twali tusanze ssigiri nga zibbiddwa.

Ekirungi kya bizinensi eno, buli lw’okola essigiri osigala ku magoba go kuba essigiri okugimaliriza eggweera wakati wa 650/- ne 700/- n’ogitunda ku 1,300/-.

Buli mmotoka ekika Elf etikka essigiri eziri wakati wa 700 ne 800 okuzitwala mu katale.

EBIRUUBIRIRWA

Essigiri zino njagala kuzongerako mutindo nga nzissaako ebbaati olwo emu ebeera egula 10,000/- n’okusingawo.

OKUSOOMOZEBWA

Enkuba etutawaanya kuba we tukolera watonnya kyokka nga tetulina matundubaali ge tuzibikkisa oluusi ekitukosa.

Omugga Mayanja bwe gusala, emmotoka zo ziba zisobola okutambula wabula bw’oba tonnasima bbumba, kikubeerera kizibu okulifuna okutuusa ng’amazzi gakendedde.

Enku za bbeeyi ng’ate ze twokesa essigiri.

Mmotoka ezitwala essigiri zino mu katale, zituggyako ssente nyingi.

Bw’osima ebbumba oba olina okupangisa wiirubaalo kyokka nazo za bbeeyi kuba olunaku osasula 3,000/-.

Bw’otuuka okwokya essigiri, ziyinza okwonooneka oba okwatika n’ofiirizibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Menya 220x290

Bamuvunaanye okubalaalika ebintu...

ABASUUBUZI mu katale k'e Kitawuluzi e Nalukolongo baatabukidde munnaabwe nti abaloga.

Ali1 220x290

Olutalo lwa Sennyonga ne Yiga balututte...

OMUSUMBA Jackson Sennyonga azzeemu okutabuka ne munne Augustine Yiga n’asalawo okumuzzaayo mu kkooti battunke....

Wano1 220x290

Aba DP e Bukomansimbi beerangidde...

BANNAKIBIINA kya DP beeraahhidde enkwe ezijjudde mu bamu ku bannakibiina kino e Bukomansimbi okuli n’abamu ku bakulembeze...

Sezi1 220x290

Agambibwa okuba omusezi bumukeddeko...

ABATUUZE okuva ku byalo mukaaga okuli; Katovu ,Katovu-Mudaala, Kalegero, Ngango, Kiteredde ne Bitookebisalire ebisangibwa...

Manya 220x290

Omuntu attiddwa mu mivuyo gya LC...

OMUNTU omu afiiridde mu nsonga ezigambibwa okuba ez’ebyobufuzi ate abalala banyiga biwundu mu zooni y’e Lweza B...