TOP

"Embwa kati ye mukama wange"

By Musasi wa Bukedde

Added 15th June 2016

Wasswa agamba nti omwezi atunda embwa eziri wakati wa 70 ne 80 naye ng’obusinga buba buto. “Akatale kali mu bantu abatwetoolodde, be tukolagana nabo abalunda embwa nga beetaaga endyo ennungi.

Yiiya1 703x422

Wasswa ng’alaga ezimu ku mbwa z’alunda.

Bya Shamirah Nabiddo

ENSANGI zino, oyo asobola okuyiiya y’ayinza okutandikawo omulimu oba okufuna mu mulimu gw’akola. Ne John Paul Wasswa, omutuuze w’e Kyengera mu Wakimese zooni, alunda mbwa nga bizinensi era mw’afuna. Embwa azirundira waka, mu kifo kya ffuuti 100 ku 100 mwe yazimba ebiyumba 20 n’abisalamu obusenge mw’azissa.

Olwaleero alina embwa 170 ez’ebika eby’enjawulo mw’aggya ssente.

Entandikwa

Wasswa alina emyaka 47. Mutabani wa Esperito Banada eyali omutuuze w’e Kyengera. Anyumya: Nasoma ne ntuuka mu Yunivasite e Makerere era nfuna diguli y’obusomesa naye emirimu bwe gyambula kwe kuyiiya eky’okukola.

Bwe nalemwa okufuna mu ssomero lya Gavumenti, mu masomero g’obwannannyini gye nasomesanga nga bampa 200,000/- omwezi. Awaka taata yali alunda embwa, naye nga tassaamu ssaayansi.

Bwe natuula ne ndaba ng’akatale k’embwa weekali kuba bangi mu bibuga ne mu byalo baali tebakyazirunda, nze kwe kwemalira ku kuzirunda naye nga nzitaddemu amagezi ag’enjawulo.

Embwa ntandise kuzirunda mu mwaka gwa 2010, gy’emyaka mukaaga naye zimpadde essanyu mu bulamu bwange.

asswa ku kiyumba kyembwa ze Wasswa ku kiyumba ky'embwa ze

 

ENNUNDA Y’EMBWA

Simala galunda buli mbwa, naye ngoberera za lulyo. Awaka nnunda ebika by’embwa 11 naye ekika ekiyitibwa German Shepherd kye kisinga okuleeta ssente kubanga abasinga baziyita mbwa za poliisi.

Eno nnungi mu kukuuma awaka, ento ey’emyezi ebiri n’ekitundu ngitunda wakati w’emitwalo 50 ne 80 ate ekuze egula wakati w’akakadde kamu n’akamu ekitundu. Ku ddundiro lyange, ntunda embwa ezitali ntendeke n’entendeke.

Ezitali ntendeke ziba za ssente ntono ate era kisinziira ku kika. Okugeza ekika kya Boerboel, ebeera n’ettama eddene ate nga nnyimpi naye nga nkambwe, eteri ntendeke egula wakati w’akakadde kamu n’obubiri; naye bwe ngitendeka ebeera mu bukadde butaano. Naye bw’oba oyagala German Sheperd entendeke ezo ozongeramu!

Ebika ebirala bye nnunda mulimu Maltese, Jack Russell Terrier, Rottweiler, pettybull, Greatdane, Chiava, Japanese Spitz, Dobberman, Sheepdog n’ebika ebirala.

Natandika na mitwalo 80, mwe nagula embwa emu ey’ekika kya Boerboel. Eno nagiggya Kenya kukuuma bisolo byange ebyali bibbibwa.

Olw’okuba yali ekola bulungi omulimu, abantu abaagyegomba be bampa amagezi okutandika okuzirunda era okuva olwo siddanga mabega.

 mabega bwe bumu ku buyumba asswa mwalundira embwa ze Emabega bwe bumu ku buyumba, Wasswa mw’alundira embwa ze.

 

Embwa zino ezisinga naziggya South Africa, Kenya n’ebika ebimu bye nafuna wano mu Uganda.

Embwa zino mulimu ezisanyusa awaka, ezikuuma munda mu nnyumba, n’endala enkuumi nga zikoma wabweru. Zino ziseerebwa nnyo kuba era zirina entendeka ya njawulo n’obukodyo bwe tuziwa bwa njawulo.

Naye ng’obubwa obuto bwe businga okukola ssente, kubanga akamu katandikira ku mitwalo 15 okutuuka ku 25 bwe kaba nga ka musaayi mutabule. Bw’oba oyagala ka lulyo olutali lutabule olwo nneeramula.

Embwa zisula mu nnyumba ez’enjawulo wadde nga nzirundira mu kifo kimu; ensajja nzisuza zokka n’enkazi zokka. Ezirinze okubwagula zisula zokka n’obuto bwokka. Kino tukikola okwewala okwetuusaako obulabe.

 eetaaga ekifo embwa we ziddukira Weetaaga ekifo embwa we ziddukira

 

ENDIISA Y’EMBWA

Olugero olugamba nti omwavu tagula mbwa, lutuukira bulungi ku bizinensi eno ey’okuzirunda. Bw’oba tomanyi kuzirabirira ate nga tozissaamu ssente era tojja kufunamu.

Wasswa agamba nti embwa emu enkulu erya emitwalo 20 omwezi, era y’emu ku nsonga lwaki eseerebwa mu kugitunda.

Mu ndiisa ennungi, embwa enkulu erina okulya omulundi gumu olunaku. Naye obuto bwo bulya buli kiseera. Buli luvannyuma lwa ssaawa ssatu nnina okuziteeramu amazzi. Nze embwa ezange zirya wakati w’essaawa 2:00 ne 3:00 ku makya.

Okusobola okukekkereza ku ssente ze nsaasaanya ku mmere, nfuna kontulakiti mu lufula ez’enjawulo, ne nsasulayo ng'emitwalo musanvu ne bampa ebigumba, ennyama ense, enkoko ezifudde n’emmere endala.

Abafumba ku mikolo, ku masomero nabo batuwa ku mmere. Bw’oba ogenze mu supamaketi okugula emmere eyitibwa Bobtail, akasawo aka kkiro ttaano katandikira ku 25,000/- okutuuka ku 60,000/- okusinziira ku kika. Kale bw’oba mu bizinensi eno eyinza okukuzibuwalirwa.

Embwa era tuziwa ebyenda n’emitwe gy’enkoko bye tuggya mu butale. Emmere esinga tugigatta mu buugi bw’embwa. Kano kaba kakuta akaggyibwa ku kasooli akalimu ekiriisa eky’amaanyi, kale embwa egejja era eba n’amaanyi.

AKATALE K’EMBWA

Wasswa agamba nti omwezi atunda embwa eziri wakati wa 70 ne 80 naye ng’obusinga buba buto. “Akatale kali mu bantu abatwetoolodde, be tukolagana nabo abalunda embwa nga beetaaga endyo ennungi.

Wadde mu Uganda tetulya mbwa, waliwo wooteeri ezimu ezizitugulako mu mpolampola, okuziriisa abagwira abangi abali wano!

Abalala abatugulako biba bitongole ebyagala entendeke oba byo ze byetendekera okukuuma ebyamaguzi byabwe,” Wasswa bw’agamba.

OBULABE

Wasswa agamba: Embwa nnungi okulunda naye bw’ozisanga ng’enjala eziruma naawe mukama waazo zisobola okukwefuulira.

Naye nze kino nakirabuukirira, bwe ndaba enkambwe ennyo nsooka kuziwooyawooya na mmere olwo ne nzituukirira. Bw’oba wazimanyiiza kulya ku ssaawa bbiri tosussaamu kuba ziba zijja kukutta.

Embwa zifa nnyo mu kiseera ky’okukuula amannyo, olina okuzirabirira, okuziwa ebigumba kwe zikuulira amannyo oba ebintu ebikaluba.

Ekiseera ekirala zifiira awo nga zizaala kuba embwa zitera okuzaala embuto ezitannakula bulungi.

 mbwa zirina okugemebwa mu biseera byazo Embwa zirina okugemebwa mu biseera byazo

 

ENZIJANJABA

Embwa tutandika okuzigema ku myezi esatu okutuuka ku mwaka gumu nga tuzigema obulwadde bwa Rabies obuzisuula eddalu.

Ento tuzigema obulwadde obuyitibwa Parvovirosis omugwa akafuba n’ebirwadde ebirala. Buno tubugema ku mwezi gumu n’ekitundu. Nga wayise emyezi ebiri, embwa tugikuba cocktail vaccine, evumula endwadde ez’enjawulo omuli ne Hepatisis.

BYE NFUNYEEMU

Embwa nzifunyeemu amaka, emmotoka bbiri omuli ne Benz, mwe mpeeredde abaana bange mu masomero amalungi n’ebirala bingi.

Kye nzizaako kufuna kifo kigazi ngaziye omulimu. Kino kijja kunnyamba mu kuzongerako obungi, okuzitendeka.

Nsaba omuduumizi wa poliisi, Gen. Kale Kayihura okumpa omukisa okumutulendekera embwa za poliisi kikendeeze ku buzzi bw’emisango.

EMIRIMU EMIRALA

Wadde okulunda embwa gwe mulimu ogusinga gwe nkola, naye nnunda n’ebyennyanja, enkoko n’ente. Nnina ekidiba kimu mwe nnundira engege. Nnunda ente musanvu ez’amata n’okulunda enkoko z’ennyama 500 buli kiseera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...