TOP

Yiiya Ssente wa Bukedde atandise

By Herbert Musoke

Added 15th October 2016

ONO Yiiya Ssente agenda kuba musuffu. Buli anaamwetabamu agenda kubaako ky’afuna mu ngeri ye, kubanga tukuleetedde abantu abagwa mu biti eby’enjawulo okusobola okutuuka ku buli muntu.

Bukedde 703x422

ONO Yiiya Ssente agenda kuba musuffu. Buli anaamwetabamu agenda kubaako ky’afuna mu ngeri ye, kubanga tukuleetedde abantu abagwa mu biti eby’enjawulo okusobola okutuuka ku buli muntu.

Ggwe aluubirira okufuuka omugagga ffugge, tukuleetedde Ssaalongo Wilson Mukiibi Muzzang’anda: Mukungu wa Kabaka atwala amasaza asatu okuli Kyaggwe, Buvuma ne Bugerere mu nkola ya Buganda Twezimbe.

Ng’oggyeeko amaka amatiribona g’alina e Lukojjo mu Mukono ku luguudo lw’e Bugerere, Musajja musuubuzi alina amaduuka agasuubuza ebintu eby’enjawulo naddala ebikozesebwa mu maka nga sukaali, sabbuuni, omuceere, omunnyo ne kalonda omulala e Mukono ku luguudo lw’e Bugerere, mu Kikuubo ku dduuka lya ‘Customer the King’.

Ye agenti wa kkampuni ya Mukwano mu disitulikiti y’e Mukono ne Kampala. Alina ekizimbe okuli wooteeri ye eya Muzza Hotel ku lw’e Nabuti mu kibuga Mukono, ekizimbe Muzza ku Nasser Street mu Kampala, emiti gya payini, ssamba ya kasooli, olusuku n’ebirala.

Obutatawaanyizibwa bya musolo nga weekolera ssente zo kuba ggwo olina okuguwa tukuleetedde

Doris Akol: Ono y’akulira ekitongole ky’omusolo mu ggwanga ekya Uganda Revenue Authority.

Yasomera wano mu Nakasero Primary School, Mount Saint Mary’s College Namagunga gye yatuulira S4 n’agenda mu Nabisunsa Girls Secondary School gye yamalira S6.

Yeegatta ku Makerere Yunivasite n’afuna diguli y’amateeka, Bachelor of Laws (LLB) mu 1993. Kafulu mu nkwata ya ssente entuufu anti alina dipuloma mu nkwata ya ssente (Diploma in Financial Management), okuva mu Uganda Management Institute, kuno ate kwe yagatta diguli bbiri mu mateeka (Master of Laws (LLM), emu okuva mu Makerere yunivasite ate endala yagifunira McGill University mu Canada.

Yeegatta ku kitongole kya URA mu 1995 nga munnamateeka wakyo.

Okuva mu 2012 okutuuka mu 2014 yabadde kaminsona w’ebyamateeka mu URA.

Mu October, 2014 yalondebwa okukulira ekitongole kino omulimu gw’akoze obulungi ddala ng’atuuka ku muwi w’omusolo nga mu Kikuubo n’awalala.

Ggwe alowooza nti omusala tegulina kye guyinza kukola era ng’olowooza wakoma tukuleetedde Charles Kabunga omutuuze w’e Kibuye ng’akola mu kitongole ky’omusolo mu ggwanga nga nnampala mu kitongole ekivunaanyizibwa ku bannansi abawi b’omusolo omunene. (Supervisor Large Taxpayers Office Domestic Taxes Department) era nnannyini Makuku Investments (U) Ltd mwaddukanyiza ebintu bye omuli amayumba g’abapangisa e Najjanankumbi, ebizimbe by’akatale ka Makuku Agricultural Center e Nsangi, ettaka, n’ekibira ky’emiti gya kalittunsi ne payini e Mpigi ku yiika 260.

Ggwe eyeenyooma, nti nze ndi mukazi, obufumbo bwannema, nnina abaana, era sirina wentandikira, tukuleetedde Hajat Nuulu Mpungu, omukyala omusuubuzi ow’erinnya ng’amanyiddwa mu kusuubula gomesi za buli kika ng’edduuka lye lisangibwa ku Mukwano Arcade ku Ben Kiwanuka Street mu Kampala.

Mu dduuka lye limu atundiramu ebiteeteeyi by’abagole n’okubasiba, gomesi z’okupangisa ku mikolo n’ebigenderako omuli ebitambaala eby’esibizibwa, obutambaala bw’oku mutwe, ebikooyi, amakanzu ne Shaliya.

Mu ngeri y’emu alina wooteeri ya Banana e Makindye n’ekizimbe kya Mpungu Plaza e Seguku ku mayiro mukaaga ku luguudo lw’e Ntebe ekyatongozebwa Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga gye buvuddeko nga kiriko ofiisi n’amaduuka, ettaka e Kitiko-Mutungo, amaka e Katende, faamu y’ente e Kiboga n’ebirala.

Buli muntu awulira nti asobola okulunda enkoko, kyokka bangi zibalemye, tukuleetedde Ssaalongo Robert Sserwanga alowooza nti buli muntu yandirunze enkoko era buli muntu azisobola okusinziira ku nfuna ye kubanga amanyi omugagga n’omwavu ky’alina okukola okufuna mu nkoko.

Yatendekerwa mu Holland, eggwanga erisinga okulunda enkoko, akozesa ennunda eyaabulijjo ate n’akozesa ne tekinologiya ow’omulembe eri oyo amusobola.

Alina faamu eyitibwa Biwooma e Manyangwa - Gayaza n’e Bulaga ku luguudo lw’e Mityana era dayirekita wa Agrarian Systems Ltd esangibwa e Wakaliga, esomesa mu Yunivasite e Makerere n’ebibiina by’abalunzi n’abalimi n’abantu ssekinnoomu.

Byonna ku Freedom City e Namasuba olwaleero ku Lwomukaaga okutandika ku ssaawa 3:00 ez’oku makya. Jjangu oyige ate obuuze buli ky’oyagala okumanya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kasibante2 220x290

Omubaka Kasibante atereezezza obufumbo...

MOSES Kasibante omubaka wa Lubaga North atereezezza amaka, bw’ayanjuddwa mu kitiibwa ku mukolo ogwetabiddwaako...

Jmcweb 220x290

Kyetume ekutudde JMC Hippos

Kyetume evudde emabega n'ewangula JMC Hippos mu Big League mu ddakiika ezisembayo

Joshuaweb 220x290

Cheptegei ataddewo likodi ng'awangula...

Joshua Cheptegei ataddewo likodi y'ensi yonna empya, ng'awangula kiromita 15 mu misinde gya 2018 NN Seven Hills...

2016manujoseshout1 220x290

Veron ayogedde lwaki ManU evumbeera...

Veron akubye ebituli mu kisanja kya Mourinho mu ManU.

Afcon16 220x290

Olugendo lwa Uganda Cranes okugenda...

Olugendo lwa Uganda Cranes okugenda mu AFCON2018 e Cameroon.