TOP

Mu kusiiga ebifaananyi mwe nfunye ssente

By Musasi wa Bukedde

Added 19th April 2017

Bwe natuuka ku Buganda Road nalinga atuuse mu Ggulu kuba nakizuula ng’okukola fuleemu z’ebifaananyi gwalimu ssente kuba natandika n’okukwata ku 250,000/- mu lunaku lumu.

Siiga1 703x422

Lubinga ng’alaga ebimu ku bifaananyi bye.

Bya Paul Kakande

Buli muvubuka ayingira Kampala ajja n’ekirowoozo kya kufuna mulimu.

Fred Lubinga ow’e Mengo musiizi wa bifaananyi n’okutunda fuleemu mwe biwangibwa.

Anyumya bwe yatandika ne w’atuuse: Bwe natuuka mu P7 seeyongerayo wabula nagenda okuyiga okubajja nga nkyali Masaka gye banzaala okutuuka mu 2006 lwe najja e Kampala ewa mukwano gwange eyangamba okubajja bwe kufuna eno.

Natuukira Mengo awaali ebbajjiro ne bampa omulimu gwe nakola okumala ebbanga kyokka nga kye njagala saakifuna.

Nafuna mukwano gwange eyali akola fuleemu z’ebifaananyi ng’akolera ku Buganda Road n’annyingiza bizinensi eno.

OKUSIIGA EBIFAANANYI

Bwe natuuka ku Buganda Road nalinga atuuse mu Ggulu kuba nakizuula ng’okukola fuleemu z’ebifaananyi gwalimu ssente kuba natandika n’okukwata ku 250,000/- mu lunaku lumu.

Bwe nali ku Buganda Road nalina bakasitoma abangulangako ebintu kyokka abasinga baalinga basiizi ba bifaananyi.

Olw’okuba nalina ekitone ky’okukuba ebifaananyi kyannyanguyira okukwatagana n’abasiizi baabyo ne bayongera okumpa obukugu mu kusiiga n’okukuba ebifaananyi.

Bwe nakuguka, natandika okusiiga ebifaananyi era mu 2012 nasiiga ekifaananyi ne nkiguza aba Ethiopia 500,000/-, wano we nasalirawo okugufuula omulimu.

Nga wayise ekiseera, nava ku Buganda Road ewa mukwano gwange Amuza Makumbi ne nzira ew’omwami omulala mu Kiyembe eyaleetanga fuleemu z’ebifaananyi mu Uganda.

Yampa omulimu gw’okukola fuleemu kuba ebifaananyi bijja si biwange ng’ansasula 500,000/- buli mwezi, wabula ewuwe nasiigirangawo n’ebifaananyi byange.

Mu 2013 nga nkuhhaanyiza ssente okuva mu musaala gwange era nalinawo obukadde 3 ne nsalawo okwetongola.

NTANDIKA OKWEKOZESA

Nasooka kupangisa kayumba e Mengo ku 200,000/- buli mwezi era ne nsasula emyezi esatu, ne ngula n’ekimu ku byuma bye nkozesa ekinnyamba okusala dizayini ez’enjawulo nga nakigula ku 700,000/-.

Ssente ezaasigalawo nazigulamu ebikozesebwa ebirala omuli langi, endabirwamu n’obuti obukola fuleemu ne nsigazaawo 300,000/-.

Embeera mu kusooka yakaluba naye bakasitoma baagenda bammanyiira ne ntandika okufuna emirimu egy’amaanyi. Akatale kange katandikira we nkolera ne kabuna wonna.

EBINNYAMBYE

Bakasitoma bange be bakitunzi bange abasooka kuba buli gwe nguza y’ansindikira omulala.

Okuba omugumiikiriza.

Nfuba okuyiiya ekipya abalala kye batalina kuba kye kitambuza omulimu gwaffe.

Okwebuuza ku bantu ab’enjawulo mu nzirukanya ya bizinensi.

OKUSOOMOOZEBWA

Abantu be tukolera oluusi batuwa emirimu naye ate ne bataginona ng’ate tutaddemu kinene.

Omulimu guno totunda buli lunaku, osobola okumala ennaku 4 nga totunze. Emisolo gitukosa kuba batutwala nga bannamakolero.

EBIRUNGI EBIRIMU

  1. Bye tukola tebyonooneka era tetufiirwa.
  2. Mulimu ogweyogerera kuba bw’oba olina ebifaananyi ebirungi abaguzi bakweyunira.
  3. Omuli guno teguliimu kuvuganya kwa maanyi kuba tuli batono.

BYE NFUNYE

Mu bifaananyi nguzeemu poloti bbiri e Nateete. Guntambuzza mu bifo eby’enjawulo n’okunfunira emikwano n’abagagga mu Kampala era bampa emirimu.

Nkubiriza abavubuka okukola ennyo n’obutanyooma mirimu, ate bw’oba okyakozesebwa beera mugonvu eri mukamaawo ojja kufuna bingi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Soma 220x290

Abatuuze katono batte be balumiriza...

ABATUUZE ku kyalo Kiryamuli mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso bakkakkanye ku basajja babiri abagambibwa...

Panda 220x290

Maneja Kavuma ayagala Abtex amuliyirire...

Olutalo lw’abategesi b’ebivvulu, Musa Kavuma (KT Events) ne Abby Musinguzi amanyiddwa nga Abtex lusituse buto....

Panta 220x290

Gavumenti ereeta amateeka amakakali...

Amateeka gavumenti g’ereeta okulung’amya ensiike y’okuyimba gasattiza abayimbi. Waliwo abatandise okuyomba nga...

Thursday991633393 220x290

Abalenzi baleebezza abawala mu...

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kifulumizza ebyavudde mu bibuuzo bya PLE ebiraze nti...

105190074ibraronepa 220x290

Zlatan acoomedde Ronaldo: 'Tolina...

ABAALIKO ba Sitta ba Man U batabuse omu n’acoomera munne okweyita kafulu nga talina ttiimu nafu mwe yali azannyidde....