TOP

Engeri gy’okamula omubisi ogw’okutunda mu bibala

By Herbert Musoke

Added 19th April 2017

Ssebadduka agamba nti, batendeka abavubuka n’abalimi okukola omubisi mu nnaanansi, amatooke, hibiscus, emicungwa, emiyembe, jaamu w’amapaapaali, ow’ennaanansi, okukaza amatooke, ennaanansi, emiyembe, ebibala ebirala ne wayini.

Juice1 703x422

A bamu ku bammemba ba RUCID nga basengejja omubisi n’akaveera akatukula.

Bya HERBERT MUSOKE

EBIRIME ebirimibwa nga byesigamiziddwa ku butonde bw’ensi (Organic farming) bya ttunzi ku katale k’ensi yonna kyokka mu Uganda abalimi batono ababifunamu olwa Bannayuganda obutabitegeera.

Erisa Ssebadduka ow’e Mityana, agamba nti okulima okwesigamiziddwa ku butonde bw’ensi kwe kusinga obulungi kuba emmere eriibwa tebeera na bulabe bwonna eri bulamu bwa muntu wadde obutonde bw’ensi.

Annyonnyola nti, okulima emmere mu nkola eno kyetaagisa ssente nnyingi ate nga ku katale abantu tebagyawula wadde okugiwa omuwendo ogw’enjawulo ekifiiriza n’okulemesa abalimi abagoberera enkola eno.

Wabula agamba nti, oluvannyuma lw’okulaba embeera eno, nga bayambibwa ekibiina kya PELUM, baatandika okusomesebwa engeri y’okugatta omutindo ku birime era ne beekolamu ekibiina kya Rural Community In Development (RUCID) mu 1994.

Kino kisomesa n’okutendeka abalimi n’abayizi ku mitendera egy’enjawulo mu nnima egoberera obutonde n’okwongerako omutindo era nga mu kiseera kino tulina abalimi abasukka mu 100 be tukolagana nabo.

  ba  nga bategeka ebibala bye bakamulamu omubisi A ba RUCID nga bategeka ebibala bye bakamulamu omubisi.

 

Okwongera omutindo ku birime

Ssebadduka agamba nti, batendeka abavubuka n’abalimi okukola omubisi mu nnaanansi, amatooke, hibiscus, emicungwa, emiyembe, jaamu w’amapaapaali, ow’ennaanansi, okukaza amatooke, ennaanansi, emiyembe, ebibala ebirala ne wayini.

Twateekawo ekkolero erisoboka eri buli muntu kwe tukolera ebintu bino ng’omubisi gwaffe tuguyita RUCIFRESH JUICE.

Ronald Ssentamu, omu ku bakulira ekkolero, agamba nti omubisi gwe bakamula bagoberera sizoni, “Ffe tukola omubisi okuva mu birime ebibeerawo mu kiseera ekyo nga kino tulaba nga kiyamba okukendeeza ekidibo eri abalimi baffe era nga limu ku makubo ge tubalaga ge basobola okuyitamu okukendeeza okufootolwa n’okwongeza ennyingiza yaabwe”.

Emitendera gy’okukola omubisi Gw’ennaanansi

1 Olina kutandika na kusunsula nnaanansi z’ogenda okukozesa oggyemu ezoonoonese, eziriiriddwa ensolo n’ebiwuka n’ezengedde ennyo era ozipime osobole okumanya ekikwetaagisa okugattamu.

2 Zooze emirundi ebiri ng’ogwokubiri okozesa amazzi agookya oziggyeko ettaka n’obucaafu obulala osobole okukola omubisi nga muyonjo.

3 Ziwaateko ebikuta kubanga tusogola kya munda kyokka okuggyamu omubisi era zitemeeteme okwanguya okuzinyiga.

4 Tandika okukamula omubisi guno ng’okozesa akagoye oba akakutiya akayonjo era nga kikola n’okusengejja okusooka. Wabula kyanguwa bw’oba olina ekyuma naddala ku wooda ennene.

5 Fumba omubisi guno okutta obuwuka era wano w’oteekeramu omubisi gw’ekimu ku bibala bino: enniimu, omucungwa, mangada, omubisi gw’enjuki n’ekisubi ebiyamba okussaamu akawoowo n’okukuuma omubisi nga tegwonoonese.

6 Kozesa akuuma akapima obungi bwa ssukaali w’obutonde ali mu mubisi okumanya obungi bwa ssukaali owa bulijjo gw’olina okwongeramu.

7 Ng’omaze okufumba, olina okubeera n’amazzi agafumbiddwa g’ogenda okwongeramu. Liita z’omubisi 100 oziteekamu liita z’amazzi 30. Mu liita z’omubisi 100 mugendamu kkiro za ssukaali ttaano.

8 Oluvannyuma lw’okukakasa nti byonna biwedde okutabula obulungi, tuddamu okusengejja nga tukozesa akagoye akayonjo kuba kabeera n’obutuli butono obutayisa bisejja.

9 Okusengejja bwe kuggwa ng’otandika kusiba mu macupa agasooka nago okwozebwa n’amazzi agookya okukakasa nti mayonjo.

Ogasiba ne cokolo z’oteekako n’akuuma.

Bwe tumala okujjuzaamu omubisi tuddamu ne tugatuuza mu mazzi agookya okuggyako omubisi ogubeera gukulukutiddeko mu kussaamu omubisi ekiyinza okusikiriza obuwuka okuzigwako ne kyonoona omutindo.

Enfuna

Mu liita z’omubisi 100, muvaamu kuleeti 20 nga buli kuleeti egendamu amacupa 20.

Buli ccupa tugitunda 1,000/- ekitegee- za nti kuleeti ya 20,000/-. Wano tubeera tufuna 400,000/- okuva mu liita 100.

Tubalira mu kkiro nga buli gulaamu 750 muvaamu liita y’omubisi emu. Kino kitegeeza nti kikwetaagisa ennaanansi 26 nga buli emu ezitowa kkiro bbiri okufuna liita z’omubisi 70.

Okusinziira ku katale akaliwo mu kiseera kino, ennaanansi ya kkiro ebbiri egula 1,000/- ekitegeeza nti ofuna 260,000/- sso nga bw’okolamu omubisi ofuna 400,000/-.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Namaalwa1 220x290

Omukungu agobye ffamire ye mu muka...

OMUKUNGU wa gavumenti agobye ffamire ye mu maka. Kigambibwa nti agawasirizzaamu omukyala omulala.

Magogo1 220x290

Magogo bw'aba yalya enguzi tadda...

MUNNAMATEEKA Fred Muwema agambye nti emyezi ebiri FIFA gye yasibye Moses Magogo ng'akkirizza omusango gw'okutunda...

Haruna11 220x290

Embaga za ba Celeb; Tukuleetedde...

Ddala kituufu omuyimbi Haruna Mubiru awasa balinawo?

Rolex0 220x290

Ab'e Jinja beesunga kivvulu kya...

Omanyi ekivvulu kino kye kimu ku bisinga okukwatayo mu ggwanga wabula 'Abeyidinda' baludde nga beemulugunya lwaki...

2 220x290

Aba KCCA babakuutidde okuba abalambulukufu...

Abakozi b’ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuteekerateekera ekibuga Kampala ekya KCCA bakubiriziddwa okubeera abalambulukufu...