TOP

Yiga bwe bakola ssabbuuni ow’amazzi ofune kiralu

By Musasi wa Bukedde

Added 17th May 2017

Yiga bwe bakola ssabbuuni ow’amazzi ofune kiralu

Fo1 703x422

Ssekasamba ng’akenenula ssabbuuni gw’amaze okukola.

emyaka ebiri e Nairobi gye yayigira okukola ssabbuuni ow’amazzi n’ebintu ebirala bingi. Bwe yakomawo mu Uganda mu 2016 yatandikawo kkampumbi ya Labamba School of Beauty e Nateete n’e Namungoona. Akulagirira bwe bakola ssabbuuni ow’amazzi.

Bye weetaaga okukola ekidomola kya ssabbuuni w'amazzi; lOmulawo omuwanvu lBaketi ennene eya liita 20 n'ekidomola n’amazzi, lWeetaaga okubeera ne giraavu (enkampa) kubanga ebirungo ebimu ebikola ssabbuuni byokya.

Ebirungo bye weetaaga lUngalo kkiro emu – 1100/- lEkirungo ekikuuma ssabbuuni obutayononeka (Preservative) , mmiiru ttaano – 300/- lUfacid, ½ kg – 4250/- lCaustic soda – 3gms – 400/- lOmunnyo (sodiumm chloride) – kkiro bbiri – 2400/- lAkawoowo – 300/- lAmazzi , liita 20 – 500/- lLangi – 300/- 1. Leeta baketi ogiteekemu liita z'amazzi 18 otabulemu Ungalo n'oluvannyuma omunyige mpolampola amerengukire mu mazzi bulungi.

Ungalo ayamba okukola ekyovu mu ssabuuni okusobozesa okutukuza ky’ogenda okwoza.

2. Tabulamu ekirungo kya "ufacide ne caustic soda" obitabule mu mazzi n'omulawo mpolampola okutuusa lwe bimerengukiramu. Bino biyamba okucamula ebintu n'okuzitoya ssabbuuni era buli kimu kiyamba okukendeeza amaanyi ga kinnaakyo. Wabula ebirungo bino asidi yennyini era bw’omala okutabulamu, toddamu kukwatamu kubanga byokya.

3. Ebirungo ebisigaddewo, biteekemu kimu ku kimu omuli omunnyo, ‘preservative’, langi n'akawoowo nga bw’obitabulamu okusobola okumerengukiramu obulungi.

Wabula ekipimo kwa langi n'akawoowo by’okozesa businziira ku bw’oyagala ssabbuuni wo afaanane. Mu ngeri y'emu, teekamu amazzi agasigaddewo nga bw’opima obuzito bwa ssabbuuni.

4. Ssabuuni w’atuukira ku mutendera guno abeera awedde okukolebwa. Muteeke ku manbali okumala essaawa nnya ku mukaaga kisobozese ekyovu okuggwaako olyoke omuteeke mu budomola mw’olina okumutundira.

Engeri gy’ofuna mu ssabbuuni Ssekasamba annyonnyola nti ekidomola kya ssabbuuni w'amazzi we kituukira wano oyinza okukisaasaanyaako wakati wa 18,000/- ne 20,000/- era okumufunamu obulungi, oyinza okumwawulamu mu bipimo ebisaamusaamu okusobozesa buli muntu okumugula.

Liita emu ngitunda 4,000/- kubanga ssabbuuni wange muzito nnyo wabula ng'osobola okumutundira wakati wa 2,500/- ne 4,000/- okusinziira ku bulungi bw’alina. Liita bbiri yza 8,000/- ate ng'ekidomola kiri wakati wa 45,000/- ne 40,000/- Omulimu guno mwangu okuyiga ate ng'osobola okukolera mu kifo ekifunda ng'awaka wo , mu nnyumba, mu luggya oba ku kabalaza .

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Benitez22 220x290

Benitez munyiivu olwa Newcastle...

Newcastle yeggyeeko omutendesi Benitez oluvannyuma lw'endagaano ye okuggwaako.

Oketchinstructinghisstudentswebuse 220x290

Oketch obwavu abugobye na kukola...

Mu kukola fulasika z'embaawo mwe nfuna ssente

Wanikaamaguluwebuse11 220x290

Bw'oyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa...

By'olina okukola okuyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa wa musawo okumutaasa obuzibu obuyinza okumutuukako

Lan1 220x290

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero...

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero mu Badminton

Gr2 220x290

Abagambibwa okutta owa Mobile Money...

Abagambibwa okutta owa Mobile Money babazizza e Zzana