TOP
  • Home
  • Yiiya Ssente
  • Saluuni nagitandisa ‘poketi mmane’ gwe bampanga nga nsoma

Saluuni nagitandisa ‘poketi mmane’ gwe bampanga nga nsoma

By Musasi wa Bukedde

Added 9th August 2017

EBBULA ly’emirimu terikosezza bakulu bokka wabula n’abato naddala abawala bakwatiddwaako ekibaleetedde okubaako kye bakola okweyimirizaawo.

Mitinah1 703x422

Mitinah ng’asala omwana enviiri.

Bya BENADINO KATE  

EBBULA ly’emirimu terikosezza  bakulu bokka wabula n’abato  naddala abawala bakwatiddwaako  ekibaleetedde okubaako kye  bakola okweyimirizaawo.  

Mitinah Lukwago, 27, ow’e  Ssenge mu disitulikiti ya Wakiso  mukozi wa nviiri era kinyoozi ate  nnannyini saluuni ya Princess  Unisex Salon e Ssenge.

Agamba  nti, omulimu gwe agufunyeemu  era buli kimu ky’alina akiggye mu  nviiri.  

Yannyonnyodde bw’addukanya  bizinensi.  Nnina dipulooma mu  by’okusiiga ebifaananyi ku Buganda  Royal Institute e Mengo,  wabula wadde bino bye nakugukamu  nanyumirwa nnyo abasiba  enviiri era bwe namaliriza okusoma  ne nsalawo okukuguka mu  kuyooyoota abantu enviiri.  

 itinah ukwago ku kkono ngayooyoota enjala za kasitoma Mitinah Lukwago (ku kkono) ng’ayooyoota enjala za kasitoma.

 

Bazadde bange bampanga  ssente ez’okukozesa nga nsoma  era nga nterekako kuba nayagala  okukola saluuni eyange nga  mmaze okusoma.  

Nagulangayo ebikozesebwa mu  saluuni mpolampola nga ku bino  kwaliko obutebe bwa pulasitiika,  ekyuma ekikaza enviiri, endabirwamu  n’obuntu obulala obutonotono  era nagenda okumaliriza  nga bimmazeeko 500,000/-.

 NTANDIKA SALUUNI  

Bwe nnamaliriza okusoma nafuna  ennyumba e Kabuusu ng’omwezi  nsasula 200,000/- era bansasuza  emyezi mukaaga egisooka.  

Olw’okuba saalina ssente zonna  nakwatagana ne mukwano  gwange eyaleetako ezimu ne  tutandika okukola kuba ebyuma  ebitandikirwako nabirina.  

Twamala emyezi ebiri nga  tufuna bakasitoma batono ddala  ate nga tebadda era mukwano  gwange yandeka ne nsigalawo  nzekka era nange mu myezi ena  nalemererwa.  

Obuzibu nakizuula nga bwali  bwa butabeera na bumanyirivu  n’enkwata ya bakasitoma.

Nanoonya omulimu mu Kampala  ne bankozesa era namalayo emyezi  esatu ne nkoowa okukozesebwa  kuba buli kimu nali nkiyize.  

Ekyasinga okumpaliriza okuva  mu by’okukozesebwa nasasulwanga  ssente ezitamanyiddwa  kuba kyasinziiranga ku bantu be  nkozeeko.

Nagenda okulaba nga  ssente teziwera ate nga nyinyuka  kiro nga sifuna budde bukola  birala.  

NGULA SALUUNI  

Namala emyezi etaano nga sikola  era awo we nafumbirirwa era  wano we nagabanira ku bintu bya  kitaffe bye yatulekera ne nfuna  10,000,000/-.

Obutaano bwanfaako  bwe nagula poloti ey’empewo  kyokka nafuna bwe ngiddiza eyaginguza  ne tubalagana ng’anfunidde  saluuni.  

Nasooka ne nkola nga sirina bakozi  nga neesalira enviiri n’okusiba  naye bwe nagenda ntereera ne  nfuna abakozi abannyambako era  ne nyongerako okusiiga enjala nga  ne mu kiseera kino nsala enviiri,  nsiba n’okusosola abantu enjala.  

Kino nkikola okulaga abakozi  bange nti siri wa njawulo nabo era  kinnyambako ku baana okukola  nga baagala kuba tukolera wamu.  

ENNYINGIZA  

Nga naakagula saluuni eno, nali  nyingiza 30,000/- ekinene ennyo  olunaku mu wiiki nga nfuna  150,000/-, naye mu kiseera kino  olunaku bwe luba luntambulidde  bubi nyingiza ezisoba mu 50,000/-  ate bwe lunnamidde nfuna  200,000/-.  

Abakozi basatu be nnina  mbasasula buli lunaku okusinziira  ku nyingiza bw’efaananye.

Nsasula  ez’obupangisa 300,000/- buli  mwezi naye era nfuna amagoba  ageegasa.  

EBIRUNGI BYE NFUNYE  

1 Omulimu guno ngufunyeemu  emikwano egy’omugaso nga ne mu  buzibu bannyamba.

2 Njize enzirukanya ya bizinensi.  

3 Nsobola okwerabirira n’abaana  bange, baze ne bwatabaawo amaka  ngaddukanya.  

4 Nzimbye amayumba  g’abapangisa e Katooke naye nga  ssente nziggye mu saluuni.  

OKUSOOMOOZEBWA  

1 Ebiseera ebimu abakozi babulawo  n’ebintu byange ne ngula buto  ebirala ekinfiiriza.  

2 Bakasitoma abamu bajja  okugezesa emisono egitasoboka  gye balaba ku mikutu  gy’empuliziganya egimu bwe  gigaana nga bayomba.

3 Abantu abamu batuvumaganya  lwa butamanya kukola mulimu  guno bulungi.  

4 Obutawuliriza bakulu bye bah−  hamba mu kusooka kyanziza nnyo  emabega.  

5 Emiwendo gy’ebikozesebwa  ng’obuviiri, spirit n’ebirala gikyukakyuka  buli kiseera ate nga bakasitoma  toyinza kubongeza kuba  tobabuulira ebyo.  

6 Omulimu guno gukooya kuba  tusiiba tuyimiridde ate nga ne  bakasitoma abamu tebaagala kusasula  kyokka nga baagala ebintu  ebirungi.  

EBINKUUMIDDE MU MULIMU

  Omuntu okwagala omulimu  kikulu era bw’otokikola nga  gukulemye.

 Enkwata y’abakozi nakyo  kikulu kuba ye ndabirwamu ya bizinensi yo.  

Buli luvannyuma lwa  mwezi ntuula wansi ne nkola  embalirira ku bibeera bikoleddwa  era ne nkwanaganya omwezi  ogwo n’ogwayita okulaba  oba ntambula mubizinensi  oba nzira mabega.  

Teri mukozi ansooka  ku mulimu, kuba omulimu  gwange.  

Ne bwe nfuna okusoomoozebwa  okw’amaanyi nsigala ntambuza  emirimu kuba nkimanyi  nti mu kufuna mubaamu  n’okufiirwa era situnuulira  kufuna kwokka wabula  nkimanyi bulungi nti nsobola  n’okufiirwa era embeera eno  ngisanze emirundi mingi naye  nga nnemerako.  

Buli lwe ntambulako,  nkoppa ebintu bye sirina mu  saluuni yange ne nyongera ku  mutindo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kwata3 220x290

Olukung'aana lwa 'Togikwatako'...

Olukung'aana lwa 'Togikwatako' e Kasubi luggweeredde mu mayinja na masasi

Batle 220x290

Morocco y'egenda okutegeka eza...

AKAKIIKO k’ebigwa bitaraze mu CAF ekibiina ekiddukanya omupiira ku lukalu lwa Africa nga kakubirizibwa ssentebe...

Nuwagaba 220x290

Omuwanika wa Olympics Committee...

Munnabyamizannyo abadde omuwanika mu bitongole by’emizannyo n’amasomero, Godfrey Nuwagaba afudde kibwatukira amakya...

Huda1 220x290

Ggoolokipa bamutomedde ku kisaawe...

GGOOLOKIPA wa Persela, Choirul Huda afiridde ku myaka 38 oluvannyuma lw’okutomeragana ne bazannyi banne ng’ataasa...

Manya 220x290

Ying. alumirizza abajaasi okumusaba...

YINGINIYA mu minisitule y'ebyokwerinda alumirizza abakulira ettendekero ly'amagye okumusaba enguzi asobole okuweebwa...