TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Omukuumi w’awaka ayiiyizza eggaali etambulira ku mazzi

Omukuumi w’awaka ayiiyizza eggaali etambulira ku mazzi

By Musasi wa Bukedde

Added 16th August 2017

OKUYITA mu mbeera y’ebyenfuna ekaluba buli lukya, omuntu yenna akubirizibwa okuyiiya okulaba ng’abaako ky’akola okuvuganya n’abalala asobole okuyingiza ssente.

Gali0 703x422

Simon Waato ng’asotta akagaali ku mazzi.

Omu ku bantu abavuddeyo okuyiiya ebintu eby’enjawulo ye Simon waato 27, ow’e Bweyogerere mu Bbuto.

Yannyonnyodde ku ngeri gy’azze ayiiya ebintu eby’enjawulo okuli okukola obujaketi obukozesebwa mu kutangira omuntu okubbira, akade ka alamu kw’azzizza akagaali akatambulira ku mazzi.

“Nayagala nnyo okukanika leediyo n’eggaali era mikwano gyange babeeranga bazannya nze nga nkanika buleediyo bwe nalondanga mu kkubo.

Kino saakikomya, ne bwe nalemererwa okumalako okusoma nagenda mu maaso n’okufuna ebintu eby’enjawulo nga mbikanika n’okubikola okutuusa lwe nkoze akagaali akatambulira ku mazzi.

Nazaalibwa Busia era nasomako okutuuka mu S4 ne nnoonya emirimu.

Mukwano gwange, Tom Nangira yampa amagezi okujja mu kibuga era natuukira Bweyogerere ne nfuna omulimu gw’okukuuma awaka kati emyaka etaano ate nkyakola, wabula kino tekihhaana kuyiiya.

NJIIYA EGGAALI

Eggaali gye nakoze etwala omuntu omu abeera agituddeko era agivuga agisotta, bw’aba akooye asobola okulinnya ku bbaati eryateekeddwaako wansi waayo.

Wabula nsuubira okukolayo eggaali ng’etwala abantu abassukka mu babiri, wabula bano balina okuba nga batuula wansi ku bbaati ate ng’omu ali waggulu avuga.

ENZIMBA Y’EGGAALI

Mu Uganda tulina ebidduka ebitambulira ku mazzi okuli emmeeri, amaato ebidyeri n’ebirala.

Nalinga nneebuuza oba eggaali esobola okutambulira ku mazzi nga ndaba tekisoboka, naye olw’okuba nnali musajja muyiiya, natandika okuyiiya engeri gye nsobola okukolamu eggaali n’etambulira ku mazzi.

Natandika ku kirooto kyange mu 2015 era ngikoledde emyaka ebiri. Nasooka kugezesa bikozesebwa era natandikira ku bidomola engeri gye nali nabikozesaako okuwuga mu kyalo.

 aato ngalaga bwakola akayita ku mazzi Waato ng’alaga bw’akola akayita ku mazzi.

Nagenda ku bookya ebyuma n’akagaali kange aka ‘changer’ ne bakookerako ebidomola wabula bwe nakatwala ku nnyanja kaali tekasobola kutambula bulungi, era bwe nava awo ne ntandika okunoonyereza ku bintu ebirala.

Nazuula nga sipongi akozesebwa mu firiigi akaluba ate nga tasobola kubbira ne ndaba ng’eggaali yange esobola okumukozesa.

Nagula sipongi omunene ku 150,000/- ne mmusalamu ne nfuna eggaali ne ngituuzaako ne nfuna ebipimo ebisobola okutambulira ku nnyanja nga bisobola okuwanirira omuntu era nneebuuza ku bantu ababeera ennyo ku nnyanja, era napima ffuuti mukaaga ku ttaano (6x5ft).

Nafuna ebbaati ly’emmotoka ne nditeeka kungulu ne mpima ffuuti mukaaga ku ttaano era naligula 300,000/-.

Ku bbaati lino eggaali kw’eyokebwa wabula wansi wasibwawo akatayimbwa akakola nga siteeringi.

Nafuna payipu ezitambuza amazzi mu nnyumba ne mu binaabiro era nagigula 32,000/- ne nzibikira emiwaatwa egirimu ne sseminti wa n’ebintu bya pulasitiiki naddala sapatu.

Nakozesa payipu ssatu ne nteeka ku mabbali era nagula emitayimbwa 4 gye nakozesa okwokera ku bbaati n’emisumaali ne ngatta sipongi.

Okukola ekiwujjo nagula olupanka lw’eggaali ne nteekako obutayimbwa ne njokyayo n’obubaati ne byongera ku kiwujjo ekinnyambako okukuba amazzi eggaali n’esobola okutambula.

NATANDIKIRA KU BUJAKETI

Nali ndaba ng’Abazungu bakola obujaketi obwabwe obukozesebwa ku nnyanja ne nfuna ekirowoozo ky’okubukola.

Nga tukyali baana bato twazannyisanga ebidomola ne tubikozesa okuwuga mu bidiba era bwe najjukira ekyo nayagala nkozese ebidomola mbikolemu ekintu omuntu ky’asobola okwambala n’atabbira ng’agudde mu mazzi wabula nga ndaba ekidomola kibeera kinene ne nkivaako.

Nagenda mu maaso n’okuyiiya nga njagala okukozesa ebintu ebitono ebibeeramu amazzi ne nfuna akacupa k’amazzi ne nkasaanikira bulungi ne nkateeka mu mazzi ne ndaba nga tekasobola kubbira ne nsalawo nkozese obucupa okuyiiya ekintu omuntu ky’asobola okukozesa okuwuga n’atabbira.

 ano ngalaga sipongi gyasibako ebidomola nebirala byakozesa Wano ng’alaga sipongi gy’asibako, ebidomola n’ebirala by’akozesa

 

Nalowooza engeri gye nsobola okupanga obucupa buno bwokka omuntu ng’asobola okubwambala n’awuga n’atabbira. Bwe nalaba tekisoboka kwambala bucupa ne njiiya ne ngula amaliba ne ngatungirako.

ENGERI GYE NAKOLA OBUJAKETI

Nkozesa obucupa 12 emabega, mu maaso obucupa mukaaga ne mbutungira mu maliba aga mmita 2 era nkozesa ekyalaani ne batungamu dizayini omuntu gy’asobola okwambala.

Amaliba agakola akajaketi akamu nkagula 24,000/- ate obucupa mbulonda mu makubo n’ow’ekyalaani ne mmusasula 3,000/- okutunga buli kamu.

Nnaakakolayo obujaketi 6 wabula omuntu yenna bw’aba ayagala okugula akajaketi kano nkatunda 80,000/-.

AKADE AKALABULA KU MMOTOKA

Nakozesa waya ne kkaadi y’essimu ne ‘flasher’ y’emmotoka ne mbigatta ne nkola akade akalabula.

Mu mmotoka eba ekolera ku bbaatule, era bw’ogiteekako omuntu yenna bw’akwata ku mmotoka yo essimu yo etandika okwekuba ne bw’oba oli wabweru wa ggwanga.

Alamu nnaakakolako emu kuba nali sirina ssente zikola ndala era nagiteeka mu mmotoka ya mukwano gwange.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ka1 220x290

Carol Nantongo bamukoledde akabaga...

Omuyimbi Carol Nantongo bamusuddeko akabaga k'amazaalibwa n'akaaba olw'essanyu.

Bak1 220x290

Omukazi afiiridde mu dduuka lye...

Omukazi afiiridde mu dduuka lye

Kab2 220x290

Museveni atongozza okugaba bbasalee...

Museveni atongozza okugaba bbasalee Bunyoro

Tum2 220x290

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera...

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera ku kuggala Banka

Rem2 220x290

Bawambye omuwala mu Kampala ne...

Bawambye omuwala mu Kampala ne bamutta