TOP

Baza sizoni ofune ssente mu buli ky’otunda

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd November 2017

Nze natandika okutegeka engoye za bakasitoma ku ntandikwa y’omwezi guno kuba nkimanyi kye kiseera abantu mwe bakolera emikolo. Ng’omwaka tegunnaggwaako.

Sizoni1 703x422

Mayanja ng’ali mu kutunga engoye mu dduuka lye.

Bya H. MUSOKE NE J. ZZIWA

OMUKISA gusanga yeetegese! Enjogera eno etambulira ku bantu abafuna ssente mu nnaku enkulu, nga kye basoose okukola kwe kutegeka ebyo ebitambula mu nnaku zino ne balyoka babiyoolamu omudidi.

Eno emu ku sizoni abasuubuzi gye basinga okwetegekera, naye ate abamu bamanyi okugiyitamu nga bakaaba, wabula omutawaana we guva buteetegeka n’okumanya ekyo abantu kye baagala ekijja okutambula.

Ssekukkulu n’olusooka omwaka sizoni abantu abakola bizinensi ez’enjawulo mwe basinga okufunira abaguzi kubanga bangi babeera mu keetalo nga bagula ebintu eby’enjawulo omuli eby’okwambala, okwewunda, okulya n’ebirala.

Naye ekibuuzo kisigala kiri nti, naawe oli mwetegefu okuzeefunirako?

Denis Kayemba owa Fashion Statement ku Majestic Plaza ng’atunda engatto n’engoye, agamba nti, abasuubuzi abalina amaduuka mu bizimbe, mu nnaku enkulu bakasitoma beeyongera kuba n’abantu abakola mu ofiisi abatatera kuba na budde mu biseera bino babufuna ne bajja okutuwagira.

Okufuna mu sizoni, olina okumanya ebintu ebitambula noolyoka osuubula nga tukubye bbali.

Okugeza ku bantu abatunda engoye mu sizoni eno mubaamu obubaga bungi obw’engoye enjeru n’emmyuufu, kitegeeza engoye eza langi zino n’emisono egiriko olina okuba nazo.

Bizinensi ezikola kati

Ebiseera by’ennaku enkulu

1.Okusala enviiri n’okuzisiba

2.Okutunda emmere n’ebyokulya ebirala

3.Eby’okwambala okuli engoye n’engatto

4.Abatunda enkoko 6Abatunda eby’abagole n’ebikozesebwa m kwanjula, abantu bakola emikolo mu nnaku zino.

5.Bangi kati bakubirira amayumba okulya sekukkulu nga bayingidde, abatunda ebizisimbwa bizinensi zitambula.

6.Mu biseera bino abakola ku kuweereza ssente nabo baba ku mudido, kuba abantu bava mubitundu eby’enjawulo okujja mu kibuga okusuubula, wabula tebaagala kutambula na ssente kye bava bazitambuliza ku massimu.

Ate bezigaanyi okumala nga bagula ebintu batumya ne babasindikira endala. Ekikwetaagisa kwe kulowooleza bizinensi yo, okugiwa obudde, okugyagala ssaako okukwata obulungi bakasitoma, ate kkiriza okukyusa okusinziira ku mbeera ya bizinensi.

Okwongera mu kapito Godfrey Kawombe omusuubuzi w’amatooke, obummonde n’emmere endala ku Kaleerwe: Emmere kimu ku bisinga okutunda mu sizoni ya Ssekukkulu n’okuyingira omwaka kuba buli omu ayagala okulya obulungi.

Mu kiseera kino buli musuubuzi alina okunoonya engeri gy’afunamu ssente okwongera ku bungi bw’emmere gy’aleeta era ejja kutambula.

Abadde asuubula enkota z’amatooke 50 dda ku 100, ow’enkoko naye alina okwongerako, ab’ente n’ebyokulya ebirala, kyokka jjukira okukuuma omutindo.

Omuntu ng’osuubula emmere katugeze amatooke, mu kiseera kino nkusuubira okuba ng’omanyi ensuku gy’ogenda okutema emmere, kabekasinge nga wamuwadde ne ku ssente nga olinze lunaku kutuuka.

Weetegekeere buli sizoni Dorah Matovu, omusuubuzi w’endibota z’engatto enkadde ku Bukoola mu Kampala, Endibota ebeeramu engatto ez’enjawulo.

Buli sizoni nneetegekera mu ngeri ya njawulo. Buli ndibota gye nsala mu biseera bino nzigyamu engatto ennungi ddala ne nzitereka, ne nninda January okutuuka mu February okuzitunda ng’abaana badda ku masomero ate bajja kuba bazinoonya.

Kino kitegeeza okuzitundira wano ate mba nfiirwa, kati ez’abaana nziggyamu ne nzitereka nga bwe mbaza sizoni y’abaana nga banaatera okudda ku massomero.

Sulaiman Kato asala endibota mu katale ka St. Balikuddembe (Owino), ekintu kye kimu kikola ne ku asala endibota z’engoye oba ensawo z’abaana ze bakozesa nga badda ku masomero.

Mu biseera ky’okudda ku massomero, emijoozi gya langi omuli bbulu, kiragala, emmyuufu, kyenvu gibeera gya ttunzi.

Ng’oggyeeko okwetegekera abayizi, engoye z’abakulu naddala abakyala nazo osobola okuzeetegekera gamba ez’obubaga kuba mu biseera by’okutikkira abayizi mu December ne February okwo gattako embaga n’okwanjula aba gomesi n’amakanzu nabo bakola.

Agamba nti kino kikuyamba okufuna ssente ng’otaddemu kitono kuba mu nnaku nga zino abaguzi we babeerera abangi kibeera kikwetaagisa okwongeramu amaanyi mu bizinensi yo okusobola okuvuganya n’okubeera n’emmaali y’omulembe ate ng’oluusi oyinza obutabeera na ssente zino.

Brian Mayanja owa Good Hope ku Eagle Plaza ng’atunga ngoye z’abagole; Ng’emirimu emirala egifuna mu nnaku enkulu, naffe abatunga engoye tubeera n’emirimu mingi ate nga tulina okutuukiriza obwetaavu bwa bakasitoma baffe.

Nze natandika okutegeka engoye za bakasitoma ku ntandikwa y’omwezi guno kuba nkimanyi kye kiseera abantu mwe bakolera emikolo. Ng’omwaka tegunnaggwaako.

Mu kiseera kino sijjumbira kupangisa bagole ngoye, kuba ate osobola okufiirizibwa ssente, ntunga n’engoye ebika ebirala kuba sizoni y’abagole ssinga tekola bulungi ate mba nsobola okubbulukukira awalala.

Mu sizoni y’embaga bizinensi endala eko ezifuna za mmotoka eziwerekera abagole. Nyiriza mmotoka yo ogitwale we bazipangisiza.

Ebifaananyi n’okukwata vidiyo nabyo bifuna. Ebimuli, ebyekwewunda n’ebisanyusa ebitali bimu okwo gattako bizinensi y’okufumba, abatimbi n’abalina ebifo ebitegekerwamu emikolo gattako abakuba ebidongo nabo babeera ku mudido.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hab2 220x290

Omuwendo gw'abatalina kabuyonjo...

Omuwendo gw'abatalina kabuyonjo gwelarikirizza abakulembeze mu Lwengo

Kib2 220x290

Akulira ensonga z'amaka e Matugga...

Akulira ensonga z'amaka e Matugga yennyamidde olw'obutabanguko mu maka

Kas1 220x290

Omutaka Kasirye Kyaddondo alabudde...

Omutaka Kasirye Kyaddondo alabudde abalwanira obukulembeze mu bika

Ko1 220x290

Leero kkooti lw'esalawo oba abali...

Leero kkooti lw'esalawo oba abali ku gw'okutta Suzan Magara basindikibwa mu kkooti enkulu

Lev1 220x290

Omuyimbi Abel Chungu Musuka mutaka...

Omuyimbi Abel Chungu Musuka okuva e Zambia ali mu ggwanga.