TOP

Ebikajjo mbikolamu omubisi ne nfuna

By Musasi wa Bukedde

Added 14th February 2018

Yagambye nti, buli mwezi akola 900,000/- ng’omusaala gwe yeesasula mu kutunda omubisi gw’ebikajjo era ssente z’akola zimuyamba okwerabirira n’okusasulira obupangisa ku mulimu ne gy’asula.

Bikajjo1 703x422

Kal ule ng’akamula omubisi mu bikajjo.

           

Bya JOANITA NANGONZI 

Umar Kalule wa myaka 21 era  mutuuze w’e Salaama - Munyonyo.  Omulimu gwe gwa kukamula  mubisi mu bibala naddala ebikajjo  n’aguguza abantu mu Kampala. 

Yagambye nti, buli mwezi  akola 900,000/- ng’omusaala  gwe yeesasula mu kutunda  omubisi gw’ebikajjo era ssente  z’akola zimuyamba okwerabirira  n’okusasulira obupangisa ku mulimu  ne gy’asula.

Annyonnyodde  bw’akoze bizinensi ye n’afunamu: 

NFUNA EKIROWOOZO 

“Bwe namaliriza S.4 mu 2016  natandika okuyiiya ensimbi  ezimbeezaawo ng’omuvubuka  mpozzi n’okweyongerayo okusoma  kubanga amaka mwe nva  embeera yali ya kweyiiya. 

Maama yali atunda sumbuusa  e Mityana era namuyambangako  okuzitambuza. 

 alule ngalaga akaloddo nako kakola mu bikajjo Kalule ng’alaga akaloddo nako k’akola mu bikajjo.

 

Bwe natambuzanga sumbuusa  za maama nakolayo 150,000/- ze  nateresa maama mu 2017 ne nzija  e Kampala ntandike okutambuza  ebyokulya. 

Ebyokulya nabitambuzaako  omwezi gumu mukwano gwange  Ahmed Ssentamu eyali atambula  ennyo mu nsi ez’enjawulo okuli  Dubai, India, Kenya ne Tanzania  n’ampa amagezi ngule ekyuma  ekikamula omubisi mu bikajjo  kye yali yalabako e Dubai nga  kigulwa 1,500,000/- nange ekirowoozo  ne nkisiima. 

Nali ntereseewo ssente zange  kwe nayongereza endala ne  nzimuwa n’akinguliza n’anjigiriza  n’okukikozesa. 

Nanoonya we nkolera okutuusa  lwe nafuna ekifo ku kizimbe kya  Paaka enkadde ne nteesa ne be  nasanga bakolerawo era ne tukkaanya  nga buli mwezi nsasula  200,000/-.  Natandika okukola omwaka  oguwedde mu mwezi ogwokubiri  wabula bwe natandika abantu  baatandikirawo okungulako nga  buli lunaku beeyongera.

  Abantu abangulangako bampa  amagezi okugattamu entangawuzi  basobole okuwoomerwa  n’emicungwa era ne ntandika  okubigattamu era kino kyannyamba  okulinnyisa omuwendo  gw’abaguzi nga kati olunaku nsobola  okuweza abantu abali wakati  wa 50 ne 70. 

OMUBISI GW’EBIKAJJO GUFUNA 

Nsuubula ebikajjo bya nnaku  bbiri era mbigula Kawempe ku  100,000/-. Olunaku nga lutambudde  bulungi nsobola okukola  wakati wa 90,000/- ne 120,000/-.  Ku 90,000 ze nkola olunaku  nterekako 30,000/- ne nkozesaako  entambula yange n’abakozi babiri  ya 9,000/- ne tulyako 10,000/-,  2,000/- ezitambuza ebikajjo okuva  e Kawempe okutuuka we nkolera. 

Nsigazaawo 49,000/- ze ntereka  ne nnyongerezaako ne nsuubula  ebikajjo ebirala.  Ku ssente ze nkola omwezi  nzitemaatema ne nzigyako  200,000/- ze nsasulako ekifo we  nkolera, 300,000/- ne nsasulako  ennyumba, 100,000/- ne nsasulako  omukozi nange ne nterekako  300,000/-. 

Omubisi ngutundira mu macupa  nga ssente ezigagula nzitoola  ku za buli lunaku eziba ziyiseemu  kubanga sibugula buli lunaku.  Nsuubula obucupa 160 ku  44,800/- ne bukola ennaku ssatu. 

ZE NTUNDA 

Omubisi gwe mpakira mu kacupa  ngutunda 2,000/-.  Omubisi gwe mpakira mu bukebe  ngutunda 1,000/-. 

 alule ngalembeja omubisi gwebikajjo gwamaze okukamula Kalule ng’alembeja omubisi gw’ebikajjo gw’amaze okukamula.

 

ENKAMULA Y’OMUBISI GW’EBIKAJJO 

Nnaaba engalo ne sabbuuni ne zitukula,  olwo ne ntemaatema ebikajjo  ne mbyoza bulungi mu mazzi amafumbe  ne bivaako obucaafu. 

Bwe mmaliriza, ekikajjo nkisalamu  emirundi ebiri wakati ne nteekawo  entangawuzi, nteeka ekikajjo mu  kyuma ne ntandika okunyoola akakondo  akaakolebwa ku kyuma kino  era ne kitandika okunyiga ng’omubisi  bwe guyiika mu kuuma mwe ngukuhhaanyiza. 

Oluvannyuma omubisi nguteeka  mu kadomola ne nteeka mu firiigi  mwe nguggya okugutunda. 

Ng’oggyeeko okukola omubisi  gw’ebikajjo, nkola obuloddo era  nabwo mbufunamu 150,000/- buli  mwezi. 

ENGERI GY’OKOLAMU AKALODDO 

Bwe mmaliriza okukamula omubisi  mu bikajjo, ogumu nguteeka mu  ssefuliya ne ngufumba ne gukalira,  wabula sigulinda kusiriira nga  ngujjula. 

Nguteeka mu katiba ne nguzza ku  muliro okumala eddakiika ttaano.  Oluvannyuma ngujjula nga gumaze  okufuuka akaloddo.  Buli kaloddo nkatunda 300/- era  nkola 5,000/- buli lunaku. 

BYE NTEGESE OKUKOLA 

Ntegese okugula ekyuma ekirala  nkiteeke awalala mu Kampala  nsobole okwongera ku nnyingiza  kuba njagala kugenda kusoma  mulimu gwa mu mutwe. 

OMUGASO GW’OMUBISI  GW’EBIKAJJO 

Janet Nakiwala, omukugu mu  byendiisa yagambye nti omubisi  gw’ebikajjo guyamba omuntu  okutambuza obulungi omusaayi  mu mubiri. 

Guyamba okuzza amaanyi mu  mubiri gw’omuntu olwa sukaali  owoobutonde alimu.  Guyamba mu kukendeeza ekifuba  ne ssennyiga.

Omubisi gw’ebibala gulimu ssente bw’okola n’amaanyi  Ritah Nakiwu, 30, ow’e  Kanyanya akamula omubisi  mu bibala eby’enjawulo era  agutundira mu Kampala.

  Nasoma byakufumba,  wabula bwe namaliriza okusoma  nanoonya omulimu ne  gumbula mu wooteeri. 

Bwe waayita akaseera  nafunayo omulimu mu kirabo  ky’emmere ne nkolayo  okumala emyezi 5 wabula  nga bansasula kitono ate  ng’ebyetaago nnina bingi. 

Wano we nafunira ekirowoozo  eky’okukola ebyokunywa  nga mbitambuza mu  Kampala. 

Yayogedde engeri  gy’agufunamu:  Nakolanga bwe ntereka  okutuusa lwe naweza ssente  ezitandika bizinensi. 

Natandika na 1,350,000/-  ne ngulako obuuma obukamula,  ne mpangisaako ekifo  ku 300,000/- omwezi ku  kizimbe kya Paaka Enkadde  ne nsuubulako n’ebibala. 

Nasooka kukola nzekka,  naye kati nkozesa abawala  babiri abannyambako okuweereza  abantu ab’enjawulo  mu bizimbe ebituliraanye era  mbasasula buli mwezi. 

Mu mwezi nkola 800,000  era ku zino kwe nsasula  ennyumba gye mpangisa  ku 300,000 n’ekifo we  nkolera 200,000/-; abakozi  bombi mbawa 100,000/- ne  nsigazaako emitwalo 20.  Nkamula omubisi okuva  mu miyembe, obutunda,  ovakkedo, hibiscus, ennaanansi,  cukamba, ekigagi. 

ENGERI GYE NKAMULA OMUBISI  HIBISCUS: 

Kino kibeera kimuli ekya  langi emmyufu nga n’ebimuli  byakyo bimyuufu.  Ng’oggyeeko akaloosa kaakyo,  ekimuli kino kiwonya  endwadde nga puleesa, sukaali  n’okuzzaamu omusaayi. 

Bw’oba ogenda okukola  omubisi mu kimuli kino osooka  n’ofumba amazzi ne  geesera n’onnyikamu ekimuli  amazzi ne gafuuka langi.  Bw’omaliriza sengejja  n’oteeka mu kadomola  akatukula obulungi. 

Osobola okumutunda  yekka nga taliimu sukaali  oba osobola okuteekamu  sukaali.  Kino kisinziira ku kasitoma  ky’ayagala. 

Omubisi gw’ekimuli kino  osobola okugutabula mu  mubisi omulala omuntu  n’omugattiramu bw’aba  ayagadde.  Osobola okugattamu  emiyembe, obutunda, yogati,  ovakkedo n’omubisi omulala. 

Emiyembe  Osooka n’ogyozaako  n’ogisusaako ebikuta oluvannyuma  n’ogisalaasala  n’oteeka mu kuuma akagikuba  n’okamulamu omubisi  Ovakkedo  Omwoza bulungi n’oggyamu  ensigo, bw’omaliriza  n’omusalaasala n’oteeka  mu kuuma akakuba ebibala  n’okamulamu omubisi. 

Ennaanansi  Osooka n’ogyozaako  n’osalako ebikuta n’oteeka  mu kuuma akakamula  omubisi. 

Cukamba  Osalako ebikuta n’osalaasala  n’oteeka mu kuuma akakamula  omubisi. 

Obutunda  Obwoza bulungi n’obusala  okuggyamu obusigo bw’ossa  mu kuuma akakamula  omubisi. 

Ekigagi Kino oggyako ebikuta  eby’omunda n’obiteeka mu  kuuma akakuba omubisi  n’okamula. 

SSENTE ZE NKOZESA  NE ZE NFUNA 

Akadomola k’amata ge  nkozesa mu yogati nkagula  9,000/- ne nfunako amagoba  ga 5,000. 

Ekimuli kya hibiscus  nkigula 2,000/- ne nfunako  15,000/- 

Emiyembe ngigula 6,000/-  ne nfunako 15,000/-. 

Cukamba ngula wa 5,000/-  ne nzigyamu 25,000/- olunaku. 

Ovakkedo ngula wa  10,000/- olunaku ne nzigyamu  35,000/-. 

Ennaanansi ngula za  10,000/- ne nfuna 30,000/-.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkeesiwebusebig 220x290

Omugaso gw’okutegeka obulungi omudaala...

Entegeka y'omudaala gwo y'esalawo bakasitoma n'e ssente by'ofuna olunaku

Ashimu2webuse 220x290

Mu kukuba bbandi mwe nfuna ebisale...

Ekitone kyange kinnyambye okutuuka we nnali sisuubira mu kusoma n'okutambula mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo...

Akellofixingacarengineafterassemblingitwebuse 220x290

Omuwala akanika yingini za mmotoka...

Ono omuwala tazannya, akanika yingini ya mmotoka n'aleka kasitoma ng'amunyeenyeza mutwe. Okukanika yakuyigira ku...

Kyeyo 220x290

Abagenda ku kyeyo 54 bakwatiddwa...

MINISITULE y’ensonga z’omunda eraze Bannayuganda 54 abaakwatiddwa ku kisaawe kya Kenyatta International Airport...

Okukyala kw’ennaku zino engeri...

Ennaku zino okukyala kukyuse nnyo ng’omusajja bw’aba teyeenywezezza kuyinza okumulema.