TOP

Mu kwokya ebyuma mwe nzimbye enju

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd March 2018

Emirimu gy’omu mutwe n’ebyemikono bangi balowooza bya bataasoma naye kati mwe muli ssente. Moses Muzira omuvubuka alaga bw’akola ssente mu kwokya ebyuma ne by’afunyeemu.

Webbedwelding 703x422

Moses Muzira ng'asala ebyuma by'akozesa ebitanda

Bya Ivan Sserwadda

 

 

Abavubuka gye bakaabira okubulwa emirimu n’obwavu, Moses Muzira ow’e Kyebando asekera mu kikonde. Yagambye nti, ayokya ebyuma n’akolamu ebitanda nga bino bye muyimirizzaawo.

 

Yagambye nti, omulimu guno gulimu okweddugaza, naye ate ye gy’akoma okweddugaza n’okufuna ssente. Olunaku nga lwakedde bulungi asobola okukola ebitanda ebisoba mu bibiri (2).

 

“Tekitwala ssente nnyingi okutambuza ebyuma ate mu Kampala bingi tebitawaanya kunoonya, okugeza mbigula e Bwaise mu batunda ebyuma by’emmotoka enkadde.

 

Buli kiseera kirina ebitanda bye tusinga okukoleramu, ng’obwana tusinga kubukola ng’okudda mu masomero kutuuse.

Ekirungi, ebyuma tebiwumba era ne bwe biba bitalazze, tubisiigako woyiro.

 

Akatanda aka deeka tekatwala langi nnyingi, olw’ensonga nti obuuma okutuula omufaliso bubeera butono.”

 

Ebisoomooza mu mulimu guno

  1. Amasannyalaze agavaavaako gakosa omulimu guno kubanga ge geeyambisibwa mu kwokya ebyuma.
  2. Abaguzi tubafuna mu sizoni olwo ebisieera ebisigadde bizinensi n’etambula mpola nnyo.
  3. Ebyuma oluusi bitufumita n’okutusala.
  4. Omuliro ogukozesebwa mu kwokya ebyuma nagwo gutukosa amaaso.

 

Omulimu ngufunyeemu ennyumba

Nzimbye ennyumba e Masooli - Kyambogo.

Ngaziyizza bizinensi yange.

Bizinensi ennyamba okugaziya ku nnyingiza kubanga ebikozesebwa nga langi n’ebyuma mbisuubula mu bungi.

 

Ebbeeyi y’ebitanda

Ebitanda bino mbitunda ku bbeeyi ya njawulo nga nsinziira ku bugumu bw’ebyuma bye nkozesezza n’omuwendo gw’obutanda obugattiddwa okukola deeka. Bitandikira ku 300,000/- okutuuka ku 500,000/-.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Malawo 220x290

Agula emmaali y’omufu mu bukyamu...

WADDE okufa tteeka naye kino tekikugaana kukola nnyo obeereko ebyobugagga by’olekera abantu bo ssinga Katonda abeera...

Ssenga1 220x290

Njagala kutandika bulamu

NNINA siriimu era mmaze naye emyaka egiwera. Baze yafa ne nsigala n’abaana naye kati mpulira nnina okufuna omusajja...

Img20190117wa0028 220x290

Sipiika alagidde Katuntu okuyimiriza...

SIPIIKA wa Palamenti Rebecca Kadaga alagidde akakiiko ka COSASE akakubirizibwa Katuntu akabuuliriza ku mivuyo egyetobeka...

Soma 220x290

Abatuuze katono batte be balumiriza...

ABATUUZE ku kyalo Kiryamuli mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso bakkakkanye ku basajja babiri abagambibwa...

Panda 220x290

Maneja Kavuma ayagala Abtex amuliyirire...

Olutalo lw’abategesi b’ebivvulu, Musa Kavuma (KT Events) ne Abby Musinguzi amanyiddwa nga Abtex lusituse buto....