TOP

Embeera y'akatale k'e Kasokoso ekaabya

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd March 2018

Embeera akatale k'e Kasokoso gye kalimu egobye abasuubuzi nga n’abakasigaddemu bakolera ku bugubi.

Webembeeraakatalekekasokosogyekalimu 703x422

Akatale k'e Kasokoso nga bwe kafaanana kati

Bya Tonny Kayemba

 

Akatale k’e Kasokoso mu Divisoni y'e Namugongo mu munisipaali y'e Kira kali mu mbeera mbi ekigobye abasuubuzi nga n’abatono abakyakagumiddemu basulirira kukaddukamu bakalekere ssentebe olw’okulemererwa okukakulaakulanya.

 

Akatale kano kagenda mu myaka 10 wabula kalimu abasuubuzi abatawera 20 abakoleramu nga n’emidaala emirala gigudde olw’obutagikolerako.

 

Badiru Ntulume, ssentebe w'akatale kano yakubye olukiiko mwe yayitidde abasuubuzi boogere ku ngeri y’okukulaakulanya akatale kaabwe wabula abasinga baaluzize ne basigala nga beebase ngabagamba baakoowa enkiiko ezitavaamu kyamakulu.

 

Baalajanidde abatwala ekitundu ky’e Namugongo okubayamba ku basuubuzi abatundira ku makubo ne ku budaala okuliraana akatale babazze mu katale kuba be balemesa bakasitoma abandizze okubagulako okutuuka mu katale.

 

Ntulume yagambye nti, akatale kalimu abasuubuzi 60 kyokka nga kaazimbibwa kukoleramu abasuubuzi abasoba mu 200 wadde emidaala giri ku bbeeyi ya wansi eri wakati wa 10,000/- ne 15,000/- buli mwezi. Abasuubuzi basasula empooza ya 2,000/- omwezi ezitamala kuddukanya katale na kukateeka ku mutindo ogusikiriza abaguzi ssaako okusasula abakuumi, amazzi n’ebirala nga ssentebe alina okukwata mu nsawo ye ebiseera ebimu.

 

Gladys Nabisaalu, omusuubuzi mu katale kano yategeezezza nti okukola baakuvako ng’ebintu bye basuubula bivundira ku midaala olw’okubulwa bakasitoma kyokka nga ssente bazeewola mu bibiina.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dav1 220x290

Museveni beyakuzizza bambaziddwa...

Museveni beyakuzizza bambaziddwa ennyota zaabwe

Mum2 220x290

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku...

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku kakalu ka kkooti tewayise n'addakiika n'addamu okukwatibwa

Lab2 220x290

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa...

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa alaajanye

Kab2 220x290

Ssewungu akubirizza bannaddiini...

Ssewungu akubirizza bannaddiini okuvumirira empaka

Lwa2 220x290

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo