TOP

Okulima ebimuli kwamponya okunoonya emirimu

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd March 2018

Okulima ebimuli eby’okutunda nayo kati bizinensi abagujjumbidde gye bafunamu ssente ate nga gukolebwa mu kifo kyonna kasita obeera n’amazzi. Omuvubuka Meddie Yiga ow’e Makerere ku Bbiri alaga bwafunye ssente mu bimuli by’alimira ku kkubo.

Web6yigameddie 703x422

Meddie Yiga ng'atereeza ebisuwa mw'asimba ebimuli by'atunda

Bya Ivan Sserwadda

 

Okulima ebimuli mulimu Meddie Yiga nnannyini Top Rank Compound Expert ow’oku Bbiri - Makerere mw’afunye ssente ng’ate akolera ku mabbali ga kkubo.

Yiga yagambye nti yalaba tasobola kugula poloti mu kibuga aw’okukolera omulimu gwe, n’asalawo okupangisa ku kitongole kya KCCA, olubalama lw’oku luguudo we yateeka ennimiro ye.

Annyonnyola ku nzirukanya y’omulimu gwe:

“Abantu bangi basimba ebimuli naye nga tebamanyi kika kye balina wadde erinnya lyakyo. Ebika by’e bimuli ebisinga byettanirwa okusinziira ku buwangaazi n’okugumira embeera y’obudde.

Ebimuli okuli: Ackzora ekisimbibwa mu luggya, Gardenia ekireeta akawoowo nakyo kisimbibwa mu luggya, Hibiscus ekitobeka langi zonna era kinyiriza awaka, Amslander nga kino kitobeka langi bbiri eya kiragala n’emmyuufu.

Waliwo Rosemary ekikola ng’ekimuli ate nga ddagala,  Bougainvillea ekirandira ku bikomera, Seviya kano kali mu kikula kya muti nga kakula keewumba.

Amelia kino kiteekako ebikoola bya kakobe, Umbrella tree guno muti ogukola ng’ekimuli era gukula gwawuza amatabi nga gusimbibwa mu luggya ne ku lukomera.

 mukozi wa iga manyire ngayooyoota ebimuli Omukozi wa Yiga, Amanyire ng'ayooyoota ebimuli

 

By’ogoberera ng’osimba ebimuli

  1. Manya ekika ky’ekimuli ky’ogenda okusimba n’okutegeera  we kisaanye okusimbibwa. Tosimba kimuli kya ku kikomera mu luggya wakati kubanga ebimu bibeera biranda.
  2. Ebimuli okweyagala obulungi, birina kusimbibwa mu ttaka eriddugavu ate nga litabuddwaamu ebigimusa. Atasobola bigimusa, asobola okukozesa oluwugge olufuumuuka ku muti ogusaliddwa n’akuuma.
  3. Asimba ebimuli mu luggya, alina okusooka okulaba nti luli ku pulaani. Ebimuli wadde birabisa bulungi awaka, nabyo byetaaga okubisimba mu kifo ekitereevu okubisobozesa okutuukiriza omulimu gwabyo.
  4. Omuntu eyeewaayo okusimba ebimuli mu bungi olw’enteekateeka y’okukola oluggya nga lunene ate lunyirire, ateekwa okufuna omukozi ategeera okulabirira ebimuli.    

Endabirira y’ebimuli

Ebimuli tebabifukirira na mazzi gookya kubanga gakosa olususu n’emirandira gy’ekimuli, ne kikala.

Ebimuli tebabifukirira na mazzi agalimu sabbuuni kuba alimu sabbuuni abikaza.

Bifukirire ku makya n’akawungeezi buli lunaku okuggyako ng’enkuba etonnye.

Mu kufuuyirako eddagala, olina okusooka okwebuuza ku muntu alimanyi obulungi n’akubuulira ekipimo ekituufu. Kino kikolebwa okwewala okubabula ebimuli kubanga eddagala eringi libikaza.

Ekirungi kye nnina kwe kuba nti, ettaka eriteekebwa mu bisuwa okusimba ebimuli liva wano we mpangisa sirigula.

Mu biseera by’enkuba sigula mazzi gaakufukirira.

Abaagala okunyiriza empya zaabwe, ebimuli babigula mu bungi.

Ekirala nnina omukozi omu annyambako ekinsanyusa nti nange nnina kye nnyambye mu kulwanyisa ebbula ly’emirimu mu ggwanga.

Ebbeeyi y’ebimuli

Joranta 500/-, Travellers palm 400/-, Sofera 8,000/-, Fycus 15,000/-, Water lilly 5,000/-, Umbrella tree 10,000/- n’ebimuli ebirala bingi. Era ng’ebbeeyi eno ebeera ya kimuli kimu.

Mu biseera by’enkuba lw’asinga okukola ssente era asobola okuyingiza 700,000/- mu sizoni ey’enkuba nga kuno kw’atoola z’asaasaanya ku by’akozesa byonna okuli ebigimusa n’emisolo.

Ate ku musana ayinza okuyingiza 400,000/- n’atoolako ez’amazzi ng’akozesa ebidomola 40 buli wiiki nga buli kimu kigula 200/-.

Ebisoomooza

  1. Mu budde bw’ekyeya, amazzi gabeera ku buseere, abaguzi nga batono ate ebimuli bikwatibwa endwadde n’okulumbibwa obuwuka.
  2. Ebisuwa bye tusiimbamu ebimuli nabyo bya buseere.
  3. Ababirima baggyibwako omusolo ate nga basasula KCCA ekifo we balimira ekitunyiga mu nfuna.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Grav 220x290

Mujje mbalage ekitone ly’okuyimba...

Oluvannyuma lw’emyezi ebiri ng’ali mu kutendekebwa okwa kasammeme n'okugoggola eddoboozi, Gravity Omutujju ayise...

Uni 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUNA AKULEETEDDE...

Bobi Wine olusimbudde okuva mu Amerika, abawagizi be ne batandikirawo okujeemera poliisi. Amagye gakutte owa Flying...

Banyarwanda2 220x290

Abanyarwanda basabye Kabaka ettaka,...

ABANYARWANDA ababeera mu Uganda basabye Kabaka asiime abawe ettaka Ssekabaka Muteesa II lyeyali abawadde e Kibuye...

Fortunessentamu2 220x290

Abagwira 6 bakuvuganya ne Bannayuganda...

Laawundi y'empaka za ddigi eyoomukaaga ku kalenda ya Uganda yakwetabwaamu abagwira 6.

Courtgavelscales1024683 220x290

Kkooti zonna zaakujjukira Benedicto...

Mu 1972 abajaasi ba Amin baalumba Benedicto Kiwanuka mu ofiisi ye ku Kkooti Enkulu ne bamuwalawala mu kifo ekitaategeerekeka...