TOP
  • Home
  • Yiiya Ssente
  • Okukanika obugaali nkuzimbyemu amaka n’okulwanyisa ebbula ly’emirimu

Okukanika obugaali nkuzimbyemu amaka n’okulwanyisa ebbula ly’emirimu

By Musasi wa Bukedde

Added 27th March 2018

Omulimu gw’okukanika obugaali mwe mpise okulwanyisa ebbula ly’emirimu mu bavubuka, okuzimba amaka n’okusomesa abaana

Makanikajpg 703x422

Jonathan Muwanguzi ng'akanika akagaali ka kasitoma we.

 Bya Ivan Sserwadda

Jonathan Muwanguzi ow’e Kanyanya y’omu ku bantu abeenyumiriza mu mulimu gw’okukanika.  Bw’omulaba ng’akanika obugaali osobola okumuyisaamu  amaaso ng’olaba tayinza kufunawo ssente  naye nga ye agamba ntitayinza kuguvaamu kuba gwe gumutuusizza w’ali.

Anyumya bwe yatandika omulimu guno ne bw’agufunyeemu.

“Okukanika nakuyigira mu kyalo e Ssembabule era bwe nafunawo ssente najja ku kibuga nga nnina 500,000/-. Natoolako emitwalo 18 ne mpangisa omuzigo okumala myezi esatu nga buli mwezi nsasula emitwalo 6.

Ezaasigalawo natoolako emitwalo 12 ne mpangisa olukuubo olwali wakati w’ennyumba bbiri okumala emyezi 3. Olukuubo luno nalufuula akayumba mwe naterekanga ebyuma bye nkozesa n’eggaali za bakasitoma.

Nagulako amatoffaali ga 20,000/-  ne ndugatta ne nteekako n’oluggi lwa 30,000/-. Emitwalo etaano nagigulako emmere n’ebikozesebwa awaka, ate 10 ezaali zisigaddewo nagulako ebyuma bye nkozesa mu mulimu guno.

Omulimu guno nagukolera akaseera nga bwe ntereka era ne ntandika okusuubula sipeeya w’eggaali nga kati nnina akaduuka ka sipeeya gwe nkozesa okukanika n’okutundako.

Ebisoomooza

Omusolo ogwa 200,000/- Gavumenti z’etusaba buli mwaka nnyingi ate nga bwe babeera bawa abantu omukisa okwewola etubuusa amaaso olw’okuba tukola emirimu mitonotono.

Bakasitoma abamu balwawo okunona eggaali zaabwe ate nga aw’okuzitereka wafunda.

Waliwo abantu abajja ne beefuula abakebera eggaali zaabwe kyokka nga tebalinaawo ggaali, okukkakkana nga babbye ez’abalala.

Ebiseera ebimu bakasitoma babula.

Abantu baleeta eggaali zaabwe nga tebalina ssente ne balemererwa okuzinona ate nga zibeera zaggwa dda okukanika ekikosa bizinensi yange.

Ebinkuumidde mu mulimu guno

  1. Sipeeya ne bw’alinnya nze nga makanika tekinnyiga kuba omuntu aleese eggaali ye abeera ateekwa okukigula ku bbeeyi yonna.
  2. Olunaku makanika nfuna ssente ezisukka mu 40,000/- era omwezi nga sizoni etambudde bulungi nyingiza emitwalo 50.

Ssente za makanika tezibaako kkomo kubanga buli gwe nkolera eggaali ye mmusalira ze njagadde.

Bye nfunye mu kukanika

  1. Mpeerera abaana bange.
  2. Nzimbye amaka ewaffe e Ssembabule.
  3. Ntendese abaana bangi obwamakanika era kati beekozesa.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bak1 220x290

Omukazi afiiridde mu dduuka lye...

Omukazi afiiridde mu dduuka lye

Kab2 220x290

Museveni atongozza okugaba bbasalee...

Museveni atongozza okugaba bbasalee Bunyoro

Tum2 220x290

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera...

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera ku kuggala Banka

Rem2 220x290

Bawambye omuwala mu Kampala ne...

Bawambye omuwala mu Kampala ne bamutta

Rip2 220x290

Engeri omukuumi gye yakubyemu bboosi...

Engeri omukuumi gye yakubyemu bboosi we essasi