TOP

Akatale k’e Bweyogerere koolekedde okuggalwa lwa bujama

By Musasi wa Bukedde

Added 28th March 2018

Abasuubuzi mu katale k’e Bweyogerere balabuddwa ku bujama ne babasuubizza okubaggala ssinga tebakyusa.

Webabasuubuzingabalimulukiiko2 703x422

Abasuubuzi nga bali mu lukung'aana olwakubiddwa obukubirire

 

Bya Tonny Kayemba

John Buyego, akulira ebyobulamu e Bweyogerere alabudde abasuubuzi abakolera mu katale k’abalimi e Bweyogerere nga bw’ajja okubaggala olw’obujama obususse ekiyinza okuvaako obulwadde bwa kkolera mu kitundu.

Buyego  ategeezezza nga bwe bagezezzaako okusomesa abasuubuzi ku kikwatagana n'obuyonjo naye abasinga bakyagaanyi okukikwata. Alabudde ab’ebirabo by’emmere okukomya omuze gw’okusaaniika emmere mu buveera n’okusiiga ebirabo byabwe langi nga abataakikole  baakuggalwawo.

Yabavumiridde n’okufumbira emmere mu buveera kye yabalabulako edda naye ne bagaana ekijja okulwaza ababagulako emmere.

 Hussein Kato, Ssentebe w’akatale kano avudde mu mbeera n’alabula okugoba abasuubuzi abagenda bamansa kazambi okwetooloola akatale ne balekerera okugenda mu kaabuyonjo olw’obutayagala kusasula 200/- ezisabibwa.

 Ategeezezza ng’abasuubuzi bwe basusse obujama kwe kusalawo okukuba olukiiko olw’amangu nga tewannabalukawo ndwadde ziva ku bujama naddala mu biseera bino ebyenkuba. Agasseeko n’abakyala abamansa paadi ze bakozesezza buli wamu n’okuzisuula mu kaabuyonjjo ez’amazzi ne zizibikira.

Akomye ne ku basala enkoko ku ky’okukozesa obudomola obukozesebwa mu kaabuyonjo.

 John Kakande, omusuubuzi mu katale kano ategeezezza nga basuubuzi banne bwe boonoonye ekitiibwa ky'akatale kaabwe nga batuuka n’okuganzika abakazi mu bifulukwa ate gye beeyambira n’asaba ssentebe nti omuntu yenna anaakwatibwa mu bikolwa ebityoboola ekitiibwa ky’akatale agobwe.

 Majid Akweteiro Karim, atwala poliisi y'e Bweyogerere asabye abasuubuzi okuyonja we bakolera bakomye n'omuze ogw’okuyiwa amazzi ne kasasiro mu kkubo kuba byongera obujama mu katale . Abakuutidde okwewala obubbi bw'enkoko naddala mu nnaku enkulu ezisembedde.

 Asembezzaayo eky’okukubiriza abasuubuzi okukolagana ne poliisi okumalawo obumenyi bw'amateeka mu kitundu n’okugunjawo enkola ya mayumbakkumi.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Zan13 220x290

Agambibwa okufera abantu emirimu...

Agambibwa okufera abantu emirimu akwatiddwa

Mutu 220x290

Muwala wa munnamagye Kyaligonza...

PAULINE Ntegeka abadde abeera mu Bungereza, ku Lwokutaana yabadde agenda mu kinaabiro n’aseerera n’agwa n’akubawo...

Netherlands1 220x290

Budaaki ewadde Uganda obuwumbi...

EGGWANGA lya Budaaki likubye Uganda enkata ya buwumbi bwa ssente bubiri, ziyambe mu kutumbuka eby’obulambuzi mu...

Mus12 220x290

Aba NRM bawonye okupangisa

Aba NRM bawonye okupangisa

Masasi1 220x290

Bakutte omujaasi ku kutta aba Mobile...

BULIJJO abantu bamulaba n’ekidomola ky’amazzi ekya kyenvu, nga balowooza nti aguliramu mmere ya bisolo.