TOP

Emberenge zamponya okusabiriza

By Musasi wa Bukedde

Added 30th March 2018

Emberenge nzikolamu amagoba nga ntaddemu kitono, ate ne zintuusa ne ku mulimu omulala mwe nfuna ssente.

Webmberenge 703x422

Kenny Sserwadda ng'atulisa emberenge z'atunda

Bya IVAN SSERWADDA             

Okusiika emberenge gwe gumu ku mirimu egiyingiza ensimbi buli kiseera ng’ate tegwetaaga kwonoonerako maanyi. Omulimu guno gwettaniddwa abantu olw’ensonga nti, tekyetaagisa kifo kinene okugukola era abasinga bakolera ne ku mbalaza z’ebizimbe, ku makubo n’awalala awafunda.

Kenny  Sserwadda omutuuze w’e Bwaise ng’akolera ku luguudo lwa Kawempe - Ttula, asiika emberenge yagambye nti okutandika omulimu guno weetaaga akuuma akagula 300,000/-, wadde abamu bakozesa esseffuliya ze babikkako.

Butto ow’ekika kyonna asobola okusiika emberenge.

Ekitundu kya kkiro eky’obuveera obusibwamu emberenge eza 2,000/- babutunda 3,000/- , ate ekitundu kya kkiro ey’obuveera obutono obusibwamu eza 1,000/- egula 1,800/-.

Kkiro ya kasooli wa nayirooni asiikibwa egula 5,000/-.

Ate akuuma kasobola okukozesa amasanyalaze ga 5,000/- olunaku.

Sserwadda olunaku asiika kkiro 10 era olunaku akozesa liita za butto 4 nga zigula 20,000/-.

Ng’aggyeeko by’akozesa byonna asobola okufissa 20,000/- olunaku.

Ebisinga okumusoomooza mu mulimu  guno

  1. Ebiseera ebimu amasannyalaze gavaako, ate nga tewali kiyinza kukolebwa nga tegaliiko.
  2. Akuuma kamanyi okucamuka ne kasiriiza emberenge.
  3. Emberenge tezisobola kukuwa kaagaanya kukola mulimu mulala olw’ensonga nti ziggyiira mu ddakiika ntono bw’ozigayaalirira zisiriira mangu.
  4. Oluusi nayirooni ayinza okuba nga teyakala bulungi, emberenge ne zigaana okubaluka n’ofiirwa.

Ebirungi by’afunye mu mulimu guno

1 Afunyeemu ssente ezimusobozesezza okutandika okwekolera obuuma obubwe  bw’aguza abalala.

2. Omulimu guno gumuyambye okubeerako ne ky’akola buli kiseera n’atalowooza ku bitamuzimba.

3. Asobola okwebeezaawo n’abantu be b’alabirira.

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...