TOP

Okusiika capati nkusomesaamu bato bange

By Musasi wa Bukedde

Added 30th March 2018

Okusiika capati kuvaamu ssente ng'ate toteekamu kinene.Ndabirira maama, baganda bange n'okupangisa we nsula.

Webcapati 703x422

Yasin Agaba ng'asiika capati

Bya Ivan  Sserwadda           

Okusiika capati gumu ku mirimu egikolebwa abavubuka okwetooloola eggwanga, era abamu bagwenyumirizaamu olw’engeri gye gubaweerezaamu.

Agaba Yasin ow’omu  Zooni ya Kkulumba  mu Kawempe,  yatandika okusiika capati  mu November wa 2017 oluvannyuma lw’okunoonya emirimu ne gimubula.

Yannyonnyodde nti, okusiika capati tekyetaagisa ssente nnyingi ez’entandikwa kuba ky’obaawo nakyo kye kitandika.

“Natandika ne 22,300/- kwe napangisa ekifo we nkolera kya 10,000/-, paketi y’ eng’ano ya 4,700/-, paketi ya butto ya 3,000/-, paketi y’obuveera ya 2,000/-, amanda ga 1,500/-, omunnyo  gwa 600/- n’ekitole kya sabbuuni kya 500/-.

Ensawo bwe yatandika okugaziwa, nayongera ku bikozesebwa n’omuwendo gwa capati ne gweyongerako. Oluvannyuma natandika okukola capati ku makya n’akawungeezi nga kati nkozesa paketi z’eng’ano 7 ze ngula ku 32,900/- olunaku nga 4 nzikozesa ku makya ate 3 nzikozesa kawungeezi.

Butto nkozesa  liita bbiri ezigula 6,000/-, obuveera ngula paketi bbiri za 4,000/-, Amanda ga 5,000/-, obutungulu bwa 2,000/-, ttule z’amagi bbiri nga za 21,400/-, ennyaanya za 1,000/-, emboga za 2,000/-, ebijanjaalo by’ekikomando kkiro 3 za 6,000/-, n’omukozi amuyambako gw’asasula 4,000/- buli lunaku ne  10,000/- gw’ekifo agusasula buli lunaku.

Ennyingiza

Olunaku ezikunukkiriza mu 90,000/-, bw’atoolako  z’akozesezza afissa afunako amagoba nga ga 25,000/- buli lunaku.

Ebisoomooza

Olumu toyingiza nga bw’oba osuubidde.

Abantu abamu bajja ne batwala capati ku bbanja ne batasasula.

Ebbeeyi y’ebikozesebwa erinnya n’eyingirira ekibalo kye.

By’afunyeemu

Aguze embuzi munaana z’alundira mu kyalo e Kibuye - Nakasongola.

Afissaako ssente n’atereka mu kibiina .

Aweererako baganda be babiri kuba kitaabwe yafa.

Alabirira nnyina ali mu kyalo.

Asasulira ennyumba mwe basula.

Ky’aluubirira

Ayagala aweze 1,000,000/- agende ayige okukanika. Ku myezi etaano gye yaakakolera, atereseewo 400,000/-.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Yogo 220x290

Ababaka balumurizza UPDF ku kutulugunya...

ABABAKA ba Palamenti bongedde okwanja obujulizi ku magye ga UPDF okutulugunya, okutyoboola eddembe ly’obuntu n’okusaanyaawo...

Wano 220x290

Mugisha Muntu y'ani?

Amannya ge ye Gregory Mugisha Muntuyera, kyokka amanyiddwa nnyo nga Mugisha Muntu.

Cause 220x290

Mugisha Muntu avudde mu FDC aba...

MAJ. Gen Mugisha Muntu 59, olwalangiridde nti ayabulidde FDC, abawagizi ba Dr. Kiiza Besigye ne bacacanca nti bamuwonye...

Tuga 220x290

Sudhir yeezoobye n’abaakakiiko...

AKAKIIKO akanoonyereza ku mivuyo gy’ettaka keezoobye n’omugagga Sudhir Rupaleria ng’akabuuza lwaki keesibye ku...

Dp 220x290

Aba DP balabudde Mbidde ne Mpuuga...

TTABAMIRUKA wa UYD - DP Reunion bamutaddemu obukadde 60 okwawukana ku nkiiko endala ze babadde batuuza.