TOP

Okukola engatto kunneerabiza ennaku y’okunoonya emirimu

By Musasi wa Bukedde

Added 31st March 2018

Okutunga engatto nasooka kuddaabiriza nkadde, bakasitoma ne bansaba okubatungira obugatto era natandika na za lugabire. Eyatandika ne 60,000/- kati nkolera mu bukadde era nkozesa n’abantu abalala.

Webbwoojikukkononabakozibewebakolaengatto 703x422

Bwogi (ku kkono) n'abamu ku bakozi be nga balaga engatto ze bakola.

Bya Tonny Kayemba

Moses Bwogi, omutuuze w’e Kireka - Kamuli mu Division y’e Namugongo mu Munisipaali y’e Kira ye nannyini kkampuni ya Genuine Craft Designers ng’atunga ngatto. Bw’omusanga n’abakozi be tosobola kumanya nti yatandika na kuyiiya mpola kyokka mu mwaka gumu nga yeerandizza ekyamwerabiza ennaku y’okunoonya emirimu.

 Bwogi yasomerera bya kusomesa bantu  era alina diguli gye yafunira ku yunivasite y’e Kyambogo mu 2014, wabula emirimu bye gyabula yasalawo okuyiiya eky’okukola yeekeozesa. Annyonnyola bwati:

 “Natandika na kuddaabiriza ngatto mu 2016 nga nnina 60,000/-, ku zino nagulako wuzi, eddagala ly’engatto n’akatebe kwe natulanga ku kabalaza ka saluuni ya mukwano gwange e Kamuli nga we nateeka ekimeeza nga nsasula 25,000/- buli mwezi.

 Ntandika okukola engatto

Bakasitoma be nakoleranga bambuuzanga lwaki sitandika okukola obugatto bwa bw’abakyala obwa Craft kuba babwagala naye ebiseera ebyo ssente nga nnina ntono.

 Wabula bwe nalaba obwetaavu bweyongedde, nagenda ewa mukwano gwange n’ampola 500,000/- ze natandika nazo okukola engatto nga twatandikira ku kukola lugabire.

Zino twazikozesanga emipiira gy’emmotoka emikadde ng’akagatto twakatundanga wakati wa 5,000/- ne 7,000/-.

 Ku mitwalo 50 nagulako amaliba, soole z’engatto, gaamu ne wuzi ne ntandika okukola era bakasitoma ne beeyongera ekyampaliriza okusenguka we nali nkolera ne mpangisa ekifo ekinene ne nfunayo n’abakozi abalala babiri.

 Twayongerako n’okukola ebirala nga obukwata ebisumuluzo obw’amaliba nga kuliko amannya, waleti z’abasajja, ebikomo n’ebirala, byonna nga tuyiiya biyiiye nga tweyambisa amagezi g’okutunga engatto.

 Akatale

Ebintu bye tukola tubitunda mu Kireka, Kampala n’ebitundu ebituliraanye n’ebimu tubiwa abaana ne babitambuza ssaako bassekinnoomu ababitugulako we tukolera. Olumu tugenda mu masomero nga waliwo emikolo ne tuguza abazadde.

 Engatto  z’abasajja ziri wakati wa 15,000/- ne 25,000/-, ez’abakazi 10,000/- ne 20,000/-, obw’abaana 7,000/- ne 10,000/-, waleti 15,000/- ne 20,000/-, ebikomo byabanga bya 5,000/- ng’ate abasuubula tuteesa.

 By’afunyeemu

Nguze akuuma akawagala soole z’engatto ku mitwalo 50.

Nneeyimirizaawo n’okusasula abakozi be nnina.

Bizinensi yange egaziye okusinga we yatandikira era gye ndaga nnengerayo watangaavu.

 Okusoomoozebwa

  1. Ebintu ebikola engatto bya buseere okugeza amaliba ne gaamu birinnya bbeeyi buli kiseera. Akadomola ka liita 5 kaali kagula 80,000/- wabula kati kagula emitwalo 10.
  2. Engatto emu etundibwa 10,000/- emalawo 7,000/-, ku magoba aga 3,000/- kw’oba osasula abakozi n’okusasula ekifo w’okolera ekikosa bizinensi.
  3. Amasannyalaze ga buseere ate ekyuma kye tukozesa mu kukola engatto kikozesa amasannyalaze mangi nakyo ekituyingira mu nnyingiza.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Students 220x290

Abasomesa b'e Kajjansi bawera kutumbula...

Abasomesa b'e Kajjansi beekozeemu ekibiina okutumbula ebyenjigiriza

Golola1 220x290

Golola akoze omubiri n'atiisa abawagizi...

OMUKUBI w’ensambaggere Moses Golola ‘Of Uganda’ kuno okutendekebwa kwaliko kwandimufuula omulema.

Umarmwanjepaasita1 220x290

Omuyimbi Umar Mwanje afunye maneja...

OMUYIMBI Umar Mwanje (ku ddyo) eyayimba ‘Omwana wa musajja ne Ttivvi y’omu ddiiro’’ bamuggye ku kaguwa.

Salawo 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Bobi Wine alaze ky’agenda okuzzaako kyokka poliisi nayo erabudde aba People Power ku kugondera amateeka. Mulimu...

Giroud2 220x290

Besiktas eswamye Giroud okumuggya...

Giroud, yali omu ku bazannyi abaayamba Bufalansa okusitukira mu World Cup mu July wabula mu Chelsea, ennamba etandika...