TOP

Ab’e Kira bafunye akatale k’abalimi akapya

By Musasi wa Bukedde

Added 7th April 2018

Akatale akapya akanaabeeramu abasuubuza ab’ebirime e Kira kawadde abalimi essuubi ery’okuyingiza ku ssente eziwera mu nsawo olw'omutindo kwe kazimbiddwa.

Webkamadahsserubuirisentebewakatalengaalagaemidaalaegizimbibwa 703x422

Ssentebe Sserubiri ng'alaga akatale akazimbibwa e Kira

 

Bya Tonny Kayemba

Abasuubuzi n’abatuuze mu munisipaali y’e Kira bafunye akamwenyumwenyu ku matama oluvannyuma lw’okufuna akatale k’abalimi akapya akatuumiddwa Kira Farmer’s Market nga  kaakusuubuza ebirime mu butale obulala okwegatta ku ka Kireka Farmer’s Market  akabaddewo kokka.

Kamadah Sserubiri, Ssentebe w’akatale kano annyonnyodde nti, basazeewo okutandika akatale kano olw’abasuubuzi abangi ababadde bakolera mu bifo eby’enjawulo awabade obutale  omuli Park Yard, akatale k’e Kasubi n’awalala gye bagobedwa nga baagala okukulaakulanya ebifo mwe babadde bakolera nga tebakyalina waakukolera.

Agambye nti, balina ettaka eriweza yiika 3 lye batandise okuzimbako emidaala egy’omulembe 2000  abasuubuzi we bagenda okukolera  ku bbeeyi eya wansi.

 Mu kiseera kino, abasuubuzi bakyali batono  naye basuububira okuweza abasuubuzi abasoba mu 400  ssinga omulimu gw’okuzimba akatale guggwa mu mwezi ogwomusanvu omwaka guno.

Ategeezezza nti, akatale kano kagenda kubeerako ebifo ebiwerako omuli awasimbibwa emmotoka, ekyuma ekinnyogoza ebirime bireme okwonooneka, awakuumirwa ebirime obutabbibwa, ekifo awakuumirwa abaana n’ebirala eby’omulembe ebyetaagibwa mu katale okwanguyiza bakasitoma n’abakolerawo.

 

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Thursday991633393 220x290

Abalenzi baleebezza abawala mu...

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kifulumizza ebyavudde mu bibuuzo bya PLE ebiraze nti...

105190074ibraronepa 220x290

Zlatan acoomedde Ronaldo: 'Tolina...

ABAALIKO ba Sitta ba Man U batabuse omu n’acoomera munne okweyita kafulu nga talina ttiimu nafu mwe yali azannyidde....

Babuweb 220x290

Abeebikonde beebugira mpaka za...

Ttiimu z'ebikonde ez'enjawulo ziri mu keetalo nga zeetegekera okwetaba mu mpaka za National Boxing Open Championship...

Mugoodaweb 220x290

Bamusaayimuto banattunka mu mizannyo...

Bamusaayimuto e Jinja oluwummula baakulumalako nga basanyufu nga battunka mu mpaka za 'Go Back to School Gala'...

Bampa 220x290

Ekyakonzibya ebikonde bya Uganda...

KIZIBU munnabyamizannyo yenna okukkiriza kati nti omuzannyo gw’ebikonde gwatuusaako Uganda mu kifo ekyokusatu mu...