TOP

By'oba okola okufuna mu mobayiro mmane

By Musasi wa Bukedde

Added 11th April 2018

Nkola 500,000/- omwezi mu bizinensi ya mobayiro mmane ekinnyambye okutandika bizinensi y’okusuubula amasimu.

Webmobilelubyayi 703x422

Mathew Lubyayi ng'ali w'akolera.

Bya IVAN SSERWADDA              

OMULIMU gw’okuweereza n’okufuna ssente ku ssimu gwettaniddwa abantu wadde gujjudde okusoomooza mu bibuga ne mu byalo. Mathew Lubyayi, ow’e Kanyanya akola mulimu guno era akulaga bw’agutambuza n’asobola okufunamu wakati mu kusoomoozebwa.

Nnalina okusooka okufuna layini ya Agenti n’erinnya lya bizinensi okuva mu kkampuni ey’ebyempuliziganya. Oluvannyuma kikwetaagisa okugenda mu kitongole ky’ebyemisolo mu ggwanga ekya URA okufuna nnamba ya TIN ng’eno ekuyambako okusasula omusolo.

Natandika ne 2,000,000/-, kwe natoola 120,000/- ne nkozesa akapande  akalaga omulimu, 60,000/- zaagenda ku kufuna linnya lya bizinensi ne layini ya Agenti. TIN yammalako 20,000/- ate 250,000/- nazeeyambisa mu kusiiga langi emmyufu n’eya kyenvu ku nzigi ne mu nnyumba okwongera okulanga bizinensi yange. Ate 1,550,000/- nazikozesa nga kapito akozesebwa bakasitoma.

By’olina okumanya ng’otandika

Okusinziira ku mateeka agabaweebwa kkampuni z’ebyempuliziganya, tewali akkirizibwa kuggya ku kasitoma ssente ez’obuliwo nga ba Agenti abamu bwe bakola, ensasula yonna ekolebwa ku ssimu.

Ebirungi bye nfunye mu bizinensi eno

Nfunyeemu ssente ze nkozesezza okusuubula amasimu.

Nsobola n’okwebeezaawo mu bulamu obwabulijjo.

Ebisoomooza bye nsanga

Kapito nkyalina mutono nga bakasitoma oluusi bajja nga baagala ssente nnyingi ate nga siziweza.

Ssente z’obupangisa nnyingi ate ng’emyezi egimu sikola nnyo.

Emisolo mingi ng’ate ennyingiza ebeera ntono.

Omulimu guno gujjuddemu abafere abakozesa olukujjukujju okutubbako ssente.

Ekifo kye nkoleramu mu biseera by’enkuba kiremesa bakasitoma okukyama.

Ennyingiza

Bwe mbeera nkoze nnyo, omwezi nfuna 500,000/-, bwe ntoolako ssente z’obupangisa 230,000/-  ne 70,000/- ze nkozesa ku kulya n’ebyetaago ebirala olwo mbeera nfissa 200,000/-.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Uni 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUNA AKULEETEDDE...

Bobi Wine olusimbudde okuva mu Amerika, abawagizi be ne batandikirawo okujeemera poliisi. Amagye gakutte owa Flying...

Abanywarwanda basabye Kabaka ettaka,...

ABANYARWANDA ababeera mu Uganda basabye Kabaka asiime abawe ettaka Ssekabaka Muteesa II lyeyali abawadde e Kibuye...

Fortunessentamu2 220x290

Abagwira 6 bakuvuganya ne Bannayuganda...

Laawundi y'empaka za ddigi eyoomukaaga ku kalenda ya Uganda yakwetabwaamu abagwira 6.

Kkooti zonna zaakujjukira Benedicto...

Mu 1972 abajaasi ba Amin baalumba Benedicto Kiwanuka mu ofiisi ye ku Kkooti Enkulu ne bamuwalawala mu kifo ekitaategeerekeka...

Omwanangasenaamazzikuluzziwebusemwana 220x290

Ab'e Birinzi balindiridde kulwala...

Kaabuyonjo ze tusima mu musenyu okw'enkuba zibooga kazambi n'ajjula enju zaffe