TOP

Muve ku bibangirizi by’enguudo – UNRA

By Musasi wa Bukedde

Added 17th April 2018

Abatuuze n’abasuubuzi abakolera mu bibangirize by’enguudo mu Bweyogerere basabiddwa okubisenguka ng’ekitongole kya UNRA tekinnabakwasa maanyi.

Webabasuubuzinebananyinibizimbengabalimulukiikolwaunraebweyogerere3 703x422

Abamu ku basuubuzi ne bannannyini bizimbe mu lukiiko lwa UNRA e Bweyogerere.

Bya Tonny Kayemba

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’enguudo mu ggwanga ekya Uganda National Roads Authority (UNRA) kiwadde abatuuze b’e Bweyogerere abakolera ku nguudo n’ab’obutale obuli mu bibangirizi by’amakubo okwamuka ebifo bino nga tebannabakwasisa maanyi.

Baakubye olukiiko ku kitebe kya Division y’e Bweyogerere olwetabyemu abasuubuzi abakolera ku nguudo, ab’obutale, bannannyini bizimbe n’abakulembeze b’omu kitundu nga bakulembeddwa Town Clerk wa Division y’e Bweyogerere, Godfrey Kasasa Muwanga n’omumyuka wa Ssentebe wa Disitulikiti y’e Wakiso Betty Ethel Naluyima.

John Bosco Ssejjemba, akulira ebikwekweto mu kitongole kya UNRA yategeezezza abasuubuzi ne bannannyini  bizimbe abakolera mu kibangirizi ky’oluguudo lwa Kampala - Jinja Highway okwamuka ebifo bino kubanga okuva mu 2015 baatandika kaweefube w’okwerula empenda z’enguudo mu ggwanga okusobozesa ekitongole okukolerawo emirimu egiteekeddwa okukolebwawo n’okukendeeza ku bubenje n’akalippagano k’ebidduka, era baludde nga bategeeza abantu bano naye nga tebafaayo.

Yannyonnyodde nti,ebibangirizi by’amakubo birina kukolebwamu mirimu okuli okusimbako ebipande by’okulangirako, okuyisaamu payipu z’amazzi n’amasannyalaze n’emirala. Wabula yategeezezza nti, bakyali mu nteeseganya okulaba ng’abatunda ebimuli bakkirizibwa okukolera mu bifo bino era n’asaba abali mu mirimu egyo okuwandiikira ekitongole basobole okukolera mu bibangirizi by’amakubo.

Yasabye gavumenti n’abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo okufunira abantu ababadde bakolera ku nguudo aw’okukolera bave ku nguudo nga tebannataataaganyizibwa.

Ate Robert Tumwine, avunaanyizibwa ku bikolebwa mu bantu mu kitongole kya UNRA yategeezezza nti mmita 15 okuva mu makkati g’oluguudo ku buli ludda ziba zirekeddwaawo okusimbibwamu mmotoka n’okusimbamu ebipande wabula abantu baazifuula za kukoleramu kino ne kiremesa ab’ekitongole okukoleramu emirimu gyabwe emirala omuli okuzimba siteegi za bbaasi, kaabuyonjo ez’olukale, okusimbamu ebimuli n’ebirala.

 Wabula abasuubuzi abakolera ku nguudo oluwulidde bino bavudde mu mbeera ne bategeeza ab’ekitongole kya UNRA nti nga tebannabagoba we bakolera basooke balongoose mu ngeri gye bakolamu emirimu gyabwe kubanga be bayonja emifulejje gy’oku nguudo kwe bakolera ng’ekitongole ne we kigigogola kasasiro bamuleka ku makubo bo ne bamweggirawo ng’ono naye avaako akalippagano mu ntambula ekireetera ab’ebigere ne pikipiki okuyitira mu luguudo gye babatomerera.

Gerald Kiberu, Ssentebe wa LC II - Bweyogerere Division  yasabye gavumenti okuvaayo efunire abantu abakolera ku nguudo ekifo aw’okukolera kubanga babadde basasula omusolo eri eggwanga nga n’ekitongole kya UNRA ekibagoba ku nguudo kitongole kya Gavumenti nga kirina nakyo okufaayo okulaba ng’abantu bano bafuna obwenkanya mu kifo ky’okugobaganyizibwa.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Salawo 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Bobi Wine alaze ky’agenda okuzzaako kyokka poliisi nayo erabudde aba People Power ku kugondera amateeka. Mulimu...

Giroud2 220x290

Besiktas eswamye Giroud okumuggya...

Giroud, yali omu ku bazannyi abaayamba Bufalansa okusitukira mu World Cup mu July wabula mu Chelsea, ennamba etandika...

Herreranerojo1 220x290

Abazannyi 4 ogwa ManU ne Wolves...

Rojo tannatereera bulungi buvune wabula okudda kwa Phil Jones kwakuggumiza ManU.

Meeyassenoganomumyukawekansalakaggwangaayogeramulukiikolwampigitowncouncil 220x290

Kirumira bamubbuddemu oluguudo...

Abakiise batenderezza Kirumira omwana waabwe enzaalwa y’e Mpambire mu Mpigi Town Council okubeera omusaale mu kutunda...

Omuvubukaabaddeyefuddeomulalungalikukabangaliyapoliisiempigi 220x290

Yeefudde omulalu n’ayingira ofiisi...

Omuvubuka ono yasoose kwesuula mu kidiba ky’ebbumba mu kabuga k’e Mpigi kyokka poliisi y’e Mpigi n’emunnyululayo...