TOP

Muwonge alonda kasasiro n’amukolamu engatto

By Musasi wa Bukedde

Added 18th July 2018

Muwonge alonda kasasiro n’amukolamu engatto

Deb1 703x422

Muwonge ng’alaga ebigatto ebikadde bye bakuhhaanya n’abisaanuusa.

BWE yamaliriza siniya eyookuna ssente ezimwongerayo ne zibula. Yasalawo okunoonya eky’okukola ne kibula nga talina wadde ennusu. Embeera yamunyiga n’asalawo okugenda Abakozi ba Muwonge nga batereeza engatto z’amasanda z’akola. Muwonge ng’alaga ebigatto ebikadde bye bakuhhaanya n’abisaanuusa. mu katale ka Owino ayiiye obulamu kyokka nga byonna bizibu.

Yatunuulira embeera eyali emwetoolodde n’alabira ddala ng’akomye. Lumu yali atambula n’alonda engatto y’eddiba enkadde ku kasasiro n’agitwala n’agyoza n’agikuba eddagala. Bwe yagitwala mu Owino baagigulirawo n’afunamu ssente ez’amangu. Eno ye yali entandikwa y’okulonda engatto enkadde nga bwazitereeza n’azitunda n’afuna ssente nga kati gwafuuka omulimu n’akolamu n’ekkolero.

Ono ye Alfred Muwonge. Akulaga engeri gy’avudde mu buyinike n’atuuka ku ddaala ly’okutambula ng’alinamu ekikumi era oyinza okugamba takyasabirwa. Bwe yatunda engatto eyasooka n’alaba nga liyinza okuba ekkubo erimutuusa ku kwesiima. Yasooka kukuhhaanya za ddiba n’azirongoosa ne ziddawo.

Agamba nti ye yasooka okukola omudaala gw’engatto enkadde ku mwala gw’akatale ka Owino. Omuntu eyatandika ng’anoonya ssente ezimuyamba ave mu kizibu yafuna ssente ezimubeezaawo n’okugaziya bizinensi ye nga kati gwafuuka mulimu.

‘‘Nayongera okulonda ebikadde nga bwe nzijuza omudaala gwange era omu ku basuubuzi bwe yalaba nga binkolera naye n’atandika okuleeta ekkooti ezikozeeko ne tufuuka babiri’’. Bwe yalinga alonda engatto zino, ezimu zaalinga nkadde nnyo ng’ate soole za labba n’amasanda n’akizuula nti asobola okuzisaanuusa. Omulimu bwe gwagaziwa n’atandika okulonda buli kika kya ngatto nga tataliza masanda, pulasitika ne ddiba. Yalaba abantu abambala engatto beeyongera buli lunaku n’asalawo okuyiiyiza ezibakaddiyeeko.

Muwonge agamba nti ng’omwana enzaalwa y’omu Kisenyi, yalaba ng’asobola okuyiiya ekyuma ekisaanuusa buli kintu kya masanda n’addamu n’akikolamu ebintu ebirala. ‘‘Mu 1990 engatto z’amasanda zeeyongera okuleetebwa nga ziri ku ssente ntono ate nga bazambalira akaseera katono ne zifa.

Nasalawo okussa amaanyi ku ngatto z’amasanda nga nkirabye nti hhenda kuddamu nzikyuse’’. Yasooka n’ayiiya obutiba obukola engatto zino oluvannyuma n’ayiiya ekyuma ekisaanuusa amasanda.

Bino yasooka kubikola ng’agezesa ng’eno omudaala gwe ogutunda ebikadde bwe gugenda mu maaso. Nkola engatto Olunaku lwe nakola engatto eyasooka mu masanda ge nsaanuusizza katono nfe essanyu kubanga namanya nti obugagga mbusemberedde. ‘‘Bwe nafuna abantu abansiima okukuh− haanya kalonda w’ebintu ebikadde ebitavundira mu ttaka ne nneeyongera amaanyi.

 

Naggulawo sitoowa mu bitundu ebyenjawulo omuli Masaka, Mbarara, Mukono, Jinja mwe nakuh− hanyizanga ebintu ebikadde omuli: obutimba bw’ensiri, magetesi, engatto n’ebirala. 

Omulimu bwe gwagaziwa n’afuna Abazungu okuva ebweru w’eggwanga ne bamwongeramu n’okulaba engeri gy’akolamu engatto okuva mu masanda nga bw’akuuma n’obutonde bw’ensi.

Omutindo bwe gwalinnya, yayitibwa e Girimaani n’alambula enkola y’engatto n’okumusiima engeri gy’akuumye obutonde bw’ensi era ekirabo kye baamuwa yali jenereeta enkadde ezaakola mu myaka gya ssematalo owookubiri naye nga zinywa kitono nnyo. ‘‘Ekirabo kyannyongera amaanyi ne ntunuulira obutiba bwe bakozesa engatto ne soole obwongo ne bugaziwa’’. Agamba nti ebyuma byonna by’akozesa obutiba yazze abyekolera wamu n’amazzi agooza ebintu bye.

Yategeezezza nti mu nkola y’okumulambula, waliwo Abachina abaamukyalira kyokka eyali asuubira okumwongerako n’okumuwabula ate bwe baatunuulira ebyuma by’akozesa n’obutiba bwe yayiiya ate baabikoppa bukoppi era n’abaggulako omusango mu kkooti. Yagambye nti ku myaka 63 gy’alina, agaziye bulungi ng’aweza ebyuma 10 ebikola engatto nga buli kimu kibalirirwamu obukadde 600.

Akozesa kkiro z’amasanda 1,000 (ttani emu) buli lunaku ate mu sitoowa ze akuhhanya ttani 500,000 buli lunaku nga n’ebimu abiggya Rwanda. Kkiro y’ebintu byamasanda agigula 1,600/- kyokka abamu abawaamu engatto empya.

NNEES OMESEZZA NE NFUUKA YINGINIYA Yategeezezza nti omuntu eyatandika okukola engatto ng’alina bbaluwa ya S4, gye buvuddeko yeesomesezza nga kati yeewadde diguli mu bwayinginiya.

 

Yeewaanye nga bw’atalina kyuma kimulema kukanika wadde okuyiiya. Okufunamu, agamba nti amasannyalaze yagavaako ng’akozesa jenereeta enkadde gye baamuwa e Girimaani. Yategeezezza nti buli ky’akola yeeyambisa obuuma bwa ‘Vanier Calipers’ obupima ebigero bya buli kintu ekikolebwa. Muwonge alonda kasasiro n’akolamu engatto

OKUSOOMOOZA lYagambye nti yandyagadde okukozesa amasannyalaze naye ga bbeeyi nnyo. lAbantu bamuyisaamu amaaso. Yawadde eky’okulabirako nti olumu yali ava okulonda engatto ng’ayambadde bubi ng’atambula ne mutabani we.

Abantu bwe baamulaba ne baagala okumumuggyako nga bamuyita mulalu abbye omwana. Yamala kubannyonnyola ne beewuunya era abantu abamu abalonda ebikadde naddala eby’amasanda babayita balalu ekitali kituufu. By’afunyemu lYagambye nti ebikadde bimulinnyisizza eddaala kubanga ekkolero lye likozesa abantu abasoba mu 100 okutereeza engatto empya z’akoze, abakola mu kyuma ssaako abalonda ebikadde.

lSsinga baali tebalonda bintu bya masanda ebitavunda, eggwanga lyandibadde mu katyabaga. lYagambye nti yatandika bubi nga talina wadde kkampuni naye kati mugazi era kkampuni ye eyitibwa ‘Alfred Muwonge New Technology Age Project co. Ltd’’ ng’omulimu gwayo gwa kukuhhaanya kalonda w’ebintu by’amasanda ebitavunda mu ttaka n’addamu n’abikolamu engatto. lAfunye akatale e Rwanda, DRC, Kenya ne Uganda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabuzi1 220x290

Uganda ekubye Malawi 2-0 n'ewaga...

MU Mupiira, waliwo enjogera egamba nti tewali buwanguzi bubi, wabula waliwo bw’otuuka ekiseera ng’olina okutunuulira...

Gendako 220x290

Engeri okwanjula kwa Hamza gye...

Ebika bibiri eky’Endiga n’Ekyolugave Rema mw’azaalwa byali tebimanyiganye era nga tebasisinkanangako.

Bwama 220x290

Rema annyonnyodde by'ayiseemu ng'anoonya...

Rema yabattottolera obuzibu bwe yayitamu ng’anoonya ekika kye. Nti olumu Rema yasisinkana Ssenga we Nabatanzi ku...

Laga 220x290

Rema yasoose kukolebwako mikolo...

E Kyengera mu wiiki eddirira emikolo, Rema yasoose kukolebwako mikolo gya buwangwa okwanjula Hamza, Rema yali ne...

Buuza 220x290

Embaga ya Rema eriko ebibuuza

Kirumira yagasseeko nti ennaku z’omwezi baakuzitegeeza abantu mu kiseera ekituufu; n’annyonnyola nti enteekateeka...