TOP
  • Home
  • Yiiya Ssente
  • Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto wa Kaloti okulwanyisa ekifu n'okugumya abasirikale b'omubiri

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto wa Kaloti okulwanyisa ekifu n'okugumya abasirikale b'omubiri

By Musasi wa Bukedde

Added 1st August 2018

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto wa Kaloti okulwanyisa ekifu n'okugumya abasirikale b'omubiri

Muk2 703x422

Butto akamuddwa mu kaloti.

KALOTI kye kimu ku birime ebisinga okuliibwa mu nsi yonna ne mu Uganda abantu bagirya mu mmere n’enva n’okuzimeketa nga mbisi. Ziri mu langi ez’enjawulo naye eza kipaapaali ze zisinga okulabika naye waliwo emmyuufu ne kyenvu.

Mu myaka gya 1700, Anne eyali Nnaabakyala wa Bungereza mu biseera ebyo, lumu yeesala akambe n’akozesa omubisi gwa kaloti okwejjanjaba era zaafuuka ez’ettunzi.

Naye kaloti zirina emigaso mingi olw’okuba n’ekirungo kya ‘Beta-carotene’ ekikola ekiriisa kya vitamiini A, ekiyamba amaaso obutalwala nsenke, okwozaako ekifu n’okuziyiza puleesa yaago.

Osobola okuzikamulamu butto okuva mu nsigo zaazo. Kaloti ekulira emyezi ena, naye ssinga ogireka n’etuuka ku myezi mukaaga ereeta ensigo n’ofuna ssente mu nsigo n’ekimere wansi.

Kkiro y’ensigo ngigula 5,000/-, mu yiika osobola okufunamu kkiro ezisoba mu 60. Mu kifo ky’okulya ekitundu kya kkiro, ojja kwetaaga amatondo 5 aga butto wa kaloti buli lunaku ofune omuganyulo gwe gumu n’omuntu alidde ekitundu kya kkiro ate kizibu okugimeketa n’obudde oba tobulina.

Obubenje oluusi bw’olaba ekiro bujja lw’abantu abamu okuba nga tebalaba bulungi, olumukubamu amataala ng’atagala n’akola akabenje. Ate abantu abamu batambula batomera ebisenge olw’amaaso agatalaba.

Zisobola okukuyamba ku maaso ssinga osobola okulya ekitundu kya kkiro oba okunywa amatondo 5 buli lunaku. lKaloti eyamba okukuuma olususu nga luto n’okumalawo enkovu kuba alimu ekirungo ekiddaabiriza obutoffaali bw’omubiri n’oba ng’olabika bulungi.

Butto wa kaloti ssinga omugatta n’ensogasoga akuyamba obutakosebwa musana, kitegeeza bulungi ku bantu abakolera mu musana, bannamagoye n’abo abeeyerusa. Alimu ekirungo ekyozaekibumba, naddala ku bantu abanywa omwenge, okulya emmere erimu ebintu ebigiyamba okugikuuma okumalawo ebbanga nga tennafa, abanuusa omukka oguva mu mmotoka n’ebirala.

Mulungi ku bantu abalumbibwalumbibwa endwadde, zongera abaserikale amaanyi. lAlimu omunnyo gwa ‘Magnesium’ n’oba nga tulumwa nnyingo. Asangibwa ku Equatorial Mall dduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20181214at173512 220x290

SC Villa etimpudde Express FC n'ennyogoza...

SC Villa etimpudde Express FC n'ennyogoza abawagizi baayo mu kisaawe e Namboole omupiira gye guyindidde!

Mosesmakoyaniowakibogakuddyongattunkaneambrosenaturindaowantinda 220x290

Kiboga ewaga mu Big League

TTIIMU ya Kiboga FC eyaakesogga Big League eremedde ku Proline FC okugisuuza entikko y’ekibinja kya Rwenzori ekitaddewo...

Hib1 220x290

Omulamuzi atabukidde abakakiiko...

Omulamuzi atabukidde abakakiiko k'ebyettaka e Lwengo

Reb2 220x290

Maneja w’ebbaala ya Casablanca...

Maneja w’ebbaala ya Casablanca asindikiddwa ku limanda

Deb1 220x290

Abakola ebimansulo e Kyetora balabuddwa...

Abakola ebimansulo e Kyetora balabuddwa